Okwejjukanya
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Ddesemba 28, 2009.
1. Abakristaayo leero bayinza batya okukolera ku musingi oguli mu Ekyamateeka 14:1? [w05 1/1 lup. 30; w04 10/1 lup. 11 kat. 3]
2. Omusingi oguli mu Ekyamateeka 20:5-7 guyinza gutya okuteekebwa mu nkola mu kibiina Ekikristaayo leero? [w04 10/1 lup. 11 kat. 4]
3. Ku bikwata ku ntalo, Abaisiraeri baayawukana batya ku mawanga amalala? (Ma. 20:10-15, 19, 20; 21:10-13) [cl lup. 134-135, kat. 17]
4. Kiki ekiyinza okutuyamba okuweereza Yakuwa n’omutima ogujaguza? (Ma. 28:47) [w95-E 1/15 lup. 16 kat. 4-5]
5. Abazadde bayinza batya okuganyulwa mu ebyo ebiri mu Ekyamateeka 32:9, 11, 12, ebiraga okwagala Yakuwa kwe yalina eri eggwanga lya Isiraeri? [w01 10/1 lup. 20 kat. 7-9]
6. Lwaki Lakabu yabuzaabuza abasajja ba kabaka abaali bannoonya abakessi? (Yos. 2:4, 5) [w05 4/1 lup. 29 kat. 6]
7. Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako ky’Abaisiraeri ekiri mu Yoswa 3:15, 16? [w05 4/1 lup. 30 kat. 5]
8. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yoswa gye yakwatamu obubbi bwa Akani? (Yos. 7:20-25) [w05 4/1 lup. 31 kat. 4]
9. Ebyo ebiri mu Yoswa 9:22, 23 bikakasa bitya okutuukirizibwa kw’Ekigambo kya Katonda? [w05 4/1 lup. 31 kat. 3; si-E lup. 44, kat. 13]
10. Ekyokulabirako kya Kalebu kiyinza kitya okutuzzaamu amaanyi? (Yos. 14:8, 10-12) [w05 4/1 lup. 32 kat. 3; w93-E 5/15 lup. 29 kat. 1]