LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 5/13 lup. 4
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
  • Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Laba Ebirala
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
km 5/13 lup. 4

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Jjuuni

“Kumpi buli gwe twogeddeko naye agamba nti yandyagadde ensi ebeemu emirembe. Ggwe olowooza lwaki ensi teriimu mirembe?” Muleke abeeko ky’addamu. Mulage ekitundu ekiri ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo ekisooka, era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako. Bwe muba temulina magazini ya Jjuuni, mukozese gye mwasembayo okufuna mu kibiina kyammwe n’ennyanjula ya magazini eyo eri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.

Mwetegereze: Nga Jjuuni 1, musaanidde okulaga ekyokulabirako nga mukozesa ennyanjula eyo mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira.

OMUNAALA GW’OMUKUUMI Jjuuni 1

“Tubakyaliddeko mu kitundu kino twogere ku kizibu ekitutuukako ffenna. Abantu abasinga obungi baali basosoddwako. Olowooza waliwo ekitundu kyonna ku nsi ekitaliimu busosoze? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze engeri Katonda gy’atwalamu abantu bonna. [Soma Ebikolwa 10:34.] Akatabo kano kannyonnyola engeri Katonda gy’ajja okumalawo obusosoze.”

Awake! Jjuuni

“Ffenna twandyagadde okuba mu bulamu obweyagaza. Bangi balowooza nti okuba n’ebintu ebingi kye kisobozesa omuntu okuba mu bulamu obweyagaza. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Yesu kye yayogera ku nsonga eyo. [Soma Lukka 12:15.] Akatabo kano kalaga endowooza gye twandibadde nayo ku bintu, era kalimu amagezi agasobola okutuyamba okukendeeza ensaasaanya yaffe.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza