Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Okitobba 18
WIIKI ETANDIKA OKITOBBA 18
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: 1 Ebyomumirembe 8-11
Na. 1: 1 Ebyomumirembe 11:1-14
Na. 2: Mu Ngeri Ki Omwoyo n’Omugole gye Bagamba nti, “Jjangu”? (Kub. 22:17)
Na. 3: Abajulirwa ba Yakuwa Bakkiriza nti Eddiini Yaabwe Ye Yokka Entuufu? (rs-E lup. 203 ¶4-5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Lwaki Kikulu Okutunuulira Abo Be Tubuulira mu Buweereza? Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 124, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 125, akatundu 4.
Ddak. 20: “Brocuwa Empya gye Tunaagaba!” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Nga muli ku katundu 1, yogera mu bufunze ku lukalala lw’ebyo ebiri mu brocuwa eyo. Bwe mumala akatundu 2 ne 3, laga ekyokulabirako ng’okozesa ennyanjula eziweereddwa. Bwe mumala akatundu 4, laga ekyokulabirako ku ngeri y’okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli ku mulundi gw’oba ozzeeyo okumukyalira.