Okukolera Awamu Kiyamba mu Kukulaakulana mu by’Omwoyo
OKUKOLERA awamu kintu kikulu nnyo eri abo bonna abaagala okuyamba ab’omu maka gaabwe okukulaakulana mu by’omwoyo. Yakuwa bwe yatonda abantu ababiri abaasooka, yalaga nti kikulu okukolera awamu. Kaawa yali wa kukolera wamu ne Adamu ‘ng’omuyambi.’ (Lub. 2:18, NW) Obufumbo bwetaagisa okukolera awamu, ng’omwami n’omukyala bayambagana. (Mub. 4:9-12) Abazadde n’abaana nabo balina okukolera awamu okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa Yakuwa bwe yabawa.
Okusinza Yakuwa ng’Amaka
Barry ne Heidi abalina abaana abataano bakisanze nti okukolera awamu nga bateekateeka okusoma Baibuli ng’amaka kibayambye okukulaakulana mu by’omwoyo. Barry agamba nti: “Ebintu ebimu bye tuba tugenda okusoma oluusi mbiwa abaana baffe ne babiteekateeka. Olumu mbagamba ne bateekateeka eby’okwogera nga babiggya mu Awake! Tufuna ebiseera ne twegezaamu ku ngeri gye tuyinza okutandika okwogera n’abantu mu nnimiro, buli mwana n’asobola okuba n’ennyanjula ey’okukozesa.” Heidi agattako nti: “Buli omu ku ffe alina olukalala okuli ebiruubirirwa bye eby’omwoyo, era tubyekenneenya mu kuyiga kw’amaka buli luvannyuma lwa kiseera, tusobole okulaba we tutuuse.” Omwami ono ne mukyala we era bakizudde nti okusalawo obutalaba ttivi ku nnaku ezimu kiyamba buli omu mu maka okufuna ebiseera okusoma ku lulwe.
Enkuŋŋaana z’Ekibiina
Mike ne Denise abaakuza abaana abana baaganyulwa batya mu kukolera awamu ng’amaka? Mike agamba nti: “Oluusi enteekateeka ze twakolanga tusobole okutuuka mu nkuŋŋaana nga bukyali zaagwanga butaka, naye okukolera awamu kyatuyambanga okuzituukiriza.” Denise agamba nti: “Abaana baffe bwe baakulamu, buli omu twamuwa emirimu gy’alina okukola. Muwala waffe Kim yayambanga mu kufumba n’okuteekateeka emmeeza.” Mutabani waabwe Michael ajjukira nti: “Buli Lwakubiri akawungeezi twabanga n’olukuŋŋaana lw’ekibiina awaka. N’olwekyo, ekisenge mwe twatuulanga twakirongoosanga bulungi ne tutegeka n’entebe.” Mutabani waabwe omulala Matthew agattako nti: “Taata yakomangawo mangu okuva ku mulimu alabe nti ffenna twetegekera bulungi olukuŋŋaana.” Birungi ki ebyavaamu?
Kivaamu Ebirungi Bingi
Mike agamba nti: “Mu 1987, nze ne mukyala wange Denise twatandika okuweereza nga bapayoniya. Mu kiseera ekyo, awaka twali tukyalinawo abaana basatu. Ababiri ku bo nabo baafuuka bapayoniya, ate bali abalala beenyigiranga mu mulimu gw’okuzimba amaka ga Beseri agatali gamu. Ekirala ekituleetedde ennyo essanyu kwe kuba nti ffenna wamu tuyambye abantu abasukka mu 40 okufuuka abaweereza ba Yakuwa. Twafuna n’enkizo ffenna awamu okwenyigirako mu mirimu gy’okuzimba egitali gimu, ng’egimu ku gyo gyali mu mawanga amalala.”
Mazima ddala okukolera awamu ng’amaka kivaamu ebirungi bingi. Waliwo engeri yonna gye muyinza okweyongera okukolera awamu ng’amaka? Ba mukakafu nti okukikola kijja kubayamba mwenna okukulaakulana mu by’omwoyo.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Okwegezaamu kiyamba nnyo mu buweereza bw’ennimiro