LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 5/12 lup. 4
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Laba Ebirala
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Ezimu ku Nnyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 5/12 lup. 4

Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa

Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Jjuuni

Soma Okuva 6:2, 3, oluvannyuma ogambe nti: “Ekyawandiikibwa kino kiraga nti Katonda alina erinnya. Olowooza kikulu okukozesa erinnya lya Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze magazini eno ky’egamba.” Mukwase Watchtower eya Jjuuni 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono ogusooka ku lupapula 16. Muwe magazini zombi era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.

The Watchtower Jjuuni 1

“Nandyagadde okumanya endowooza gy’olina ku nsonga eno enkulu ennyo. [Bikkula olupapula 3, omulage olukalala oluliko.] Kiruwa ku bino ky’okkiriziganya nakyo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Bayibuli bwe yeeyogerako. [Soma Abaruumi 15:4.] Magazini eno eraga ensonga ttaano lwaki Bayibuli kitabo kya njawulo nnyo ku birala era n’engeri gy’eyinza okutuganyula.”

Awake! Jjuuni

“Buli mwaka abantu bukadde na bukadde okwetoloola ensi balwala olw’okulya emmere etali nnungi. Olowooza emmere gye tulya mu kitundu kyaffe kino nnungi oba si nnungi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola engeri nnya ze tuyinza okukuumamu ab’omu maka gaffe ne batafuna ndwadde ezisibuka ku mmere. Ate era eyogera ku kisuubizo kya Bayibuli ekiraga nti ekiseera kinaatera okutuuka buli muntu abeere n’emmere ennungi ng’ate emumala.” Soma Zabbuli 104:14, 15.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza