LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 10/09 lup. 3
  • Akasanduuko K’ebibuuzo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Akasanduuko K’ebibuuzo
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Laba Ebirala
  • “Okulwanirira Amawulire Amalungi n’Okuganyweza Okuyitira mu Mateeka”
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • ‘Wa Obujulirwa mu Bujjuvu’—Ng’Obuulira mu Bizimbe Ebibaamu Abantu Abangi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Mubakyalire mu Bwangu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Tetusaanidde Kulwawo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
km 10/09 lup. 3

Akasanduuko K’ebibuuzo

◼ Kiki ky’Osaanidde Okukola Singa Olagirwa Okulekera awo Okubuulira?

Emirundi egimu, abapoliisi batuukiridde ababuulizi nga bali mu buweereza obw’engeri emu oba endala, ne babagamba nti bamenya mateeka, era ne babalagira okulekera awo okwenyigira mu buweereza obwo. Singa olagirwa okuva mu kitundu, osaanidde okukivaamu mu bwangu era mu bukkakkamu. (Mat. 5:41; Baf. 4:5) Togezaako kugonjoola nsonga eyo ku lulwo ng’obannyonnyola eddembe lye tulina mu mateeka ery’okubuulira. Bwe kiba kisoboka, mu ngeri ey’amagezi funa ennamba y’owa poliisi eri ku bbaagi ye ne poliisi gy’akolerako. Amangu ddala, buulira abakadde, era nabo bajja kutegeeza ofiisi y’ettabi ensonga eyo. Mu ngeri y’emu, singa oyo avunaanyizibwa ku kizimbe akusaba okukivaamu, osaanidde okukikola mu bwangu era ensonga eyo n’ogitegeeza abakadde. Singa tukolagana n’ab’obuyinza mu ngeri ey’obukkakkamu era ey’obuwombeefu, kiyinza okutuyamba okwewala ebizibu.​—Nge. 15:1; Bar. 12:18.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza