LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb19 Jjanwali lup. 7
  • ‘Pawulo Yeebaza Katonda n’Aguma’

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • ‘Pawulo Yeebaza Katonda n’Aguma’
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Laba Ebirala
  • Okuzziŋŋanamu Amaanyi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Bakola Nnyo ku Lwaffe
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Abalabirizi ab’Okulunda Ekisibo
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Abalabirizi b’ebitundu batuyamba batya?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
mwb19 Jjanwali lup. 7
Pawulo yeebaza Katonda olwa ab’oluganda abazze okumusisinkana

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

‘Pawulo Yeebaza Katonda n’Aguma’

Ab’oluganda mu kibiina ky’e Rooma bwe baawulira nti Pawulo ajja, baatambula mayiro 40 ne bagenda okumusisinkana. Okwagala okwo kwe baamulaga kwamukwatako kutya? Bayibuli egamba nti: “Pawulo olwabalaba ne yeebaza Katonda n’aguma.” (Bik 28:15) Wadde nga Pawulo yali amanyiddwa ng’omulabirizi azzaamu ebibiina amaanyi, ku mulundi guno ye yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi kubanga yali musibe.​—2Ko 13:10.

Leero abalabirizi bakyalira ebibiina okusobola okuzzaamu ab’oluganda amaanyi. Okufaananako abaweereza ba Katonda abalala, nabo bakoowa, bafuna ebibeeraliikiriza, era baggwaamu amaanyi. Omulundi omulala omulabirizi w’ekitundu ne mukyala we lwe banaddamu okukyalira ekibiina kyo, kiki ky’oyinza okukola okusobola ‘okubazzaamu amaanyi’?​—Bar 1:11, 12.

  • Omulabirizi w’ekitundu akubiriza olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira

    Beerawo mu nkuŋŋaana z’okugenda okubuulira. Omulabirizi azzibwamu amaanyi ababuulizi bwe babaako bye beefiiriza okusobola okuganyulwa mu nteekateeka ya wiiki eyo ey’enjawulo. (1Se 1:2, 3; 2:20) Lowooza ku ky’okuweereza nga payoniya omuwagizi mu mwezi ogwo. Oyinza okubuulirako n’omulabirizi w’ekitundu oba ne mukyala we, oba okutwala omu ku bo ku muyizi wo owa Bayibuli. Kibasanyusa nnyo okubuulirako n’ababuulizi ab’enjawulo, nga mw’otwalidde n’abapya oba abo abatannafuna bumanyirivu mu buweereza.

  • Amaka gasembezza omulabirizi w’ekitundu ne mukyala we

    Basembeze. Osobola okubasuza? Ekyo bw’okikola kibalaga nti obaagala. Tebasuubira nti ojja kabategekera ebintu bingi.​—Luk 10:38-42.

  • Omulabirizi w’ekitundu akubiriza olukuŋŋaana lw’abakadde

    Wuliriza amagezi g’akuwa era ogakolereko. Omulabirizi w’ekitundu asobola okutuyamba okulaba engeri gye tusobola okulongoosa mu buweereza bwaffe. Oluusi kiyinza okubeetaagisa okutuwabula. (1Ko 5:1-5) Kibasanyusa nnyo bwe tuba abawulize ne tukolera ku magezi ge baba batuwadde.​—Beb 13:17.

  • Ab’oluganda nga beebaza omulabirizi w’ekitundu ne mukyala we

    Basiime. Buulira omulabirizi w’ekitundu ne mukyala we engeri gy’oganyuddwa mu buyambi bwe bakuwadde. Ekyo osobola okukikola ng’oyogera nabo butereevu oba ng’obawandiikira akabaluwa oba okubaweereza ka kaadi.​—Bak 3:15.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza