‘Totya’
1. Okufaananako Yeremiya, buzibu ki bwe tuyinza okuba nabwo ng’abantu kinnoomu?
1 Yeremiya bwe yaweebwa omulimu ogw’okuweereza nga nnabbi, mu kusooka yali yeetya. Naye Yakuwa yamugumya ng’amugamba nti, ‘totya,’ era mu ngeri ey’ekisa yamuzzaamu amaanyi asobole okutuukiriza omulimu ogwali gumuweereddwa. (Yer. 1:6-10) Leero, ensonyi oba okwetya oluusi kuyinza okutulemesa okwenyigira mu buweereza. Ebiseera ebimu, okutya engeri abantu gye bayinza okweyisaamu oba okututunuuliramu nga tubatwalidde obubaka bwaffe kiyinza okutulemesa okuwa obujulirwa. Kiki ekiyinza okutuyamba obutatya, era miganyulo ki gye tunaafuna kinnoomu?
2. Okweteekateeka kunaatuyamba kutya obutatya nga tuli mu buweereza bw’ennimiro?
2 Weeteeketeeke nga Bukyali: Okweteekateeka obulungi kiyinza okutuyamba obutatya. Okugeza, bwe twejjukanya ebyo bye tuyinza okwogera nga twanukula abaziyiza obubaka bwaffe, tujja kuba beeteefuteefu okwanukula abo abatuziyiza. (Nge. 15:28) Tekyandibadde kirungi singa mukozesa ekiseera ky’Okusinza kw’Amaka okwegezaamu engeri gye muyinza okwanukulamu abaziyiza obubaka bwaffe ku ssomero ne mu buweereza bw’ennimiro?—1 Peet. 3:15.
3. Okwesiga Yakuwa kunaatuyamba kutya obutatya?
3 Weesige Yakuwa: Ekinaasinga okutuyamba obutatya, kwe kwesiga Katonda. Yakuwa yasuubiza nti ajja kutuyamba. (Is. 41:10-13) Waliwo awalala we tuyinza okujja obukuumi obusinga obwo? Okugatta ku ekyo, Yesu yasuubiza nti bwe twesanga mu mbeera ze tuteetegekedde, omwoyo gwa Katonda omutukuvu gujja kutuyamba okuwa obujulirwa mu bujjuvu. (Mak. 13:11) N’olw’ensonga eyo, bulijjo saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu.—Luk. 11:13.
4. Miganyulo ki egiva mu kuba abanyiikivu mu buweereza bwaffe wadde nga tuziyizibwa?
4 Emiganyulo: Bwe tufuba okwenyigira mu buweereza wadde nga tuziyizibwa, kitunyweza okusobola okwaŋŋanga okugezesebwa kwe tuyinza okwolekagana nakwo mu biseera eby’omu maaso. Tufuna obuvumu—engeri eyeeyolekera mu abo abajjuziddwa omwoyo omutukuvu. (Bik. 4:31) Okugatta ku ekyo, bwe tuvvuunuka okwetya olw’obuyambi bwa Yakuwa, kyongera okunyweza okukkiriza kwaffe era ne tweyongera okwesiga omukono gwe ogulokola. (Is. 33:2) Era tufuna essanyu n’obumativu okukimanya nti tusanyusa Kitaffe ow’omu ggulu. (1 Peet. 4:13, 14) N’olwekyo, ka tuleme kutya kulangirira bubaka bw’Obwakabaka n’obuvumu, nga bulijjo tuba bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba!