LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • ijwbq ekitundu 28
  • Lwaki Tusaanidde Okusaba mu Linnya lya Yesu?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Lwaki Tusaanidde Okusaba mu Linnya lya Yesu?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Bayibuli ky’egamba
  • Tusaanidde Okusaba Yesu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Lwaki Tusaba mu Linnya lya Yesu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Ngeri Ki Ennungi Yesu z’Alina?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Ddala Erinnya lya Katonda ye Yesu?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
Laba Ebirara
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 28

Lwaki Tusaanidde Okusaba mu Linnya lya Yesu?

Bayibuli ky’egamba

Tulina okusaba Katonda mu linnya lya Yesu kubanga Yesu lye kkubo lyokka Katonda lye yateekawo mwe tusobola okuyita okumutuukirira. Yesu yagamba nti: “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu. Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.” (Yokaana 14:6) Yesu era yagamba abatume be abeesigwa nti: “Mazima ddala mbagamba nti bwe musaba Kitange ekintu kyonna, ajja kukibawa mu linnya lyange.”—Yokaana 16:23.

Ensonga endala lwaki tusaanidde okusaba mu linnya lya Yesu

  • Kiraga nti tussa ekitiibwa mu Yesu ne Kitaawe, Yakuwa Katonda.—Abafiripi 2:9-11.

  • Kiraga nti tusiima ekyo Katonda kye yakola bwe yawaayo Omwana we okutufiirira tusobole okulokolebwa.—Matayo 20:28; Ebikolwa 4:12.

  • Kiraga nti tussa ekitiibwa mu kifo Yesu ky’alina ng’Omutabaganya w’abantu ne Katonda.—Abebbulaniya 7:25.

  • Kiraga nti tussa ekitiibwa mu kifo Yesu ky’alina nga Kabona Asinga Obukulu atusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.—Abebbulaniya 4:14-16.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza