Omukisa gwa Yakuwa Gutugaggawaza
1 Omuntu okutuuka ku buwanguzi kitera kupimirwa ku ssente z’asasulwa. Ye nsonga lwaki abantu bangi balowooza nti abalina ssente be basingayo okubeera abasanyufu era abamativu. Kyokka, abantu abalowooza nti ssente ziyinza okugula essanyu bawubisiddwa. (Mub. 5:12) Tewaliwo ssanyu lya nkalakkalira eri abo “abaagala okugaggawala” mu ngeri y’okufuna ebintu. (1 Tim. 6:9) Okwawukana ku ekyo, abaweereza ba Yakuwa basanyufu ddala era be basingayo okuba abagagga mu nsi yonna. (Nge. 10:22; Kub. 2:9) Mu ngeri ki?
2 Ebiraga Nti Tuli Bagagga: Tulina amagezi ag’eby’omwoyo era n’okutegeera Ekigambo kya Katonda, Baibuli. Okuyitira mu ntegeka ye ey’oku nsi, Yakuwa buli kiseera atuyigiriza ebimukwatako n’Omwana we, okusobola okutuganyula emirembe gyonna. Okutegeera okutuufu kutusobozesa okusemberera Yakuwa era n’okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere naye. (Yak. 4:8) Okwawula ekirungi okuva ku kibi era n’okugoberera amateeka ga Katonda kituyamba obutafuna ndwadde ezimu n’emitawaana. Tulina obwesige nti Yakuwa ajja kutulabirira, ekinaatuviiramu obumativu obuva eri Katonda era n’emirembe mu mutima.—Mat. 6:33.
3 Tulina emirembe n’obumu mu luganda lwaffe olw’eby’omwoyo kubanga tukulaakulanya ebibala by’omwoyo gwa Katonda. Nga tugattiddwa wamu mu kwagala okunywevu, tetulowoozanga nti Katonda oba baganda baffe batwabulidde bwe tuba twolekaganye n’ebizibu.—Bag. 6:10.
4 Obulamu bwaffe bulina amakulu n’ekigendererwa ekya nnamaddala. Tukitwala nga nkizo ya kitalo nnyo okwenyigira mu kubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna. Kino kireeta essanyu ery’enkalakkalira nga tuyamba abalala okufuna enkolagana ennungi ne Katonda era ne baweerereza wamu naffe mu kusinza okulongoofu. Eky’obugagga kyaffe eky’omuwendo ennyo eky’obuweereza kireetera Yakuwa ekitiibwa era kituwa essanyu ery’okwenyigira mu kutukuza erinnya lye. Tuba n’endowooza ennuŋŋamu, nga tumanyi nti essuubi lyaffe ery’omu biseera eby’omu maaso mangu ddala lijja kutuukirizibwa.
5 Okulaga Okusiima Kwaffe: Ka bulijjo tulage nti tusiima emikisa gya Yakuwa, egitufuula abantu abasingayo okuba abagagga mu nsi. (Nge. 22:4) Okufuna ekiseera buli lunaku okufumiitiriza ku ebyo bye tulina kituleetera okwebaza Yakuwa olw’okwagala kwe era n’okweyongera okumusinza ye yekka.