LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb20 Maayi lup. 3
  • Weeteeseteese?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Weeteeseteese?
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Laba Ebirala
  • Sigala nga Weetegese mu Nnaku Ezisembayo ‘ez’Ennaku ez’Enkomerero’
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Weetegekedde Akatyabaga?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Weeteekeddeteekedde Obutabanguko Obuyinza Okubaawo mu Kitundu Kyammwe?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Yamba Abalala Okugumiikiriza mu Biseera Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
mwb20 Maayi lup. 3
Ab’omu maka bateekateeka bye banaakozesa nga waguddewo akatyabaga.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Weeteeseteese?

Singa akatyabaga kagwawo mu kitundu kyo, kanaakusanga okeetegekedde? Musisi, emiyaga egy’amaanyi, omuliro, n’amataba bisobola okubaawo ekiseera kyonna era ne byonoona ebintu bingi. Okugatta ku ebyo, obutujju, obutabanguko, n’endwadde ez’amaanyi bisobola okubaawo awantu wonna era ekiseera kyonna. (Mub 9:11) Tetusaanidde kulowooza nti ebintu ng’ebyo tebiyinza kubaawo mu kitundu kyaffe.

Buli omu ku ffe asaanidde okubaako ky’akolawo okwetegekera akatyabaga. (Nge 22:3) Wadde ng’ekibiina kya Yakuwa kirina obuyambi bwe kiwa abo ababa bakoseddwa obutyabaga, ekyo tekitegeeza nti ffe kinnoomu tetulina kye tuyinza kukolawo okubwetegekera.​—Bag 6:5, obugambo obuli wansi.

MULABE VIDIYO, WEETEGEKEDDE AKATYABAGA? OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ow’oluganda yeetegekera akatyabaga ng’asoma Bayibuli.

    Okuba abanywevu mu by’omwoyo kiyinza kitya okutuyamba nga waguddewo akatyabaga?

  • Ensawo erimu eby’okukozesa nga waguddewo akatyabaga, endagiriro, n’essimu.

    Lwaki kikulu . . .

    • • okuba n’empuliziganya ennungi n’abakadde ng’akatyabaga tekannagwawo, nga kaguddewo, era n’oluvannyuma lw’akatyabaga?

    • • okuteekateeka by’onookozesa ng’akatyabaga kaguddewo?​—g17.5 lup.6

    • • okumanya obutyabaga obw’enjawulo obuyinza okugwaawo era n’eky’okukola mu buli mbeera?

  • Ebifaananyi: Engeri ez’enjawulo ez’okuyambamu abalala nga waguddewo akatyabaga. 1. Ow’oluganda asaba. 2. Bannakyewa bayamba abakoseddwa akatyabaga. 3. Ow’oluganda ateeka ssente mu kasanduuko mu Kizimbe ky’Obwakabaka.

    Bintu ki ebisatu bye tusobola okukola okuyamba abo abakoseddwa obutyabaga?

OSOBOLA OKUKOLA NGA NNAKYEWA?

Waliwo obwetaavu bungi obw’okuyambako mu kudduukirira abo ababa bakoseddwa obutyabaga. Bw’oba nga wandyagadde okukola nga nnakyewa, tegeeza abakadde.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza