Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Apuli ne Maayi: Watchtower ne Awake! Abo ababa balaze okusiima, mubawe tulakiti Wandyagadde Okumanya Amazima? era mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli. Bwe muddayo eri abo abaagala okumanya ebisingawo nga mw’otwalidde n’abo abaaliwo ku mukolo gw’Ekijjukizo oba ku nkuŋŋaana ennene naye nga tebatera kubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mufube okutandika okubayigiriza Bayibuli nga mukozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Jjuuni: Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Mufube okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku mulundi gwe muba musoose okubakyalira. Abantu bwe basangibwa nga bakalina, era nga tebaagala kuyiga naffe Bayibuli, ababuulizi bayinza okubawa akatabo, Okumanya, oba brocuwa Atwetaagisa Ki? oba Beera Bulindaala! Jjulaayi ne Agusito: Ababuulizi bayinza okugaba brocuwa yonna ku zino wammanga ez’empapula 32. A Book for All People, Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwawo —Olizudde?, Emyoyo gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Katonda Atwetaagisa Ki?, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, Lasting Peace and Happiness—How to Find them, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Omwagalwa Wo bw’Afa, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, The Divine Name That Will Endure Forever, ne Was Life Created?
◼ Okutandika n’omwezi gwa Maayi, ebibiina byonna bisaanidde okukozesa Olwomukaaga olusooka olwa buli mwezi okufuba okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Ekitundu ekifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ekirina omutwe ogugamba nti “Yiga Okuva mu Kigambo kya Katonda” kitegekeddwa okuyamba ababuulizi okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Ku lupapula olw’emabega olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka buli mwezi, kujja kufulumirangako ezimu ku nnyanjula ze tuyinza okukozesa omwezi oguddako, nga mw’otwalidde n’amagezi aganaatuyamba okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu mwezi.