Ensonga Lwaki Waliwo Entalo
Bayibuli eraga ensonga lwaki waliwo entalo n’ensonga lwaki zeeyongera bweyongezi.
EKIBI KYE TWASIKIRA
Adamu ne Kaawa, abantu abaasooka, Katonda yabatonda mu kifaananyi kye. (Olubereberye 1:27) Ekyo kitegeeza nti bandibadde basobola okwoleka engeri ng’eza Katonda gamba ng’okwagala n’emirembe. (1 Yokaana 4:8; 1 Abakkolinso 14:33) Kyokka Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda, ne bafuuka aboonoonyi. N’ekyavaamu, ffenna twasikira ekibi n’okufa. (Abaruumi 5:12) Ekibi kye twasikira kituleetera okulowooza ku bintu ebibi, era ekyo kiviirako abantu bangi okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe.—Olubereberye 6:5; Makko 7:21, 22.
OBUFUZI BW’ABANTU
Katonda yatutonda nga tetusobola kufuga bantu bannaffe. Bayibuli egamba nti: “Tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” (Yeremiya 10:23) N’olw’ensonga eyo, gavumenti z’abantu tezisobola kumalawo ntalo na bikolwa bya bukambwe.
SITAANI NE BADAYIMOONI
Bayibuli egamba nti: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19) “Omubi” oyo ye Sitaani era mussi. (Yokaana 8:44) Sitaani ne badayimooni be baviirako abantu okuba abakambwe, n’okutandikawo entalo.—Okubikkulirwa 12:9, 12.
Abantu tebasobola kumalawo bintu biviirako ntalo na bikolwa bya bukambwe, naye Katonda ye asobola.