EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ISAAYA 29-33
“Kabaka Alifuga Okuleetawo Obutuukirivu”
Kabaka Yesu, ataddewo “abaami” oba abakadde okulabirira ekisibo
Okufaananako “ekifo eky’okweggamamu enkuba ey’amaanyi,” bafuba okulaba nti endiga teziggwaamu maanyi olw’okuyigganyizibwa oba olw’ebizibu ebirala
Okufaananako “emigga mu nsi etaliimu mazzi,” bayamba abo abalumwa ennyonta ey’eby’omwoyo okutegeera amazima
Okufaananako “ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi enkalu,” babudaabuda endiga era baziwa obulagirizi