Fenna Tusobola Okubaako Kye Tukola mu Kufuula Abantu Abayigirizwa
1 Omuntu okufuuka omuyigirizwa tekiva ku kufuba kwa muntu omu yekka. Yakuwa asobola okukozesa “bakozi banne” bonna okuyamba abayizi ba Baibuli okukulaakulana mu by’omwoyo. (1 Kol. 3:6-9) Buli omu ku ffe asobola okuyamba abapya ng’abaako by’addamu ebizimba mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo era nga yeeyisa bulungi, ekiraga nti tulina omwoyo gwa Katonda. (Yok. 13:35; Bag. 5:22, 23; Bef. 4:22, 23) Kiki ekirala ekiyinza okukolebwa okusobola okuyamba abapya?
2 Ng’Ekibiina: Fenna tusobola okulaga nti tufaayo ku abo abaakatandika okujja mu nkuŋŋaana nga tubabuuza n’essanyu era nga tunyumya nabo ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde. Ng’ayogera ku mulundi gwe yasookera ddala okujja mu nkuŋŋaana zaffe, omusajja omu yagamba bw’ati: “Abantu be nnasanga ku lunaku olwo abandaga okwagala okwannamaddala wadde nga baali tebamanyi, baali bangi okusinga abo abaali mu kkanisa gye nnalimu okuviira ddala mu buto. Kyali kyeraga lwatu nti nnali nzudde amazima.” Yabatizibwa oluvannyuma lw’emyezi musanvu okuva ku lunaku lwe yasooka okugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina.
3 Weebaze omuyizi wa Baibuli olw’okukulaakulana kw’aba atuuseeko mu by’omwoyo. Amaze ebbanga ng’agumiikiriza okuziyizibwa? Ajja mu nkuŋŋaana obutayosa? Alina kye yazzeemu mu lukuŋŋaana? Ayingidde Essomero ly’Omulimu gwa Katonda Oba atandise okwenyigira mu buweereza? Mwebaze olw’okukulaakulana okwo kw’aba atuuseeko. Kino kijja kumuzzaamu nnyo amaanyi.—Nge. 25:11.
4 Ng’Oyo Amuyigiriza Baibuli: Ababuulizi abamu basobodde okuyamba abayizi baabwe aba Baibuli okumanya abamu ku b’oluganda abali mu kibiina nga basaba ababuulizi abalala okubawerekerako nga bagenda okuyigiriza abayizi baabwe. Amangu ddala nga wakatandika okusoma n’omuyizi wo, mukubirize okujja mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Bw’atandika okujja mu nkuŋŋaana, fuba okumwanjula eri abalala. Alina omuze gw’afuba ennyo okuvvuunuka, gamba nga ogw’okunywa sigala? Mu maka gy’abeera eriyo omuntu atayagala ayige Baibuli? Ayinza okuganyulwa singa ayogerako n’omubuulizi eyalina ekizibu ng’ekikye naye n’asobola okukivvuunuka.—1 Peet. 5:9.
5 Abapya beetaaga obuyambi obw’eby’omwoyo okuva eri ekibiina. Fenna tusobola okubayamba okukulaakulana mu by’omwoyo bwe tubalaga nti ddala tubafaako.