LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb22 Maayi lup. 16
  • Bw’Oba Obuulira Yogera ku Bintu Ebyakabaawo mu Kitundu Kyammwe

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bw’Oba Obuulira Yogera ku Bintu Ebyakabaawo mu Kitundu Kyammwe
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Laba Ebirala
  • Kozesa Embeera Eziriwo Okusikiriza Omuntu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—​Okutuukana n’Embeera
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Okubuulira mu Nsi Egenda Ekyukakyuka
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Okuyigiriza Amazima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
mwb22 Maayi lup. 16
A sister preparing for the ministry. She is holding a tract and browsing the news on her computer.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Bw’Oba Obuulira Yogera ku Bintu Ebyakabaawo mu Kitundu Kyammwe

Yesu bwe yalinga abuulira, yayogeranga ku bintu ebyabanga byakabaawo okusobola okubaako by’ayigiriza abaalinga bamuwuliriza. (Luk 13:1-5) Naawe bw’oba obuulira oyinza okwogera ku bintu ebyakabaawo okusobola okuleetera abantu okuwuliriza obubaka bw’Obwakabaka. Oluvannyuma lw’okwogera ku bbeeyi y’ebintu eyeekanamye, ku katyabaga akaaguddewo, ku butabanguko, ku kukozesa ebiragalalagala, oba ku kintu ekirala, osobola okubuuza omuntu ekibuuzo ekinaamuleetera okuwa endowooza ye. Oyinza okumubuuza nti: “Olowooza ekiseera kirituuka ne waba nga tewakyaliwo . . . ?” oba “Olowooza kiki ekiyinza okumalawo . . . ?” Oluvannyuma musomere ekyawandiikibwa ekikwata ku nsonga gy’oba oyogeddeko. Bw’aba ng’ayagala okumanya ebisingawo, mulage vidiyo oba muwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. Nga tufuba okutuuka ku mitima gy’abantu mu kitundu kyaffe, ka ‘tukole ebintu byonna olw’amawulire amalungi.’​—1Ko 9:22, 23.

Bintu ki ebiyinza okukwata ku bantu b’omu kitundu kyammwe?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza