Weteeseteese Okuyimbira Yakuwa mu Nkuŋŋaana Zaffe?
1 Okweteekerateekera enkuŋŋaana zaffe kizingiramu okwetegekera okuyimba ennyimba ezitendereza. Lowooza ku magezi gano wammanga.
2 Tegeera Ebigambo Ebiri mu Luyimba: Ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako oluyimba era n’ebyawandiikibwa ebirala ebiri ku nkomerero ya buli luyimba biraga nti ebigambo ebiri mu luyimba byesigamiziddwa ku Byawandiikibwa.
3 Weegezeemu: Muyinza okukozesa ebimu ku biseera eby’Okusinza kw’Amaka okwa buli wiiki ne mwegezaamu mu nnyimba empya. Muyimbe nga mugoberera amaloboozi agali ku ntambi ag’ennyimba ezinaayimbibwa mu buli lukuŋŋaana. Muyinza okuyiga ezimu ku nnyimba empya nga muwuliriza CD eyitibwa Sing to Jehovah—Vocal Renditions, Disc 1.
4 Onooba weteeseteese bulungi ku wiikendi eno nga tutandise okukozesa akatabo Muyimbire Yakuwa mu Lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi? Ojja kuba mweteefuteefu singa owaayo ebiseera okutegeera amakulu agali mu nnyimba era ne weegezaamu okuziyimba.