Obulamu Buli mu Kabi!
1 Baibuli eraga bulungi Yakuwa ky’ayagala nti ‘abantu aba buli kika balokolebwe.’ Kyokka, era kituufu nti obulamu obusuubirwa okufunibwa obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abali ku nsi, businziira ku ndowooza gye balina eri Yakuwa Katonda n’Obwakabaka bwe obufugibwa Yesu Kristo. Endowooza entuufu eyinza okwesigamizibwa ku “kumanya okutuufu okw’amazima” Kwokka. (1 Tim. 2:3, 4, NW) Wadde tulina okuwa okulabula nti mangu ddala ensi ejja kuggibwamu obubi bwonna okusobola okutemera oluwenda ekkubo ensi ya Katonda empya ey’obutuukirivu, era tuweereddwa omulimu omukulu ogw’okuwoonya obulamu.—Mat. 24:14; 28:19, 20; Bar. 10:13-15.
2 Lwaki mu Bwangu Nnyo? Yesu yalabula ku ‘kibonyoobonyo ekinene ekitabangawo kasookedde ensi ebaawo.’ (Mat. 24:21) Ekibonyoobonyo ekyo kijja kutuuka ku ntikko yaakyo ku Kalumagedoni. (Kub. 16:16) Abantu bangi nga mw’otwalidde n’ab’eŋŋanda zaffe, baliraanwa baffe, be tukola nabo, be tusoma nabo, n’abamanyi, bonna boolekedde okuzikirizibwa singa balemererwa okwanukula amawulire amalungi. Naye ekigendererwa kyaffe kwe kutuukirira ‘abantu aba buli kika’ nga tukoppa Katonda, eyayoleka okwagala kwe eri ensi yonna ng’awaayo Omwana we, Yesu Kristo, ng’ekinunulo ku lw’abangi. (Yok. 3:16) N’obunyiikivu tuteekwa okuyamba bonna okuddukira eri ekifo kya Katonda eky’obukuumi. Nga tutuukiriza omulimu ogw’okubuulira mu bujjuvu, tuyinza okwewala okuvunaanibwa omusango ogw’okuyiwa omusaayi.—Ez. 33:1-7; 1 Kol. 9:16.
3 Ekiruubirirwa Kyaffe Kye Kiruwa? Obukulu bw’omulimu gw’okubuulira bussibwako essira mu Kigambo kya Katonda kyonna. Ng’omutume Pawulo bwe yagamba, “okwagala kwa Kristo kutuwaliriza” okugoberera amakubo ga Katonda. (2 Kol. 5:14) Okwongereza ku ekyo, Omunaala gw’Omukuumi bulijjo gussa essira ku buvunaanyizibwa bwaffe obw’okubuulira. Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka buli kiseera katuwa obulagirizi ku ngeri y’okukolamu omulimu gw’okubuulira. Abakadde mu kibiina bateekateeka omulimu era ne batukubiriza okugwenyigiramu. Babuulizi bannaffe batuyita okukola nabo mu buweereza. Tuwulira bingi ebikwata ku kuteekateeka ennyanjula yaffe, okugaba magazini, n’ebitabo ebirala, okukola okudiŋŋana, okuyigiriza Baibuli, era n’okukozesa buli kakisa konna okuwa obujulirwa. Bino byonna bituyamba okutuukiriza ekiruubirirwa kyaffe eky’okuwoonya obulamu.—1 Kol. 9:22, 23; Bef. 1:13.