LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 8/06 lup. 4
  • Programu Empya ey’Olukuŋŋaana lw’Ekitundu

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Programu Empya ey’Olukuŋŋaana lw’Ekitundu
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Laba Ebirala
  • Olukuŋŋaana lw’Ekitundu Olunaatuyamba Okwongera Okwenyweza mu by’Omwoyo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Programu Empya ey’Olukuŋŋaana olw’Olunaku Olumu
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • ‘Emmere mu Kiseera Ekituufu’
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Fuba Okukuuma Ebirowoozo Byo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 8/06 lup. 4

Programu Empya ey’Olukuŋŋaana lw’Ekitundu

Ebyo ebiriwo leero biwa ekifaananyi nti enteekateeka y’ebintu eno eriwo yakubeerawo emirembe gyonna. Kyokka, Ekigambo kya Katonda tekiyigiriza bwe kityo. (1 Yok. 2:15-17) Kituyamba okutegeera nti ‘okutereka eby’obugagga mu nsi’ buba butaliimu. Okusobola okugumya abantu ba Katonda, programu y’olukuŋŋaana lw’ekitundu ey’omwaka gw’obuweereza 2007 ejja kukulaakulanya omutwe ogugamba nti: ‘Tereka eby’Obugagga mu Ggulu.’​—Mat. 6:19, 20.

Ebyo ebyogerwako mu Abaefeso 2:2 awagamba nti “obuyinza obw’omu bbanga, omwoyo ogukoza kaakano mu baana abatawulira,” bizingiramu omwoyo gw’okwagala ebintu. Ng’empewo gye tussa bw’eri buli wamu, ‘n’omwoyo gw’ensi’ bwe gutyo bwe guli. (1 Kol. 2:12) Olw’okuba gulina amanyi okutwaliriza abantu, gugambibwa okuba ‘n’obuyinza.’ Programu empya ey’olukuŋŋaana lw’ekitundu ejja kutuyamba okwewala ensi erowooleza mu kufuna ebintu n’okukulembeza eby’omwoyo. (Mat. 6:33) Okugatta ku ekyo, programu ejja kutulaga engeri y’okwesiga Yakuwa mu buweereza bwaffe wadde nga tulina ebizibu.

Kakasa nti obeerawo ennaku zombi era ‘osseeyo nnyo omwoyo.’ (Beb. 2:1, NW) Wandiika mu bufunze ebyo bye wandyagadde okuteeka mu nkola mu bulamu bwo ne mu buweereza bwo. Bw’onoobeerawo okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero ya programu y’olukuŋŋaana luno, ojja kuzzibwamu amaanyi weeyongera ‘okutereka eby’obugagga mu ggulu’!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza