LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/07 lup. 1
  • ‘Buulira Ekigambo kya Katonda Awatali Kutya’

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • ‘Buulira Ekigambo kya Katonda Awatali Kutya’
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Laba Ebirala
  • Koppa Yesu ng’Obuulira n’Obuvumu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Weeyongere Okubuulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Obuulira n’Obuvumu?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • ‘Yogera Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 4/07 lup. 1

‘Buulira Ekigambo kya Katonda Awatali Kutya’

1 Oluusi owulira ng’otya okutegeeza abalala enzikiriza zo lw’oba ofunye akakisa ng’oli ku ssomero oba ku mulimu? Okisanga nga kizibu okubuulira embagirawo ab’eŋŋanda zo ne balirwana bo oba n’abantu abalala b’otamanyi? Kiki ekinaatuyamba ffenna okukozesa buli kakisa ke tuba tufunye ‘okubuulira ekigambo kya Katonda awatali kutya’?​—Baf. 1:14.

2 Tolonzalonza: Wandisirise busirisi nga mukwano gwo ow’okulusegere oba ng’omu ku b’eŋŋanda zo bamwogerako eby’obulimba, oba wandimuwolerezza? Yakuwa, Mukwano gwaffe asingayo okuba ow’okulusegere, ayogeddwako eby’obulimba okumala ebyasa n’ebyasa. Tulina enkizo ey’enjawulo ey’okuwa obujulirwa ku Katonda waffe ow’ekitalo! (Is. 43:10-12) Okwagala okungi kwe tulina eri Yakuwa kutusobozesa okubuulira amazima awatali kutya.​—Bik. 4:26, 29, 31.

3 Kijjukire nti obubaka bwe tubuulira mawulire malungi. Abo abakolera ku ebyo bye tubuulira, bajja kufuna emiganyulo egy’olubeerera. Bwe tussa ebirowoozo byaffe ku bukulu bw’omulimu gw’okubuulira, mu kifo ky’okubissa ku ffe ffennyini oba ku abo abatuziyiza, kijja kutuyamba okubuulira n’obuvumu.

4 Ebyokulabirako by’Abalala: Tusobola okufuna amaanyi okuva mu byokulabirako eby’abantu abalala abeesigwa abaabuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu. Ng’ekyokulabirako, Enoka yalangirira n’obuvumu omusango Yakuwa gwe yali asalidde abantu aboonoonyi abaali batatya Katonda. (Yuda 14, 15) Nuuwa yafuba okukola omulimu gw’okubuulira wadde ng’abantu baali tebeefiirayo. (Mat. 24:37-39) Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, abaali ‘batamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo,’ beeyongera okubuulira wadde nga baali boolekaganye n’okuziyizibwa okw’amaanyi. (Bik. 4:13, 18-20) Mu Watchtower ne mu Awake! mutera okubaamu ebyafaayo by’obulamu bw’abaweereza ba Katonda ab’omu kiseera kino abavvuunuka ekizibu ky’okutya abantu olw’okukkiriza kwe baalina mu Yakuwa era ne kibaviirako okuba abalangirizi bw’Obwakabaka abanyiikivu.

5 Tusobola okufuna obuvumu bwe tufumiitiriza ku bulamu bw’abaweereza ba Katonda abeesigwa ab’edda abaayolekagana n’embeera enzibu. (1 Bassek. 19:2, 3; Mak. 14:66-71) ‘Katonda yabawa obuvvumu’ ne basobola okubuulira awatali kutya. Naffe tusobola okukola kye kimu!​—1 Bas. 2:2, NW.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza