LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 12/09 lup. 3
  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 28

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 28
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Emitwe emitono
  • WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 28
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 12/09 lup. 3

Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 28

WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 28

Oluyimba 13

□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:

lv sul. 14 ¶15-19, akasanduuko ku lup. 167

□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:

Okusoma Baibuli: Yoswa 12-15

Okwejjukanya

□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:

Oluyimba 15

Ddak. 5: Ebirango. Yogera ku kitundu ekirina omutwe “Weteeseteese Okuyimbira Yakuwa mu Nkuŋŋaana Zaffe?” Kubiriza bonna okujja n’akatabo kaabwe ak’ennyimba akapya okutandika ne Jjanwali.

Ddak. 10: Engeri y’Okuddamu. Kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ku ebyo ebitera okw’ogerwa abo abatayagala bubaka bwaffe mu kitundu kyaffe. Lagayo ekyokulabirako ng’okozesa ekimu ku ebyo ebitera okwogerwa. (Laba akatabo Reasoning, olupapula 64-68.)

Ddak. 10: Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli. Bategeeze olunaku oluddako olw’okuyigiririzaako abantu Baibuli. Birungi ki ebivudde mu nteekateeka eno ey’okutandika okuyigiriza abantu Baibuli ku lunaku olw’enjawulo? Saba payoniya oba omubuulizi ayogere oba alage ekyokulabirako ng’akozesa ennyanjula esinze okusikiriza abantu mu kitundu kyammwe.

Ddak. 10: Ebitabo eby’Okugaba mu Jjanwali. Mu bufunze yogera ku ebyo ebiri mu bitabo ebyo. Laga ekyokulabirako ng’okubaganya ebirowoozo n’omubuulizi ku ngeri ez’enjawulo eziyinza okukozesebwa okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli embagirawo nga mweyambisa ekitabo ekigabibwa mu mwezi guno. Kubiriza bonna okufuba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli omwezi guno.

Oluyimba 86

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza