Abantu Basobola Okumalawo Entalo?
Waliwo ensonga nnyingi ezireetera abantu okulwana. Abamu balwana olw’okwagala okuleetawo enkyukakyuka mu by’obufuzi, mu by’enfuna, oba olw’okwagala okuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya. Abalala balwana olw’okwagala okuwamba ebitundu, oba olw’okwagala okweddiza eby’obugagga by’ensi endala. Entalo ezisinga ziva ku butakkaanya obubaawo wakati w’amawanga oba amadiini. Biki abantu bye bakoze okusobola okukomya entalo n’okuleetawo emirembe? Ddala abantu basobola okumalawo entalo?
Drazen_/E+ via Getty Images
OKUTEREEZA EBY’ENFUNA
Ekigendererwa: Okuyamba abantu okuba mu bulamu obulungi. Ekyo kisobola okumalawo oba okukendeeza ku njawulo ennene eriwo wakati w’abagagga n’abaavu, era ng’eyo y’emu ku nsonga eziviirako abantu okulwana.
Ensonga lwaki ekyo kizibu: Kiba kyetaagisa gavumenti okukyusa mu ngeri gye zisaasaanyamu ssente. Mu 2022, kiteeberezebwa nti ssente ezisoba mu buwumbi bwa ddoola za Amerika 34 ze zaasaasaanyizibwa mu kutereeza embeera z’abantu mu bitundu ebitali bimu. Kyokka ssente ezo zaali ntono nnyo bw’ozigeraageranya ku ezo ezaasaasaanyizibwa ku ntalo mu mwaka ogwo.
“Ssente ze tusaasaanya okuyamba abakoseddwa entalo nnyingi nnyo okusinga ezo ze tusaasaanya okuziyiza entalo, n’okuzzaawo emirembe.”—António Guterres, Ssaabawandiisi w’Ekibiiina ky’Amawanga Amagatte.
Bayibuli ky’egamba: Gavumenti n’ebitongole bisobola okuyamba abantu abaavu naye tebisobola kumalirawo ddala bwavu.— Ekyamateeka 15:11; Matayo 26:11.
OKUTEESEGANYA MU MIREMBE
Ekigendererwa: Okuziyiza oba okukomya entalo okuyitira mu kuteeseganya era n’okulaba nti ebisaliddwawo biganyula buli luuyi.
Ensonga lwaki ekyo kizibu: Oluuyi olumu luyinza okugaana okuteesa, oba obutakkiriziganya n’ebyo ebiba bisaliddwawo. Ng’oggyeeko ekyo, endagaano ez’emirembe zimenyebwa mangu.
“Enteeseganya oluusi tezikola. Endagaano amawanga ze gakola emirundi mingi teziba za bwenkanya, era ekyo kiyinza okuviirako amawanga ago okuddamu okulwanagana mu biseera eby’omu maaso.”—Raymond F. Smith, American Diplomacy.
Bayibuli ky’egamba: Abantu basaanidde ‘okunoonyanga emirembe.’ (Zabbuli 34:14) Naye abantu bangi leero ‘si beesigwa, tebakkiriza kukkaanya, era ba nkwe.’ (2 Timoseewo 3:1-4) Ekyo kiremesa bannabyabufuzi abeesimbu okumalawo entalo.
OKWEGGYAKO EBY’OKULWANYISA
Ekigendererwa: Okukendeeza oba okweggyako eby’okulwanyisa nnamuzisa, gamba ng’eby’amaanyi ga nukiriya, n’ebirala.
Ensonga lwaki ekyo kizibu: Ebiseera ebisinga amawanga tegaagala kweggyako byakulwanyisa olw’okutya nti gajja kuba tegakyalina maanyi era nga tegakyasobola kwerwanako. Kyokka ne bwe geggyako eby’okulwanyisa, tegasobola kumalawo ebyo ebiviirako abantu okulwana.
“Ensi ezaasuubiza okweggyako eby’okulwanyisa oluvannyuma lw’embiranye eyaliwo wakati w’eggwanga lya Amerika n’amawanga agaali mu Soviet Union, tezaakikola. Ate era, tezaatuukiriza bisuubizo byazo omuli okwewala ebintu ebiyinza okuviirako emitawaana, n’okuteeka ensi ku bunkenke.”—“Ofiisi y’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ekola ku nteeseganya z’okweggyako eby’okulwanyisa.”
Bayibuli ky’egamba: Abantu basaanidde okweggyako eby’okulwanyisa, kwe kugamba, ‘ebitala byabwe ne babikolamu enkumbi.’ (Isaaya 2:4) Kyokka entalo okusobola okuggwaawo, waliwo ekintu ekirala abantu kye balina okukola kubanga mu mutima mwe musibuka ebikolwa eby’obukambwe.—Matayo 15:19.
AMAWANGA OKWEGATTA AWAMU OKUMALAWO ENTALO
Ekigendererwa: Amawanga agawerako okukola omukago, gayambaganenga singa wabaawo erimu ku go eriba lirumbiddwa. Baba basuubira nti ekyo kijja kutiisa gavumenti yonna eba yandyagadde okulumba erimu ku go.
Ensonga lwaki ekyo kizibu: Gavumenti endala okutya okulumba ezo eziba zikoze omukago tekitegeeza nti wajja kubaawo emirembe. Amawanga ago agaba gakoze omukago ebiseera ebisinga tegatuukiriza ebyo bye gaba gasuubizza, era tegakkaanya ku ngeri gye ganaalwanyisaamu gavumenti eziba zigalumbye.
“Wadde ng’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte n’Ekinywi ky’Amawanga bigezezzaako okuyamba ensi ezitali zimu okukola omukago, ekyo tekisobodde kuleetawo mirembe.”—“Encyclopedia Britannica.”
Bayibuli ky’egamba: Abantu bwe bakolera awamu okuyambagana kitera okuba ekirungi. (Omubuulizi 4:12) Kyokka gavumenti z’abantu tezisobola kuleetawo mirembe na bukuumi eby’olubeerera. Bayibuli egamba nti: “Teweesiganga bafuzi ba bantu; tewali muntu yenna asobola kukulokola. Bwe bafa, badda mu ttaka; ku lunaku olwo, enteekateeka zaabwe zonna zikoma.”—Zabbuli 146:3, 4, Today’s English Version.
Wadde ng’amawanga mangi gafubye nnyo okulaba nti wabaawo emirembe, entalo zigaanye okuggwaawo.