Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Agusito 28, 2006. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 30, ng’akwesigamya ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Jjulaayi 3 okutuuka nga Agusito 28, 2006. [Weetegereze: Bwe watabaawo kitabo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okunoonyereza okusobola okufuna eky’okuddamu.—Laba ekitabo Ssomero ly’Omulimu, lup. 36-7.]
ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU
1. Okutunuulira abawuliriza kiyinza kitya okutuyamba okuyigiriza obulungi? (Mat. 19:25, 26; Bik. 14:9, 10) [be-LU lup. 124 kat. 3–lup. 125 kat. 3]
2. Lwaki kikulu okwogera mu ngeri eya bulijjo, era kino tuyinza kukikola tutya nga tuli mu buweereza bw’ennimiro? [be-LU lup. 128 kat. 1-5, akasanduuko]
3. Lwaki tusaanidde okulabika obulungi? [be-LU lup. 131 kat. 1-3]
4. Okuba ‘abeegendereza n’okwoleka endowooza ennuŋŋamu’ bikwata bitya ku ngeri gye twambalamu ne gye twekolako? (1 Tim. 2:9) [be-LU lup. 131 kat. 4–lup. 132 kat. 1]
5. Misingi ki egya Baibuli eginaatuyamba okwoleka omwoyo gw’ensi? [be-LU lup. 133 kat. 2-3]
EMBOOZI 1
6. Omuganyulo ogusingirayo ddala ogw’okumanya okusoma gwe guluwa? [be-LU lup. 21 kat. 3]
7. Tumanyira ku ki omuntu mugezi n’omusiru? (Nge. 14:2) [w04 11/15 lup. 26 kat. 5]
8. Lwaki ‘okumanya kwangu eri oyo alina okutegeera’? (Nge. 14:6) [w04 11/15 lup. 28 kat. 4-5]
9. Okweyigiriza kye ki? [be-LU lup. 27 kat. 3]
10. Tuyinza kukwatibwako tutya bwe tufumiitiriza ku bitonde bya Yakuwa? [w04 11/15 lup. 8 kat. 4]
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Mu ngeri ki Yakuwa gye “yawa ekigambo” mu biseera eby’edda, ne kiviirako eggye eddene ery’abakazi ‘okubuulira amawulire amalungi,’ era kino kituukirizibwa kitya leero? (Zab. 68:11)
12. Kyava ku ki okuba nti Asafu yali abulako katono okuva mu kkubo eggolokofu, era yayambibwa atya okutereeza endowooza ye? (Zab. 73:2, 3, 17)
13. Lwaki emmaanu eyaweebwa Abaisiraeri yayitibwa “emmere ey’omu ggulu” era “emmere ey’abakulu”? (Zab. 78:24, 25)
14. ‘Ekifo eky’ekyama eky’Oyo ali Waggulu Ennya’ kye kiruwa, era tuyinza tutya ‘okukituulamu’? (Zab. 91:1, 2)
15. Mu ngeri ki okufa kw’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa gye kuli okw’omuwendo mu maaso ge? (Zab. 116:15)