Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Ssebutemba
“Abantu bangi bakkiriza nti eriyo bamalayika. Naawe okikkiriza? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bamalayika ba maanyi nnyo kubanga bitonde bya mwoyo, naye olowooza basobola okutuyamba? Bayibuli etulaga engeri gye bayambamu abantu leero.” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ssebutemba 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo ekisooka era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini, era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
Omunaala gw’Omukuumi Ssebutemba 1
“Olowooza abantu banaayonoonera ddala ensi n’eba nga tekyasobola kulongoosebwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Wadde ng’abantu tebasobola kulongoosa nsi, Bayibuli eraga nti Katonda agenda kugirongoosa. Weetegereze Bayibuli ky’egamba mu Zabbuli 65:9. [Soma.] Akatabo kano kalaga engeri Katonda gy’agenda okulongoosaamu ensi era ne bye tusaanidde okukola okusobola okuba mu nsi eyo eneeba erongooseddwa. Wandyagadde okukasoma?”
Awake! Ssebutemba
“Abantu abamu bakola nnyo ne batuuka n’okuwulira nga buli kiseera bakoowu. Abakugu mu by’obulamu baakizuula nti ekyo kiyinza okukosa obulamu bw’omuntu. Olowooza kiki ekisobola okuyamba abantu ng’abo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli etuwa amagezi amalungi. [Soma Omubuulizi 4:6.] Akatabo kano kalimu amagezi ga mirundi ena agasobola okuyamba abakozi.”