Jjanwali 28–Febwali 3
EBIKOLWA 27-28
Oluyimba 129 n’okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Pawulo Asaabala Okugenda e Rooma”: (Ddak. 10)
Bik 27:23, 24—Malayika yagamba Pawulo nti abo bonna abaali naye mu kyombo bandiwonye omuyaga (bt-E lup. 208 ¶15)
Bik 28:1, 2—Ekyombo Pawulo kye yalimu kyamenyekeramenyekera ku kizinga ky’e Maluta (bt-E lup. 209 ¶18; 210 ¶21)
Bik 28:16, 17—Pawulo yatuuka bulungi mu Rooma (bt-E lup. 213 ¶10)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Bik 27:9—“Ekisiibo ky’Olunaku olw’Okutangirira” kyali kitya? (“ekisiibo ky’Olunaku olw’Okutangirira” awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 27:9, nwtsty)
Bik 28:11—Eky’okuba nti omuwandiisi yawandiika ku kabonero akaali ku kyombo kiraga ki? (“Abaana ba Zewu” awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 28:11, nwtsty)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Bik 27:1-12 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 2)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5 oba obutawera) lvs lup. 165-166 ¶16-17 (th essomo 3)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Pawulo Yeebaza Katonda n’Aguma”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe ekitundu ekyaggibwa mu vidiyo erina omutwe, ‘Ekyuma Kiwagala Kyuma.’ Kubiriza abawuliriza okulaba vidiyo yonna.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 52
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 93 n’okusaba