Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Okitobba 26, 2009.
1. Bwe kiba nti Yakuwa ye yagamba Balamu okugenda n’abasajja ba Balaki, lwaki ate yamunyiigira ng’agenze nabo? (Kubal. 22:20-22) [w04 8/1 lup. 32 kat. 1]
2. Finekaasi yatuteerawo kyakulabirako ki mu kulwanirira okusinza okw’amazima? (Kubal. 25:11) [w04 8/1 lup. 32. kat. 3]
3. Lwaki Yoswa ye yalondebwa okuddira Musa mu bigere? (Kubal. 27:15-19) [w02-E 12/1 lup. 12 kat. 1]
4. Okubala 31:27 luyinza lutya okuzzaamu Abakristaayo amaanyi leero? [w05 6/1 lup. 32]
5. Enteekateeka y’ebibuga eby’okuddukiramu etuyigiriza ki ku kisa kya Katonda? (Kubal. 35:11, 12) [lv lup. 84-85 kat. 24-25]
6. Lwaki kikulu Abakristaayo okuba n’amagezi, era kino kirimu miganyulo ki? (Ma. 1:13) [w03-E 1/15 30; w00-E 10/1 lup. 32 kat. 1-3]
7. Mu ngeri ki Amateeka ga Musa gye gaayolekamu obutuukirivu bwa Katonda? (Ma. 4:8) [w02 6/1 lup. 22 kat. 8–lup. 23 kat. 9-10]
8. Ng’osinziira ku ebyo ebiri mu Ekyamateeka 6:16-18, nnyonnyola engeri entuufu n’enkyamu ey’okugezesaamu Yakuwa. [w04 10/1 lup. 10 kat. 1]
9. Ebigambo bya Yakuwa byasobozesa bitya Abaisiraeri okufuna bye beetaaga, era ebigambo ebyo biyinza bitya okutuganyula leero? (Ma. 8:3) [w04 2/1 lup. 23 kat. 4]
10. Okusinziira ku ebyo ebiri mu Ekyamateeka 12:16, 24, twanditutte tutya obujjanjabi obuzingiramu okukozesa omusaayi gwaffe gwennyini? [w00-E 10/15 lup. 30 kat. 7]