Programu Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Apuli 9
Oluyimba 89
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Kubiriza bonna okulaba omuzannyo oguli ku DVD eyitibwa Young People Ask—What Will I Do With My Life? nga beetegekera okukubaganya ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olunaabaawo wiiki ejja. Yogera ku kasanduuko akayitibwa “Main Menu,” era onnyonnyole n’engeri y’okukakozesaamu okusobola okulaba ebiri mu DVD eyo. Bwe muba nga temulina DVD eyo, muteeketeeke okukubaganya ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe ogugamba: “Obuwanguzi mu Bulamu Obupimira ku Ki?” ekiri mu Watchtower eya Noovemba 1, 2000, olupapula 18-21. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 oba ebirala ebituukagana n’ekitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Maaki 15 ne Awake! eya Maaki. Mu kimu ku byokulabirako, omubuulizi abuuze nnyinimu ekibuuzo ky’anaddamu ng’azzeeyo okumukyalira.
Ddak. 15: “Fenna Tusobola Okubaako Kye Tukola mu Kufuula Abantu Abayigirizwa.”a Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, saba abawuliriza boogere ku ngeri ab’oluganda mu kibiina gye baabazzaamu amaanyi bwe baali nga tebannabatizibwa. Eky’okuddamu kimu oba bibiri biyinza okutegekebwa nga bukyali.
Ddak. 20: “Engeri y’Okutandika Okuyigiriza Baibuli Abo Be Tuwa Magazini.”b Laga ekyokulabirako mu bufunze ng’okozesa ekimu ku birowoozo ebiri mu katundu 2. Jjukiza ababuulizi nti omuntu asobola okutwalibwa ng’omuyizi wa Baibuli singa osoma naye emirundi ebiri okuva lwe wamulaga enteekateeka ey’okuyiga Baibuli era ng’oli mukakafu nti ajja kweyongera okuyiga.
Oluyimba 19 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Apuli 16
Oluyimba 42
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Amawulire ga Teyokulase.
Ddak. 15: “Buulira Ekigambo kya Katonda Awatali Kutya.”c NEbiseera bwe bibaawo, saba abawuliriza babeeko bye boogera ku byawandiikibwa ebiragiddwa.
Ddak. 20: Okukubaganya ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe “Obuwanguzi mu Bulamu Obumipira ku Ki?” ekiri mu Watchtower eya Noovemba 1, 2000, olupapula 18-21. Bwe muba nga mulina DVD, kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ku kitundu ekigamba nti “Obulamu Bwo Onoobukozesa Otya?”—Ekitundu 1.d Oluvannyuma lw’ennyanjula eyeesigamiziddwa ku butundu 1-2, tandikirawo okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo ebiweereddwa mu butundu 3-4. Nga mukubaganya ebirowoozo ku kibuuzo 4 ekiri mu katundu 3, soma ebyawandiikibwa byombi ebiri mu katundu ako. Ng’ofundikira, yogera ku kasanduuko akayitibwa “Main Menu.” Kubiriza bonna okulaba ekitundu ekya “Okubuuza Ebibuuzo” n’ekya “Ebirala Ebyongerezeddwako” ebiri ku DVD nga beetegekera okugikubaganyaako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza olunaabaawo wiiki ejja.
Oluyimba 91 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Apuli 23
Oluyimba 96
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma lipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 oba ebirala ebituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Apuli 1 ne Awake! eya Apuli.
Ddak. 10: Laba! Ekitangaala eky’Ekitalo! Kwogera okwesigamiziddwa ku Watchtower eya Maaki 15, 2007, empapula 12-14.
Ddak. 25: Mukubaganye ebirowoozo ku kitundu ekigamba nti “Abavubuka, Mweteekerateekera Ebiseera eby’Omu Maaso?” ekiri mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 1, 2004, empapula 23-28, oba bwe muba nga mulina DVD, mukubaganye ebirowoozo ku kitundu “Obulamu bwo Onoobukozesa Otya?”—Ekitundu 2.e Tandikirawo okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ku buli kibuuzo ekiweereddwa mu butundu 5-7. Fundikira n’akatundu 8 ng’oyogera n’ebbugumu.
Oluyimba 76 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Apuli 30
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi bonna okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Apuli.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 30: “Okutuukiriza Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ng’Abajulirwa ba Yakuwa.”f
Oluyimba 48 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maayi 7
Oluyimba 72
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 15: Enteekateeka Ezikwata ku Bifo eby’Okusinzizaamu. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku suula 11 ey’akatabo Organized to Do Jehovah’s Will.
Ddak. 20: “Bwe Tutasanga Bantu mu Maka Gaabwe.”g Kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza.
Oluyimba 8 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
e By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
f By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
g By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.