“Ebirabo mu Bantu” Beetegefu Okulunda Ekisibo kya Katonda
1 Yakuwa ng’atukoledde enteekateeka ey’okwagala okuyitira mu Mwana we ng’atuwa ‘ebirabo mu bantu’! (Bef. 4:8, 11, 12) Balina obuvunaanyizibwa bungi, nga mwe muli n’okunyiikira okulunda ekisibo kya Katonda. (1 Peet. 5:2, 3) Ffenna tuganyulwa mu nteekateeka eno ey’okwagala. Abasajja bano bafaayo nnyo ku mbeera y’eby’omwoyo eya buli omu, ka kibe nti abamu boolekaganye n’ebizibu, oba baakajja mu kibiina, oba balina obunafu, oba nga bawabye.—Baf. 2:4; 1 Bas. 5:12-14.
2 Obutabanguko mu nsi bwe buleetawo obweraliikirivu, abakadde bano babeera “ng’ekifo eky’okwekwekamu eri empewo, n’ekiddukiro eri kibuyaga.” Bwe tuzitoowererwa era nga twetaaga okubudaabudibwa batuzzaamu amaanyi, nga “emigga gy’amazzi mu kifo ekikalu, ng’ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi ekooyesa.”—Is. 32:2.
3 Okuzzaamu Amaanyi Abatakyabuulira: Abakadde bakola kaweefube ow’enjawulo okuzzaamu amaanyi abo aboosa okubuulira oba abatakyabuulirirako ddala, nga babayamba okuddamu okwenyigira mu byonna ebikolebwa mu kibiina. Okukyalira ab’oluganda okubazzaamu amaanyi kiyambye bangi okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa n’okuzimbibwa mu by’omwoyo ne batuuuka n’okuddamu okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro. Okufuba kw’abakadde okwo kwonna kwoleka okwagala kwa Yakuwa n’obukulembeze bwa Yesu Kristo. Yesu yateekawo ekyokulabirako ku ngeri y’okufaayo ku ndiga ye yonna eba awabye oba eba ebuze.—Mat. 18:12-14; Yok. 10:16, 27-29.
4 Abakadde banoonya obubonero obulaga nti omuntu aseebeengerera mu by’omwoyo. Abo abalabika nti baterebuse, abayosayosa okujja mu nkuŋŋaana, oba abaddiridde mu buweereza bw’ennimiro, bonna baba beetaaga obuyambi bw’eby’omwoyo. Abakadde beeteefuteefu okuyamba oyo yenna aba atandiikirizza okwambala oba okwekolako mu ngeri eyoleka omwoyo gw’ensi oba oyo akolokota abali mu kibiina. Olw’okufaayo ennyo ku balala, abalabirizi ‘bawaayo obulamu bwabwe’ kyeyagalire okusobola okuyamba abalinga abo okuddamu okwagala Yakuwa.—1 Bas. 2:8.
5 Mu biseera ebiyise, Abakristaayo abamu beebulankanyizza ku kibiina, ne baddirira mu by’omwoyo kubanga beeraliikirivu nnyo olw’obulwadde, olw’eby’enfuna okugootaana oba olw’ebizibu by’amaka. Nga balina ekisa era nga tebabavumirira, abakadde babakakasa nti Yakuwa afaayo ku ndiga ze era nti ajja kubawanirira mu biseera ebizibu. (Zab. 55:22; 1 Peet. 5:7) Abakadde abali obulindaala bayinza okubayamba okutegeera nti singa ‘basemberera Katonda, naye anaabasembereranga,’ ababudaabude era abaweweeze.—Yak. 4:8; Zab. 23:3, 4.
6 Okutwala Abalina Obukosefu mu Mibiri ng’Ab’Omugaso: Abakadde bafaayo ne ku abo abayinza okubuusibwa amaaso. Mu buli kibiina mulimu abalina obukosefu mu mibiri nga bali mu malwaliro, oba abalina obulemu obw’engeri ez’enjawulo. Olw’embeera gye balimu bakola kitono nnyo mu kubuulira ku Bwakabaka. Kyandiba nti babuulira abo bokka ababa babakyalidde, balwadde bannaabwe, oba abo ababajjanjaba. Wadde kiba kityo, ekyo kyonna kye basobola okukola kitwalibwa nga kya mugaso mu mulimu gwaffe gwonna ogw’okubuulira. (Mat. 25:15) Ne bwe babuulira eddakiika 15 zokka, zirina okuweebwayo, era bajja kusigala nga babalibwa ng’ababuulizi b’Obwakabaka abatayosa.
7 ‘Ebirabo mu bantu’ bamanyi ebyetaago bya baganda baabwe naddala mu kiseera kino eky’omwaka—ekiseera eky’Ekijjukizo. Nga kiba kiseera kirungi nnyo abakadde okukola kaweefube ow’enjawulo okuyamba bonna abawabye okuddamu okufuna essanyu n’emirembe ebiva mu ku kuŋŋaanira awamu n’ekibiina! Tusanyuka bwe tulaba abo ‘bwe tuli obumu mu kukkiriza’ nga bazze mu nkuŋŋaana z’ekibiina era ne bagenda okubuulira, nga booleka okukkiriza kwe balina mu kinunulo kya ssaddaaka.—Bag. 6:10; Luk. 15:4-7; Yok. 10:11, 14.