Maayi 11-17
OLUBEREBERYE 38-39
Oluyimba 33 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yakuwa Teyayabulira Yusufu”: (Ddak. 10)
Lub 39:1—Yusufu yafuuka muddu e Misiri (w14 11/1 lup. 12 ¶4-5)
Lub 39:12-14, 20—Yusufu yawaayirizibwa era n’asibibwa mu kkomera (w14 11/1 lup. 14-15)
Lub 39:21-23—Yakuwa yeeyongera okubeera awamu ne Yusufu (w14 11/1 lup. 15 ¶2)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Lub 38:9, 10—Lwaki Yakuwa yatta Onani? (it-2-E lup. 555)
Lub 38:15-18—Ekyo Yuda ne Tamali kye baakola tusaanidde kukitwala tutya? (w04-E 1/15 lup. 30 ¶4-5)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lub 38:1-19 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga eky’Okukola ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 4) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Mwannyinaffe abuulidde atya mu ngeri etegeerekeka? (th essomo 17) Singa omubuulizi abadde wa kuwa nnyinimu akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli, yandikanjudde atya?
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 1)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 11)
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe kaadi eragirira abantu ku jw.org. (th essomo 6)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Beera nga Yusufu—Dduka Ebikolwa eby’Obugwenyufu”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Dduka Ebikolwa eby’Obugwenyufu.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 114
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 26 n’Okusaba