EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 27-28
Pawulo Asaabala Okugenda e Rooma
Pawulo ne bwe yali mu kkomera teyalekera awo kubuulira. Bwe yali mu kyombo, yabuulira abagoba b’ekyombo n’abo be yali asaabala nabo. Oluvannyuma lw’ekyombo okumenyekeramenyekera e Maluta, Pawulo ateekwa okuba nga yabuulira abantu be yawonya. Oluvannyuma lwe nnaku ssatu ng’amaze okutuuka mu Rooma, yayita abakulu b’Abayudaaya n’ababuulira amawulire amalungi. Era ne mu myaka ebiri gye yamala ng’asibiddwa mu nnyumba, yabuuliranga abo bonna abajjanga okumukyalira.
Kiki ky’oyinza okukola okusobola okubuulira amawulire amalungi wadde nga wayinza okubaawo ebikulemesa?