LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w09 7/15 lup. 24-27
  • Nnatandika ‘Okujjukira Omutonzi Wange’ Emyaka Kyenda Emabega

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Nnatandika ‘Okujjukira Omutonzi Wange’ Emyaka Kyenda Emabega
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Nnyingira Obuweereza obw’Ekiseera Kyonna
  • Tubuulira Amawulire g’Obwakabaka mu Nsi Endala
  • Akasasamalo Kaleetera Omulimu Gwaffe Okumanyika
  • Tukolera mu Nkukutu
  • Nfuna Enkizo n’Emikisa mu Northern Ireland
  • Nzirayo mu Buvanjuba bwa Bulaaya
  • ‘Yakuwa Teyandekerera’
  • Nfunye Essanyu mu Kuweereza Yakuwa era Njize Ebintu Bingi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • “Ekisuubizo kya Katonda eky’Okufuula Ensi Olusuku lwe Kyakyusa Obulamu Bwange”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 7/15 lup. 24-27

Nnatandika ‘Okujjukira Omutonzi Wange’ Emyaka Kyenda Emabega

Byayogerwa Edwin Ridgwell

NGA Noovemba 11, 1918, abaana bonna ku ssomero lyaffe baakuŋŋaanyizibwa ne bajaguza okuggwa kwa Ssematalo I. Omukolo ogwo saagutegeera bulungi olw’okuba nnalina emyaka etaano gyokka. Naye okusinziira ku bazadde bange bye baali banjigirizza, nnali saagala kugwetabamu. Nnasaba Katonda annyambe, kyokka era kyampitirirako ne ntulika ne nkaaba. Naye omukolo gwo saagwetabaamu. Awo we nnatandikira ‘okujjukira Omutonzi wange.’​—Mub. 12:1.

Emyezi mitono nga kino tekinnabaawo, twali tusenguse ne tugenda mu kitundu ekiri okumpi n’ekibuga Glasgow eky’omu Scotland. Mu kiseera ekyo, Taata yagenda n’awuliriza okwogera okwalina omutwe “Abantu Bukadde na Bukadde Abaliwo Kati Tebagenda Kufa.” Bye yawulira mu kwogera okwo byakyusa obulamu bwe. Taata ne Maama baatandika okuyiga Baibuli era baayogeranga nnyo ku Bwakabaka bwa Katonda n’emikisa gye bwandireese. Nneebaza Katonda nti okuva olwo bazadde bange baafuba okunjigiriza okwagala Katonda n’okumwesiga.​—Nge. 22:6.

Nnyingira Obuweereza obw’Ekiseera Kyonna

Bwe nnaweza emyaka 15, nnali nsobola okweyongerayo okusoma mu matendekero aga waggulu, naye saakikola olw’okuba nnali njagala kuyingira buweereza obw’ekiseera kyonna. Taata yagamba nti nnali nkyali muto nnyo, era bwe ntyo nnafuna omulimu mu ofiisi emu ne ngira nga nkola. Kyokka olw’okuba nnali njagala nnyo okuweereza Yakuwa ekiseera kyonna, nnasalawo okuwandiikira J. F. Rutherford eyali alabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna mu kiseera ekyo. Nnamunnyonnyola ensonga yange era ne mmusaba ampe ku magezi. Ow’oluganda Rutherford yanziramu n’aŋŋamba nti: “Bw’oba oli mukulu ekimala okukola, oli mukulu ekimala okuyingira mu buweereza bwa Mukama waffe. . . . Ndi mukakafu nti Mukama waffe ajja kukuwa emikisa mingi bw’onoofuba okumuweereza n’obwesigwa.” Ffenna mu maka twakwatibwako nnyo olw’ebbaluwa eyo eyawandiikibwa nga Maaki 10, 1928. Mu bbanga ttono, Taata, Maama, mwannyinaze omukulu, awamu nange, ffenna twayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.

Mu lukuŋŋaana olunene olwali e London mu 1931, Ow’oluganda Rutherford yasaba ab’oluganda okwewaayo okubuulira amawulire amalungi mu nsi ezitali zimu. Omulanga guno nnagwanukula, era nze ne Andrew Jack twasindikibwa okuweereza e Kaunas, nga kino kye kyali ekibuga ekikulu ekya Lithuania. Mu kiseera ekyo nnalina emyaka 18.

Tubuulira Amawulire g’Obwakabaka mu Nsi Endala

Abantu b’omu Lithuania baali balimi ate nga baavu nnyo, era okubuulira mu byalo kyali kizibu. Tekyali kyangu kufuna wa kusula, era ebifo ebimu we twasulanga ndifa sibyerabidde. Ng’ekyokulabirako, lumu nze ne Andrew twazuukuka ekiro nga tuwulira ebintu ebituluma. Twagenda okukoleeza ettaala nga mu buliri bwaffe mwonna mujjudde ebiku. Byatuluma okuva ku mutwe okutuukira ddala ku bigere! Buli ku makya okumala wiiki nnamba, nnennyikanga mu mugga ogwatuli okumpi nsobole okukendeeza ku bulumi. Wadde kyali kityo, twali bamalirivu okweyongera mu maaso n’obuweereza bwaffe. Nga wayise ebbanga ttono, ekizibu ky’aw’okusula kyagonjooka bwe twasanga omwami omu ne mukyala we abakkiriza amazima. Baatukkiriza tusulenga nabo mu nnyumba yaabwe eyali entono, naye nga nnyonjo. Kino kyatuleetera obuweerero bwa maanyi, wadde nga twali tusula wansi!

Abakulembeze b’eddiini y’Abakatuliki n’ey’Abasodookisi baalina obuyinza bwa maanyi mu Lithuania. Abagagga bokka be baali basobola okugula Baibuli. Ekigendererwa kyaffe ekikulu kwali kutuukirira abantu bangi nga bwe kisoboka, n’okulekera abo abasiimye obubaka bwaffe ebitabo ebinnyonnyola Baibuli. Mu buli kitundu gye twagendanga, twatuukiranga mu kibuga ne tufuna aw’okusula. Oluvannyuma twagendanga ne tubuulira nga tusookera mu byalo, ne tulyoka tubuulira mu kibuga mu bwangu nga bwe kisoboka. Mu ngeri eyo, twasobolanga okumaliriza omulimu gwaffe ng’abakulembeze b’eddiini mu kitundu tebannagaana bantu kutuwuliriza.

Akasasamalo Kaleetera Omulimu Gwaffe Okumanyika

Mu 1934, Andrew yasabibwa okuweereza ku ofiisi y’ettabi e Kaunas, olwo ne ntandika okukola ne John Sempey. Ebimu ku bintu ebyatutuukako siribyerabira. Lumu bwe nnali mu kibuga ekimu, nnayingira mu ofiisi ya looya. Kino omusajja oyo kyamunyiiza nnyo, era yaggyayo pisito n’aginsongamu nga bw’andagira okufuluma. Amangu ago nnasaba Katonda mu kasirise era nnajjukira ebigambo bya Baibuli bino: “Okuddamu n’eggonjebwa kukyusa ekiruyi.” (Nge. 15:1) Bwe ntyo nnagamba omusajja oyo nti, “Nzize lwa bulungi nga nkuleetedde amawulire amalungi, era nkwebaza okuba nti tonkozeeko kabi konna.” Nnagenda okulaba ng’engalo agiggya mpolampola ku mmanduso, era nange ssaalonzalonza ne nfuluma.

Nnagenda okusisinkana John nga naye alojja lulwe. Yali yaakava ku poliisi gye yali atwaliddwa ng’avunaanibwa ogw’okubba ssente ku mukazi gwe yali yayogeddeko naye. Ng’ali ku poliisi, John baamwambula yenna ne bamwaza. Kya lwatu nti ssente teyazirina, era n’oluvannyuma eyali azibbye yazuulibwa.

Ebintu bino byombi byaleetawo akasasamalo ka maanyi mu kabuga kano akaali akasirifu, ne kiviirako omulimu gwaffe okumanyika!

Tukolera mu Nkukutu

Olw’okuba omulimu gwaffe gwali gwawerebwa mu ggwanga lya Latvia eryali lituliraanye, okutwalayo ebitabo byaffe kyali kintu kya kabi nnyo. Naye twalinanga okubitwalayo omulundi gumu buli mwezi nga tukozesa eggaali y’omukka eyagendanga ekiro. Oluusi bwe twamalanga okubituusaayo, tweyongerengayo ne tutuuka mu Estonia, ne tuggyayo ebitabo ebirala ne tubireeta mu Latvia.

Lumu, omu ku basirikale abakuuma ku nsalo eyali akitegeddeko nti tukukusa ebitabo yatulagira okuva ku ggaali y’omukka tugende n’ebitabo byaffe byonna eri mukama we. Nze ne John ffembi twasaba Yakuwa atuyambe. Kyatwewuunyisa nti bwe twatuuka mu maaso ga mukama we, omusirikale oyo teyamubuulira bye yali atusanze nabyo, wabula yamugamba bugambi nti, “Abasajja bano balina ebintu eby’okukwanjulira.” Nange saali mubi ne ‘mbyanjula’ nga ŋŋamba nti tulina ebitabo ebiyamba abo abali mu masomero ne mu matendekero okutegeera obukulu bw’ebintu ebiriwo mu nsi eno ejjudde ebizibu. Mukama we olwawulira ekyo, yatulagira bulagizi tugende, era ebitabo ebyo twabituusa bulungi.

Embeera y’eby’obufuzi bwe yagenda eyonooneka, abantu beeyongera okukyawa Abajulirwa ba Yakuwa era omulimu gwaffe gwawerebwa mu Lithuania. Andrew ne John baagobwa mu Lithuania, era Ssematalo II bwe yali abindabinda, Bungereza yawa abatuuze baayo bonna amagezi okuva mu ggwanga eryo. Kya nnaku nti olwo nange nnasibako ebyange ne nvaayo.

Nfuna Enkizo n’Emikisa mu Northern Ireland

Mu kiseera kino, bazadde bange baali babeera mu Northern Ireland, era nnabeeyungako mu 1937. Mu Northern Ireland nayo ebitabo byaffe byali byawerebwa olw’olutalo olwali lubindabinda, naye twasobola okubuulira mu kiseera kya Ssematalo II kyonna. Olutalo olwo bwe lwaggwa, twaddamu ne tukola omulimu gwaffe mu bujjuvu awatali kuziyizibwa kwonna. Harold King, payoniya eyalina ennyo obumanyirivu era oluvannyuma eyaweereza ng’omuminsani mu China, yawoma omutwe mu kukubanga enkuŋŋaana okwogera eri abantu. Lumu yantunuulira n’agamba nti: “Ku Lwomukaaga luno nze ŋŋenda okwogera eri abantu, ate olunaddako lulwo.” Kino kyanzigya enviiri ku mutwe.

Nkyajjukira bulungi lwe nnasooka okwogera eri abantu era baali bangi ddala. Nnayimirira waggulu ku kibookisi era saalina wadde akazindaalo. Bwe nnamala okwogera, omusajja omu yantuukirira n’ankwata mu ngalo, n’aŋŋamba nti ye Bill Smith. Yagamba nti yali alabye abantu abakuŋŋaanye n’ayimirira alabe ekyali kigenda mu maaso. Nnakizuula nti Taata yali yawa Bill obujulirwa, naye ne baawukana Taata ne maama bwe baasenguka ne bagenda okuweereza nga bapayoniya e Dublin. Twatandika okuyiga Baibuli ne Bill, era oluvannyuma abantu mwenda mulamba ab’omu maka ge baafuuka abaweereza ba Yakuwa.

Nnateranga okugenda mu mayumba amanene agaali ku njegooyego z’ekibuga Belfast ne mbuulira, era lumu nnasanga omukazi enzaalwa y’omu Russia eyali yabeerako mu Lithuania. Bwe nnamulaga ebimu ku bitabo byaffe, yasonga ku kimu ku byo n’agamba nti: “Kino nkirina. Waliwo taata wange omuto profesa mu yunivasite y’e Kaunas eyakimpa.” Yandaga ekitabo Creation, nga kiri mu lulimi Olupoolisi. Yali yakiwandiikamu ebintu bingi ebiraga nti yali akisomye bulungi. Ng’omukyala ono yeewuunya nnyo okukimanya nti nze nnali nnawa taata we ekitabo ekyo nga ndi e Kaunas!​—Mub. 11:1.

Bwe yamanya nti ŋŋenda mu Northern Ireland, John Sempey yansaba nkyalire mwannyina omuto, Nellie, eyali alaze nti ayagala okuyiga Baibuli. Nze ne mwannyinaze Connie twatandika okuyiga naye. Nellie yakulaakulana mangu ne yeewaayo eri Yakuwa. Oluvannyuma nnamwogereza era ne tufumbiriganwa.

Nze ne Nellie twaweereza Yakuwa okumala emyaka 56, era twayamba abantu abasukka mu kikumi okuyiga amazima. Twali tusuubira nti tujja kuyita ffembi mu Kalumagedoni tuyingire mu nsi empya, naye yanfaako mu 1998. Kino kyankuba wala nnyo era kye kimu ku bigezo ebisinzeeyo okuba eby’amaanyi mu bulamu bwange.

Nzirayo mu Buvanjuba bwa Bulaaya

Nga waakayita omwaka gumu bukya Nellie afa, nnafuna enkizo ey’ekitalo. Nnayitibwa okukyalako ku ofiisi y’ettabi mu kibuga Tallinn eky’omu Estonia. Ebbaluwa ab’oluganda ab’omu Estonia gye bampandiikira yagamba nti: “Ku b’oluganda bonna ekkumi abaaweerezaako mu kitundu kino mu myaka gya 1920 ne 1930, ggwe wekka ggwe osigaddewo.” Bannyonnyola nti ofiisi y’ettabi yali eteekateeka okuwandiika ebyafaayo by’omulimu gwaffe mu Estonia, Latvia, ne Lithuania, era bambuuza nti: “Osobola okujja?”

Nga yali nkizo ya maanyi okuttottola ebintu byonna nze ne bannange bye twayitamu mu myaka egyo! Mu Latvia, ab’oluganda nnabatwala mu kizimbe ekimu ne mbalaga awaali ofiisi yaffe ey’ettabi eyasooka, awamu n’akasolya mwe twakwekanga ebitabo, poliisi n’eremwa okubiraba. Mu Lithuania, twagendako mu kabuga akayitibwa Šiauliai, gye nnali nnaweerezaako nga payoniya. Nga tuli eyo mu lukuŋŋaana, ow’oluganda omu yaŋŋamba nti: “Emyaka mingi emabega nze ne maama wange twagula ennyumba mu kabuga kano. Bwe twali tulongoosa mu kasolya, nnasangayo ekitabo The Divine Plan of the Ages ne The Harp of God. Nnabisoma ne nkiraba nti nnali nzudde amazima. Oteekwa okuba nga ggwe waleka ebitabo ebyo mu nnyumba eyo!”

Nnagendako ne mu lukuŋŋaana lw’ekitundu olwali mu kibuga ekirala gye nnaweerezaako nga payoniya. Olukuŋŋaana lwe nnali nsembyeyo okubeeramu mu kibuga ekyo lwaliwo emyaka 65 emabega, era lwalimu abantu 35 bokka. Nga kyali kya ssanyu nnyo okulaba nga kati waaliwo abantu abasukka mu 1,500! Mazima ddala Yakuwa awadde omulimu gwaffe omukisa!

‘Yakuwa Teyandekerera’

Emabegako awo nnafuna omukisa gwe nnali sisuubira, mwannyinaffe omu ayitibwa Bee bwe yakkiriza okufuuka mukyala wange. Twafumbiriganwa mu Noovemba 2006.

Nkakasa omuvubuka yenna eyeebuuza ky’asaanidde okukola mu bulamu bwe nti, kya magezi nnyo okukolera ku bigambo bino: ‘Jjukira omutonzi wo mu nnaku ez’obuvubuka bwo.’ Essanyu lye nnina lifaananako ery’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Ai Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange; era okutuusa leero n[n]aabuuliranga ebikolwa byo eby’ekitalo. Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga; okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, n’obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.”​—Zab. 71:17, 18.

[Mmaapu eri ku lupapula 25]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)

Omulimu ogw’okutwala ebitabo mu Latvia gwali gwa kabi

ESTONIA

TALLINN

Ekyondo ky’e Riga

LATVIA

RIGA

LITHUANIA

VILNIUS

Kaunas

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Nnatandika okuweereza nga payoniya mu Scotland nga nnina emyaka 15

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Nga ndi ne Nellie ku mbaga yaffe mu 1942

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza