LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w09 7/15 lup. 19-23
  • Koppa Yesu ng’Obuulira n’Obuvumu

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Koppa Yesu ng’Obuulira n’Obuvumu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Kyetaagisa Obuvumu Okwaŋŋanga Abalabe
  • Okwagala Kwakubiriza Yesu Okubuulira n’Obuvumu
  • Omwoyo Omutukuvu Gutuyamba Okubuulira n’Obuvumu
  • Abakristaayo Leero Babuulira n’Obuvumu
  • Obuulira n’Obuvumu?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • ‘Yogera Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Weeyongere Okubuulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Totya Kubuulira
    Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 7/15 lup. 19-23

Koppa Yesu ng’Obuulira n’Obuvumu

‘Twafuna obuvumu ne tubabuulira amawulire amalungi.’​—1 BAS. 2:2.

1. Lwaki amawulire amalungi ag’Obwakabaka gasikiriza?

NGA kiba kintu kya ssanyu nnyo okuwulira amawulire amalungi! Amawulire agasingayo okuba amalungi geego agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Amawulire ago gatukakasa nti okubonaabona, obulwadde, obulumi, ennaku, n’okufa byonna bijja kuggwawo. Gatuyamba okufuna essuubi ery’obulamu obutaggwawo, okumanya ekigendererwa kya Katonda, n’engeri gye tuyinza okufunamu enkolagana ennungi naye. Wandisuubidde nti buli omu yandibadde musanyufu okuwulira amawulire ago Yesu ge yaleetera abantu. Naye kya nnaku nti si bwe kiri.

2. Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti: ‘Nnajja kwawukanya’?

2 Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Temulowooza nti nnajja kuleeta mirembe ku nsi; sajja kuleeta mirembe wabula ekitala. Nnajja okwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, muka mwana ne nnyazaala we. Mu butuufu, abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.” (Mat. 10:34-36) Mu kifo ky’okukkiriza amawulire amalungi, abantu abasinga bagagaana. Abamu batuuka n’okuyigganya abo abagalangirira, ka babe nga ba mu maka gamu.

3. Twetaaga ki okusobola okutuukiriza omulimu gwaffe ogw’okubuulira?

3 Amazima ge tubuulira ge gamu ne Yesu ge yabuulira, era abantu bangi bwe bagawulira beeyisa mu ngeri y’emu nga bwe baakola mu kiseera kye. Kino tulina okukisuubira kubanga Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Omuddu tasinga mukama we. Oba nga nze banjigganyizza, nammwe bajja kubayigganya.” (Yok. 15:20) Wadde nga mu nsi nnyingi tetuyigganyizibwa, tusanga abantu bangi abatuyisaamu amaaso n’abateefiirayo. N’olwekyo, tulina okuba n’okukkiriza okw’amaanyi okusobola okweyongera okubuulira amawulire amalungi n’obuvumu.​—Soma 2 Peetero 1:5-8.

4. Lwaki Pawulo yalina ‘okufuna obuvumu’ okusobola okubuulira?

4 Oyinza okuba ng’ozibuwalirwa okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro, oba okwenyigira mu ngeri ezimu ez’okubuulira. Bwe kiba kityo, toli wekka. Omutume Pawulo yali mubuulizi omuvumu era amanyi obulungi amazima, kyokka oluusi naye yazibuwalirwanga okubuulira. Yagamba Abakristaayo b’omu Ssesaloniika nti: “Oluvannyuma lw’okubonaabona n’okuyisibwa obubi ennyo (nga bwe mumanyi bwe kyali) mu Firipi, twafuna obuvumu okuva eri Katonda waffe ne tubabuulira amawulire ga Katonda amalungi mu kufuba okw’amaanyi ennyo.” (1 Bas. 2:2) Ab’obuyinza mu Firipi baali bakubye Pawulo ne Siira kibooko era ne babateeka mu kkomera ng’ebigere byabwe bisibiddwa mu masamba. (Bik. 16:16-24) Wadde kyali kityo, Pawulo ne Siira ‘baafuna obuvumu’ ne beeyongera okubuulira. Naffe tuyinza tutya okukola kye kimu? Okuddamu ekibuuzo ekyo, ka tulabe ekyayamba abaweereza ba Katonda ab’edda okwogera n’obuvumu amazima agakwata ku Yakuwa, era tulabe n’engeri gye tuyinza okukoppa ekyokulabirako kyabwe.

Kyetaagisa Obuvumu Okwaŋŋanga Abalabe

5. Lwaki abaweereza ba Yakuwa bonna kibaddenga kibeetaagisa okuba abavumu?

5 Yesu Kristo ye yateekawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kulaga obuvumu. Okuva abantu lwe baatandika okubeera ku nsi, abo bonna abazze baweereza Yakuwa kibadde kibeetaagisa okuba abavumu. Lwaki? Obujeemu bwe bwabalukawo mu Adeni, Yakuwa yalagula nti wandibaddewo obulabe wakati w’abantu abamuweereza n’abo abaweereza Sitaani. (Lub. 3:15) Obulabe obwo bwayanguwa okweyoleka, Abbeeri omusajja eyali omutuukirivu bwe yattibwa muganda we. Nga wayise ekiseera, obulabe era bwayolekezebwa Enoka, omusajja omulala omwesigwa eyaliwo ng’Amataba tegannabaawo. Enoka yalagula nti Katonda yandizze ne bamalayika be abatukuvu mitwalo na mitwalo okusalira omusango abo abatatya Katonda. (Yuda 14, 15) Obubaka buno tebwasanyusa bantu. Baakyawa Enoka era kirabika baali ba kumutta singa Yakuwa teyakomya bulamu bwe. Nga Enoka yalaga obuvumu bwa maanyi!​—Lub. 5:21-24.

6. Lwaki Musa yalina okuba omuvumu okusobola okwogera ne Falaawo?

6 Lowooza ne ku buvumu Musa bwe yalaga ng’ayogera ne Falaawo, omufuzi eyali atwalibwa okuba mutabani wa Ra, katonda w’enjuba, era nga naye kennyini atwalibwa nga katonda. Okufaananako Bafalaawo abalala, naye yandiba nga yasinzanga ekifaananyi kye. Falaawo kye yayogeranga lyabanga tteeka. Olw’okuba yali wa maanyi, wa malala, era nga wa mutwe munene, tekyabanga kyangu muntu yenna kumwetantala n’amugamba ky’alina kukola. Ono nno ye musajja Musa, eyali omusumba obusumba, gwe yatuukirira enfunda n’enfunda, nga tayitiddwa. Biki Musa bye yamugamba nti bigenda kubaawo? Bibonyoobonyo eby’amaanyi. Kiki kye yali ayagala Falaawo akole? Yali ayagala akkirize obukadde bw’Abaisiraeri abaali abaddu bave mu ggwanga lye! Awatali kubuusabuusa, Musa kyali kimwetaagisa okuba omuvumu.​—Kubal. 12:3; Beb. 11:27.

7, 8. (a) Abaweereza ba Katonda ab’edda baafuna bizibu ki? (b) Kiki ekyayamba abaweereza ba Katonda ab’omu biseera eby’edda okulaga obuvumu ne banywerera ku kusinza okw’amazima?

7 Mu byasa ebyaddirira, bannabbi n’abaweereza ba Katonda abalala abeesigwa baalina okuba abavumu okusobola okunywerera ku kusinza okw’amazima. Ensi ya Sitaani yababonyaabonya nnyo, era Pawulo agamba nti: “Baakubibwa amayinja, baagezesebwa, baasalibwamu n’emisumeeno, battibwa n’ekitala, batambulanga nga bambadde amaliba g’endiga, ag’embuzi, nga bali mu bwetaavu, nga babonaabona, era nga bayisibwa bubi.” (Beb. 11:37) Kiki ekyayamba abaweereza ba Katonda abo abeesigwa okusigala nga banywevu? Mu nnyiriri ezisooka waggulu omutume ayogera ekyayamba Abbeeri, Ibulayimu, Saala n’abalala okugumira ebigezo ebyo byonna. Yagamba nti: “Ebisuubizo tebyatuukirizibwa mu kiseera kyabwe, naye [mu kukkiriza] baabirengerera wala ne babisanyukira.” (Beb. 11:13) Tewali kubuusabuusa nti bannabbi nga Eriya, Yeremiya, n’abaweereza abalala abeesigwa abaawagira okusinza okw’amazima ng’Obukristaayo tebunnatandika baakuumira ebirowoozo byabwe ku bisuubizo bya Yakuwa, ekyo ne kibayamba okugumira ebigezo.​—Tito 1:2.

8 Abantu abo bonna abeesigwa baalina essuubi ery’okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Bwe banaazuukizibwa, bajja kufuna omukisa okufuuka abatuukiridde era ‘bajja kusumululwa okuva mu buddu bw’okuvunda’ okuyitira mu Kristo Yesu ng’aweereza nga kabona awamu ne banne 144,000. (Bar. 8:21) Ate era, Yeremiya n’abaweereza ba Katonda abalala ab’edda baalaga obuvumu olw’ekisuubizo Yakuwa kye yawa Yeremiya ekigamba nti: “Balirwana naawe; naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe, bw’ayogera Mukama, okukuwonya.” (Yer. 1:19) Leero, naffe tuddamu amaanyi bwe tufumiitiriza ku biseera by’omu maaso ebirungi Katonda bye yatusuubiza ne ku bukuumi mu by’omwoyo by’atuwa.​—Nge. 2:7; soma 2 Abakkolinso 4:17, 18.

Okwagala Kwakubiriza Yesu Okubuulira n’Obuvumu

9, 10. Yesu yalaga atya obuvumu mu maaso (a) g’abakulembeze b’eddiini, (b) g’ekibinja ky’abasirikale, (c) ga kabona asinga obukulu, (d) ga Piraato?

9 Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi bwe yalaga obuvumu mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, wadde ng’ab’obuyinza baali tebamwagala, ekyo tekyamulobera kutuusa bubaka bwa Katonda ku bantu. Nga taliimu kutya kwonna, yayanika obunnanfuusi bw’abakulembeze b’eddiini n’enjigiriza zaabwe ez’obulimba. Abasajja abo baalina omusango gwa maanyi era ekyo Yesu yakibagamba nga talumye mu bigambo. Lumu yabagamba nti: “Zibasanze mmwe abawandiisi n’Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga mulinga amalaalo agasiigiddwa langi enjeru era agalabika obulungi kungulu, naye nga munda gajjudde amagumba g’abafu n’obutali bulongoofu obwa buli ngeri. Nammwe kungulu mulabika nga muli batuukirivu mu maaso g’abantu, naye munda mujjudde obunnanfuusi n’obujeemu.”​—Mat. 23:27, 28.

10 Bwe yali mu nnimiro y’e Gesusemane, Yesu teyatya kweyanjula eri ekibinja kya basirikale abaali bazze okumukwata. (Yok. 18:3-8) Oluvannyuma yasimbibwa mu maaso g’Olukiiko Olukulu era kabona asinga obukulu aliko bye yamubuuza. Wadde nga yali amanyi nti kabona oyo yali anoonya w’anaasinziira okumutta, Yesu yayogera kaati nti ye yali Kristo era Omwana wa Katonda. Era yabagamba nti bandimulabye “ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogw’Oyo ow’Amaanyi era ng’ajjira ku bire eby’eggulu.” (Mak. 14:53, 57-65) Nga wayise akaseera, Yesu eyali asibiddwa emikono yatwalibwa mu maaso ga Piraato, ng’ono yalina obuyinza okumuta. Naye Yesu teyanyega kintu kyonna nga bamusibako emisango. (Mak. 15:1-5) Bino byonna byali bimwetaagisa okulaga obuvumu obw’amaanyi.

11. Obuvumu bukwatagana butya n’okwagala?

11 Yesu yagamba Piraato nti: “Nze nnazaalirwa ekyo era nnajja ku nsi okutegeeza amazima.” (Yok. 18:37) Yakuwa yali yalagira Yesu okubuulira amawulire amalungi, era Yesu yali musanyufu okukola omulimu ogwo olw’okuba yali ayagala nnyo Kitaawe ow’omu ggulu. (Luk. 4:18, 19) Yesu yali ayagala nnyo n’abantu. Yali akimanyi nti baali mu bulamu buzibu nnyo. Naffe bwe tutyo tubuulira n’obuvumu awatali kutya, olw’okuba twagala nnyo Katonda ne bantu bannaffe.​—Mat. 22:36-40.

Omwoyo Omutukuvu Gutuyamba Okubuulira n’Obuvumu

12. Kiki ekyaleetera abayigirizwa abaasooka essanyu ery’amaanyi?

12 Mu wiiki ezaddirira nga Yesu amaze okufa, abayigirizwa be baafuna essanyu lya maanyi Yakuwa bwe yaleeta abantu abalala ne babeegattako. Era mu lunaku lumu lwokka, Abayudaaya n’abakyufu 3,000 okuva mu bitundu by’ensi ebitali bimu abaali bazze e Yerusaalemi ku mukolo gwa Pentekoote baabatizibwa! Nga kino kiteekwa okuba nga kyayogeza abantu b’omu Yerusaalemi bonna obwama! Baibuli egamba nti: “Abantu bonna ne batandika okutya, era abatume ne bakola ebyamagero bingi n’obubonero bungi.”​—Bik. 2:41, 43.

13. Lwaki ab’oluganda baasaba okufuna obuvumu, era kiki ekyavaamu?

13 Nga bonna baswakiivu, abakulembeze b’eddiini baakwata Peetero ne Yokaana ne babasiba ekiro kiramba, era baabalagira obutaddayo kwogera ku Yesu. Olwabasumulula ne bagenda eri ab’oluganda ne babategeeza ebyali bibaddewo, era olw’okuziyizibwa okwo, bonna wamu baasaba nti: ‘Yakuwa, yamba abaddu bo okwogera ekigambo kyo n’obuvumu.’ Kiki ekyavaamu? ‘Bonna bajjula omwoyo omutukuvu ne boogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu.’​—Bik. 4:24-31.

14. Omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya mu kubuulira?

14 Weetegereze nti omwoyo gwa Yakuwa gwe gwayamba abayigirizwa okwogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu. Obuvumu bwe twetaaga okubuulira abalala amazima, nga mw’otwalidde n’abo abaziyiza omulimu gwaffe, tetusobola kubufuna ku lwaffe. Tubufuna kuva eri Yakuwa nga tumusaba okutuwa omwoyo gwe omutukuvu. Naffe Yakuwa asobola okutuyamba okulaga obuvumu ne tubuulira abalala nga twolekaganye n’okuziyizibwa.​—Soma Zabbuli 138:3.

Abakristaayo Leero Babuulira n’Obuvumu

15. Amazima gaawulamu gatya abantu leero?

15 Nga bwe kyali mu biseera by’edda, ne leero amazima gaawulamu abantu. Abamu bagakkiriza, ate abalala okusinza kwaffe tebakutegeera oba tebakwagala. Nga Yesu bwe yalagula, abantu batuvumirira, batusekerera, oba batuwalana. (Mat. 10:22) Oluusi batwogerako eby’obulimba ku mikutu gy’eby’empuliziganya. (Zab. 109:1-3) Naye Abajulirwa ba Yakuwa beeyongera mu maaso okubuulira n’obuvumu amawulire amalungi mu nsi yonna.

16. Kyakulabirako ki ekiraga nti bwe tulaga obuvumu kiyinza okuleetera be tubuulira okukyusa endowooza yaabwe?

16 Okwoleka obuvumu kiyinza okuyamba abamu okukyusa endowooza gye balina ku mawulire g’Obwakabaka. Mwannyinaffe omu ow’omu Kyrgyzstan agamba nti: “Lumu nnali mbuulira ne nsanga omusajja n’aŋŋamba nti: ‘Nzikiririza mu Katonda, naye sikkiririza mu Katonda w’Abakristaayo. K’oliddayo okujja ku geeti yange, ŋŋenda kukuteera embwa yange ekulume!’ Omusajja oyo yalina embwa ennene emabega we nga nsibe ku lujegere. Naye mu kaweefube w’okugaba tulakiti Kingdom News Na. 37, ‘Enkomerero y’Eddiini ez’Obulimba Eri Kumpi!,’ nnasalawo okuddayo mu maka ago ng’asuubira nti oboolyawo nnasangayo omuntu omulala. Kyokka era omusajja oyo yennyini ye yaggulawo oluggi. Amangu ago nnasaba Yakuwa era ne mmugamba nti: ‘Ssebo nkulamusizza nnyo. Nkyajjukira bulungi bye twayogera ennaku ssatu eziyise, era n’embwa yo nkyagijjukira. Naye nneesanze nga siyinza kukuyitako kubanga nange nzikiririza mu Katonda omu ow’amazima. Katonda anaatera okuzikiriza amadiini gonna agatamuweesa kitiibwa. Tulakiti eno ejja kukuyamba okumanya ebisingawo ku nsonga eno.’ Kyanneewuunyisa okulaba ng’omusajja akkiriza okutwala tulakiti eyo. Nange saalwa ne ŋŋenda ku nnyumba endala. Nga wayise eddakiika ntono, omusajja oyo yajja gye ndi ng’adduka ng’akutte tulakiti eyo mu ngalo. Yagamba nti, ‘Mmaze okugisoma. Kati nnina kukola ki okusobola okuwona obusungu bwa Katonda?’” Omusajja oyo yatandika okuyiga Baibuli n’okujja mu nkuŋŋaana.

17. Obuvumu mwannyinaffe bwe yalaga bwayamba butya omuyizi we?

17 Bwe tulaga obuvumu kiyinza okuyamba n’abalala okubulaga. Mwannyinaffe omu ow’omu Russia yali mu bbaasi n’abaako musaabaze munne gwe yawa magazini. Kino olwakiraba, omusajja omu yasituka we yali atudde n’asika magazini ku mwannyinaffe, n’agivungavunga era n’agisuula wansi. Yamwogerera ebigambo ebibi, yamulagira amuwe endagiriro ye, era yamulabula obutaddayo kubuulira mu kitundu ekyo. Mwannyinaffe yasaba Yakuwa amuyambe era mu kaseera ako yajjukira Yesu kye yayogera nti: “Temutyanga abo abatta omubiri.” (Mat. 10:28) Yayimirira n’agamba omusajja oyo n’obukkakkamu nti, “Sijja kukuwa ndagiriro yange, era sijja kulekera awo kubuulira mu kitundu kino.” Oluvannyuma yava mu bbaasi n’agenda. Kyokka teyamanya nti mu bbaasi eyo mwalimu omukyala gwe yali asomesa Baibuli. Omukyala oyo yali tagenda mu nkuŋŋaana olw’okutya abantu. Oluvannyuma lw’okulaba obuvumu mwannyinaffe bwe yayoleka, omuyizi wa Baibuli oyo yasalawo okutandika okugenda mu nkuŋŋaana.

18. Kiki ekinaakuyamba okubuulira n’obuvumu nga Yesu bwe yakola?

18 Mu nsi eno etetya Katonda, kyetaagisa obuvumu okusobola okubuulira nga Yesu bwe yakola. Kiki ekinaakuyamba okukikola? Lowooza ku mikisa egy’omu biseera eby’omu maaso. Fuba okweyongera okwagala Katonda ne bantu banno. Saba Yakuwa akuyambe okuba omuvumu, era bulijjo jjukira nti toli wekka, Yesu ali wamu naawe. (Mat. 28:20) Yakuwa ajja kukuwa emikisa era omwoyo gwe omutukuvu gujja kukuwa amaanyi. N’olwekyo, ka tube bavumu era tugambe nti: “Yakuwa ye muyambi wange; Siritya. Omuntu ayinza kunkola ki?”​—Beb. 13:6.

Wandizzeemu Otya?

• Lwaki abaweereza ba Katonda kibeetaagisa okuba abavumu?

• Ku bikwata ku kuba abavumu, tuyigira ki ku . . .

baaweereza ba Katonda abaaliwo nga Kristo tannajja?

Yesu Kristo?

Bakristaayo abaasooka?

Bakristaayo bannaffe leero?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Yesu yayanika abakulembeze b’eddiini awatali kutya

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Yakuwa atuyamba okubuulira n’obuvumu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza