EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUVA 25-26
Ekintu Ekisinga Obukulu mu Weema Entukuvu
Ssanduuko y’Endagaano kye kintu ekyali kisinga obukulu mu weema entukuvu ne mu lusiisira ly’Abayisirayiri. Ekire ekyabanga wakati wa bakerubi ababiri abaali ku ky’okubikkako ky’Essanduuko kyali kikiikirira okubeerawo kwa Katonda. Ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi olwabangawo buli mwaka, kabona asinga obukulu yayingiranga Awasinga Obutukuvu n’amansira omusaayi gw’ente ennume n’ogw’embuzi mu maaso g’eky’okubikkako, okusobola okutangirira ebibi by’Abayisirayiri. (Lev 16:14, 15) Ekyo kyali kikiikirira ekiseera Yesu, Kabona Asinga Obukulu, lwe yandirabise mu maaso ga Yakuwa mu ggulu okuwaayo omuwendo gwa ssaddaaka ye.—Beb 9:24-26.
Kwataganya ebyawandiikibwa bino n’emiganyulo gye tufuna olw’ekinunulo:
EBYAWANDIIKIBWA
EMIGANYULO
essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo
okusonyiyibwa ebibi
omuntu w’omunda omuyonjo
Kiki kye tulina okukola okusobola okufuna emiganyulo egyo?