LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 9/00 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Ssebutemba 11
  • Wiiki Etandika Ssebutemba 18
  • Wiiki Etandika Ssebutemba 25
  • Wiiki Etandika Okitobba 2
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 9/00 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Ssebutemba 11

Oluyimba 139

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.

Ddak. 15: “Omukisa gwa Yakuwa Gutugaggawaza.” By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, era oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo n’okuddamu.​—Laba Ekitabo Insight, Omuzingo 2, olupapula 804, obutundu 6-7.

Ddak. 20: “Kozesa Embeera Eziriwo Okusikiriza Omuntu.” Okukubaganya ebirowoozo n’abakuwuliriza n’okulaga eby’okulabirako. Yogera ku mbeera nnyingi eziriwo ezisikiriza abantu mu kitundu kyammwe. Bino biviiriddeko birowoozo ki ebikwata ku biseera eby’omu maaso? Ng’okozesa ekitabo Reasoning, empapula 10-11, bawe amagezi ku ngeri y’okuteekateekamu ennyanjula eziyinza okuvaamu okukubaganya ebirowoozo ku Baibuli. Lagayo ebyokulabirako bibiri ebitegekeddwa obulungi.

Oluyimba 224 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Ssebutemba 18

Oluyimba 2

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira.

Ddak.15: Twakola Tutya Omwaka Oguyise? Kwogera kw’omulabirizi w’obuweereza. Yogera ku bikulu okuva mu lipoota y’ekibiina ey’omwaka 2000 ogw’obuweereza. Beebaze olw’ebintu ebirungi ebyatuukirizibwa. Yogera ku bitundu ebyetaaga okulongoosaamu. Essira lisse ku ngeri ekibiina gye kikozeemu mu kubeerawo mu nkuŋŋaana, okutandika n’okuyigiriza abayizi ba Baibuli, n’obutayosa kugenda mu buweereza obw’omu nnimiro. Yogera ku biruubirirwa eby’omwaka ogujja.

Ddak. 20: “Obulamu Buli mu Kabi!” Okukubaganya ebirowoozo n’abakuwuliriza. Tangaaza ku byawandiikibwa ebiragiddwa mu kitundu.

Oluyimba 30 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Ssebutemba 25

Oluyimba 93

Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota z’obuweereza bw’ennimiro eza Ssebutemba. Yogera ku Kasanduuko k’Ebibuuzo.

Ddak. 15: “Enteekateeka Yaffe Egonzeddwamu ey’Okugaba Ebitabo.” Laga ekyokulabirako nga omubuulizi alina obumanyirivu alaga engeri y’okugabamu ebitabo nga mw’otwalidde n’okubuuza nnyinimu obanga yandyagadde okubaako ky’atona eri omulimu.

Ddak. 15: Omugaso gwa Magazini Zaffe Tegukendeera. Kiki ky’okola magazini enkadde eza Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! nga zeetuumye? Ababuulizi abamu bayinza okulowooza okuzisuula, nga balowooza nti ebirimu byayita dda. Okwawukana ku ekyo, Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 1993, olupapula 3, katukubiriza okutwala ezimu ku magazini enkadde n’okuzigaba we kiba kisaanidde. Oyinza okulondamu ebitundu ebituukirawo ebiyinza okusikiriza abasajja, abakazi, abayivu, bannamukadde, n’abatiini; era beera mwetegefu okuzigaba singa wabeerawo omukisa. Laga ekyokulabirako ku ngeri ebitundu gye biyinza okulondebwamu era n’okugabibwa. Waayo ebyokulabirako ebirungi ababuulizi mwe bagabidde magazini enkadde.

Oluyimba 115 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Okitobba 2

Oluyimba 169

Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Tegeeza ekibiina ku nteekateeka ey’enjawulo ey’okugaba Amawulire g’Obwakabaka Na. 36, enneetandika ku Bbalaza, nga Okitobba 16, okutuuka ku Lw’Okutaano nga Noovemba 17. Kubiriza bonna, awamu n’abato era n’abappya, okugyenyigiramu. Abakubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina balina okutandika kati okukubiriza n’okuteekateeka bonna mu kibinja kyabwe okwenyigiramu n’obunyiikivu nga bwe kisoboka. Yogera ku byokulabirako eby’ava mu kugaba Amawulire g’Obwakabaka okwayita.

Ddak. 15: “Nsenguke?” Okwogera kw’omukadde. Nnyonnyola lwaki waliwo obwetaavu okukozesa amagezi mu kusalawo okusengukira awalala. Yogera ku ngeri y’okukozesaamu okubuulirirwa okuli mu Engero 22:3. Era yogera ku bintu eby’okwegendereza ebiri mu Watchtower aka 15, 1988, olupapula 22.

Ddak. 15: Ebyokulabirako mu Kutandika Emboozi. Mu programu y’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza eya wiiki eyatandika nga Ssebutemba 11, kyagambibwa nti tukozese ennyanjula ezikwata ku mbeera ezibaawo okusobola okusikiriza abantu era n’okutandika emboozi n’abo mu buweereza. Saba abawuliriza boogere ku birungi ebivudde mu kussa mu nkola ebirowoozo bino.

Oluyimba 205 n’okusaba okufundikira.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza