Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Okitobba 11
WIIKI ETANDIKA OKITOBBA 11
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 24 ¶18-21, akas. ku lup. 249
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: 1 Ebyomumirembe 5-7
Na. 1: 1 Ebyomumirembe 6:31-47
Na. 2: Abajulirwa ba Yakuwa Kadiinidiini Akatategeerekeka, ye Bamaze Bbanga Ki? (rs-E lup. 202 ¶1–lup. 203 ¶3)
Na. 3: Abantu Abatatuukiridde Basobola Batya Okuba Abatukuvu? (1 Peet. 1:16)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Wandizzeemu Otya? Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 69, akatundu 1-5. Laga ekyokulabirako nga payoniya addamu omuyizi wa Baibuli ayagala okubaako ne ky’asalawo. Omuyizi amubuuza nti, “Wandikoze ki singa ggwe obadde mu mbeera gye ndimu?”
Ddak. 10: Okuba Abayonjo Kiweesa Katonda Ekitiibwa. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 137, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 138, akatundu 2. Saba abawuliriza boogere engeri obuyonjo n’endabika ennungi ey’Abajulirwa ba Yakuwa gye byabasikirizaamu okuyiga amazima.
Ddak. 10: “Totya.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.