EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 36-37
Baganda ba Yusufu Baamukwatirwa Obuggya
Ebyatuuka ku Yusufu biraga akabi akali mu kuba n’obuggya. Kwataganya ebyawandiikibwa bino wammanga n’ensonga eziraga lwaki tusaanidde okweggiramu ddala obuggya.
EKYAWANDIIKIBWA
ENSONGA
Abantu abalina obuggya tebajja kusikira Bwakabaka bwa Katonda
Obuggya butabangula emirembe n’obumu mu kibiina
Obuggya bukosa obulamu bw’omuntu
Obuggya bulemesa omuntu okulaba ebirungi mu balala
Mbeera ki eziyinza okutuviirako okufuna obuggya?