Babuulira Bakiggala Amawulire Amalungi
“BABAYIGIRIZA eby’omwoyo!” Bw’atyo omwami akulira ekifo awakuumirwa bannamukadde mu Navalcarnero, Madrid, eky’omu Spain bwe yayogera ku Bajulirwa ba Yakuwa abaakyaliranga bannamukadde abali mu kifo ekyo. Kiki ekyamuleetera okwogera bw’atyo?
Bangi ku bannamukadde abakuumirwa mu kifo kino ekiyitibwa Rosas del Camino, bakiggala. Kyokka olw’okuba Abajulirwa bafubye okuyiga Olulimi lwa Bakiggala olw’omu Spain, basobola okubuulira bakiggala abo. Omwami akulira ekifo ekyo yeebaza Abajulirwa olw’okuwaayo ebiseera byabwe okuyamba abo abaagala okuyiga Baibuli. Yalaba ebirungi ebivudde mu kuyigiriza bannamukadde abo amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Bannamukadde ababeera mu kifo ekyo n’okusingira ddala bakiggala ne bamuzibe, basiima nnyo Abajulirwa kye babakolera.
Eulogio, muzibe ate nga kiggala, kati ayiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Lumu, bwe baali bayiga Baibuli, nnamukadde omu yabatuukirira era n’abuulira Omujulirwa nti baali babayiiyirizza ekitontome okyoleka okusiima kwabwe eri Abajulirwa. Kyalina omutwe ogugamba nti, “Okuba Omujulirwa.” Kyalimu ebigambo ebigamba nti: “Abajulirwa ba mpisa era Yakuwa abawa amagezi. Bakyalira abantu enfunda n’enfunda olw’okuba beesiga Yakuwa.”
Okwesiga Yakuwa kye kisinze okuyamba Abajulirwa okuyiga ennimi za bakiggala ez’omu mu nsi zaabwe. Mu ngeri eno basobodde okubuulira bakiggala obubaka obuwa essuubi obusangibwa mu Baibuli.