AGUSITO 17-23, 2026
OLUYIMBA 90 Tuzziŋŋanemu Amaanyi
Ebisobola Okutuyamba Okunywerera ku Mikwano Gyaffe mu Kibiina
“Mwambale obusaasizi, ekisa, obwetoowaze, obukkakkamu n’obugumiikiriza.”—BAK. 3:12.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba bye tusobola okukola bwe wabaawo ebintu ebikifuula ekizibu okunywerera ku mikwano gyaffe mu kibiina.
1. Emikwano egya nnamaddala tuyinza kugisanga wa?
‘OBULAMU nga bukaluba nnyo; bujjudde ebizibu. Yakuwa akimanyi bulungi nti twetaaga emikwano.’ Ojjukira ebigambo ebyo ebiri ku ntandikwa y’oluyimba “Emikwano Egya Nnamaddala”? Nkizo ya maanyi okufuna emikwano egya nnamaddala mu bantu ba Yakuwa! (Zab. 119:63) Tuli mu maka agalimu abantu abasinza Yakuwa era abaagalana.
2. Mukwano gwa ngeri ki gwe twagala okuba nagwo ne bakkiriza bannaffe?
2 Bwe tukola emikwano mu kibiina, omukwano gwaffe tegusaanidde kuba gwa kungulu, wabula gusaanidde okuba ogwa nnamaddala. Tuli mu maka agalimu abantu abaagala Yakuwa ne Yesu, era okwagala okwo kwe kutugatta. (Yok. 13:35) Naye omukwano gwe tukola ne bakkiriza bannaffe tegujjawo gwokka. Kyetaagisa okufuba okusobola okuba ab’emikwano aba nnamaddala. Olw’okuba tetutuukiridde, ebiseera ebimu tuyinza okufuna ebintu ebiyinza okutulemesa okunywerera ku mikwano gyaffe.
3. Lwaki oluusi tekiba kyangu okunywerera ku mikwano gyaffe?
3 Kyo kituufu nti kiyinza okutwanguyira okukolagana ne bakkiriza bannaffe abamu okusinga abalala. Lwaki? Kubanga tuyinza okuba ng’ebintu bye twagala bye bimu oba nga tulina engeri ze zimu. Naye tuyinza okukisanga nga si kyangu okunyweza enkolagana gye tulina bakkiriza bannaffe abalala mu kibiina. Ebiseera ebimu tuyinza okufuna obutakkaanya, ne twonoona enkolagana yaffe. Oboolyawo olw’okuba tulina engeri za njawulo, tuyinza okuwulira nti kitukaluubirira okubeera awamu ne bakkiriza bannaffe, olw’okuba tuwulira nti tewali kitugatta. Ate era mukkiriza munnaffe bw’abeera omulwadde mu mubiri oba mu birowoozo, kiyinza okutubeerera ekizibu okubeera n’omukwano ogw’oku lusegere naye. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri ekyokulabirako kya Yesu gye kisobola okutuyamba okunywerera ku mikwano gyaffe bwe wabaawo ebitusoomooza. Naye ka tusooke tulabe engeri ennungi ezisobola okutuyamba okunywerera ku mikwano gyaffe.
ENGERI EZISOBOLA OKUTUYAMBA OKUNYWERERA KU MIKWANO GYAFFE
4. Tuyinza tutya okunyweza enkolagana gye tulina ne mikwano gyaffe?
4 Okusobola okunywerera ku mikwano gyaffe, tusaanidde okubanoonyaamu ebirungi. Bwe tufunayo obudde ne tubeerako wamu ne bakkiriza bannaffe kituyamba okukiraba nti balina engeri ennungi. Omutume Pawulo yali ayagala nnyo okubeera ne bakkiriza banne. Yawandiikira Abassessalonika nti: “Twafuba nnyo okulaba [mu buntu].” (1 Bas. 2:17) Ne leero, bangi bakizudde nti ekisobola okubayamba okweyongera okunywerera ku mikwano gyabwe kwe kufunayo obudde ne banyumyako nabo maaso ku maaso. Ekyo tusobola okukikola bwe tubuulirako nabo, oba ne tubeerawo mu nkuŋŋaana ennene n’entono. Naye okubeerako awamu ne bakkiriza bannaffe kiyinza obutaggyaawo bintu ebiyinza okwonoona enkolagana gye tulina nabo.
5. Kiki ekisobola okutuyamba okukuuma omukwano gwe tulina ne bakkiriza bannaffe, wadde ng’oluusi kiyinza obutaba kyangu? Waayo ekyokulabirako. (Abakkolosaayi 3:12)
5 Bwe tukoppa engeri za Yakuwa, tusobola okukuuma enkolagana gye tulina ne mikwano gyaffe ne bwe wabaawo ebitusoomooza. (Soma Abakkolosaayi 3:12.) Bwe tufuba okuba n’ekisa, obusaasizi, obwetoowaze, n’obugumiikiriza, kijja kutuyamba okweyongera okukolagana ne mikwano gyaffe mu kibiina ne bwe tuba nga tulina ebitusoomooza. Nga oyiro bw’ayamba yingini y’emmotoka okukola obulungi, naffe twetaaga okuba n’engeri z’Ekikristaayo okusobola okukolagana obulungi n’abalala. Kati ka tulabeyo ebintu bisatu ebiyinza okukifuula ekizibu okunywerera ku bakkiriza bannaffe. Nga twekenneenya buli kimu ku bintu ebyo, tugenda kulaba engeri okukoppa ekyokulabirako kya Yesu mu kwoleka obwetoowaze, obugumiikiriza, ekisa, n’obusaasizi gye kijja okutuyamba okweyongera okubeera ab’emikwano aba nnamaddala eri bakkiriza bannaffe.
BWE MUFUNA OBUTAKKAANYA
6. Obutakkaanya buyinza butya okumalawo enkolagana ebaawo wakati w’ab’emikwano?
6 Ensonga lwaki ekyo kisoomooza. Bwe wabaawo obutakkaanya, buli muntu ayinza okuwulira nti endowooza ye y’entuufu. Kuba akafaananyi nga waliwo ab’oluganda babiri abatakkiriziganyizza ku ngeri ya kuteekateekamu mulimu gw’okubuulira mu kibinja kyabwe eky’obuweereza. Buli omu ku bo akitwala nti ekiteeso kye kye kisinga obulungi. Okiraba nti endowooza zaabwe ezaawukana zisobola okusajjula embeera ne kyonoona enkolagana yaabwe? Bayinza okufuna amalala nga buli omu ayagala okulaga nti ye mutuufu. Singa ensonga eyo tebagigonjoola, kisobola okuviirako buli omu okusibira munne ekiruyi. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, akasonga ako akalabika ng’akatono, kayinza okubaviirako buli omu okwewala munne, n’ekivaamu ne balekera awo okubeera ab’omukwano.
7. Yesu yayamba atya abayigirizwa be okukitegeera nti kikulu okuba abeetoowaze bwe baba baagala okugonjoola obutakkaanya?
7 Koppa obwetoowaze bwa Yesu. Yesu yayigiriza abayigirizwa be ekintu ekyandibayambye okugonjoola obutakkaanya, nga kwe kuba abeetoowaze. Abayigirizwa baali bamaze ekiseera kiwanvu nga bakaayana ku ani ku bo eyali asinga obukulu. Okusobola okubayamba okukyusa endowooza yaabwe etaali nnungi, Yesu yabannyonnyola nti beetaaga okukitwala nti abalala babasinga. (Mat. 20:25-28) Awatali kubuusabuusa Yesu yali abayigiriza okuba abeetoowaze. Ne mu kiro ekyasembayo ng’anaatera okufa, Yesu ‘yabateerawo ekyokulabirako’ eky’obwetoowaze ng’abanaaza ebigere, omulimu ogwakolebwanga omuweereza. (Yok. 13:3-5, 12-16) Bwe yakola bw’atyo, yabalaga engeri gye baali basobola okunyweza enkolagana gye baalina ng’ab’emikwano. Bwe baandikitutte nti abalala babasinga, kyandibayambye obutakalambira ku ndowooza zaabwe, n’okugonjoola obutakkaanya bwe bandifunye. Ekyo kyandibayambye okusigala nga ba mukwano, wadde ng’oluusi bandibadde n’endowooza ezaawukana.
8. Obwetoowaze buyinza butya okukuyamba okukuuma omukwano gw’olina ne bakkiriza banno bwe wabaawo obutakkaanya? (Abakkolosaayi 3:13) (Laba n’ebifaananyi.)
8 Ebinaabayamba okusigala nga muli ba mukwano. Obwetoowaze busobola okukuyamba okubuusa amaaso obutakkaanya obutonotono n’okusonyiwa abalala. (Soma Abakkolosaayi 3:13.) Ate era, bujja kukuyamba obutanyiiga mangu musobole okusigala nga muli ba mikwano. (Zab. 4:4) Ne bwe kiba nti mukwano gwo ayogedde ebintu ebitali bya kisa, kijjukire nti ffenna twogera ebintu oluvannyuma ne tubyejjusa. (Mub. 7:21, 22) Weebuuze: ‘Okukalambira ku ekyo kye mpulira nti kye kituufu, kisinga okukuuma omukwano gwaffe?’ Oyinza okwerekereza ne mukolera ku ekyo mukwano gwo ky’agamba. Teweemalako mirembe ng’okomyawo ekyo ekyabaleetedde obutakkaanya.
Obwetoowaze busobola okukuyamba okubuusa amaaso obutakkaanya obutonotono, n’okusonyiwa abalala (Laba akatundu 8)a
9. Obwetoowaze bunaakuyamba butya bwe kiba nga si kyangu okugonjoola obutakkaanya? (Engero 17:9)
9 Obwetoowaze era busobola okukuyamba ne bwe kiba nti si kyangu okugonjoola obutakkaanya. Weewale okukaayana ng’oyagala okulaga nti ggwe mutuufu. (Soma Engero 17:9; 1 Kol. 6:7) Osaanidde okuba n’ekiruubirirwa eky’okusigala nga muli ba mikwano. Kino ab’oluganda bangi bakikoze nga boogera ne mikwano gyabwe mu ngeri ey’ekisa, basobole okugonjoola obutakkaanya obuba buzzeewo. (Zab. 34:14) Oyinza okugamba mukwano gwo nti: ‘Tubadde ba mukwano okumala akaseera. Nsaba twogere ku ekyo ekyabaddewo.’ Beera mwetegefu okukkiriza ensobi yo era weetonde bw’okizuula nti waliwo kye wakoze ekyalumizza mukwano gwo. Ate era singa mukkiriza munno akwetondera, yoleka obwetoowaze omusonyiwe. (Luk. 17:3, 4) Kijjukire nti ekiruubirirwa si kya kulaga ani mutuufu oba mukyamu, wabula okugonjoola obutakkaanya, musobole okusigala nga muli ba mukwano.—Nge. 18:24.
BWE MUBA N’ENGERI EZAAWUKANA
10. Lwaki kiyinza okuba ekizibu okusigala nga tuli ba mikwano?
10 Ensonga lwaki ekyo kisoomooza. Oluusi kiyinza okutuzibuwalira okusigala nga tuli ba mikwano kubanga tulina engeri za njawulo ku za bakkiriza bannaffe. Abamu bayinza okuba n’engeri ezinyiiza. Ate abalala bayinza okuba n’engeri ze tulowooza nti si nnungi olw’engeri gye baayisibwamu nga bakula, oba olw’okuba mu buwangwa bwabwe si kya bulijjo omuntu okwogera buli kimu ekimukwatako. Kyokka ng’ate abalala okusinziira ku buwangwa bwabwe banyumirwa okubeera n’abantu abalala era n’okunyumya ku bintu ebitali bimu. Tuyinza n’okuba nga twawukana mu ngeri endala. Ng’ekyokulabirako, abamu bayinza okuba nga baagala okubeera n’abantu, ate ng’abalala ba nsonyi.
11. Yesu yeeyongera atya okukolagana ne mikwano gye abaalina engeri ezaawukana ku zize?
11 Koppa obugumiikiriza bwa Yesu. Yesu yasigala akolagana bulungi ne mikwano gye, nga mw’otwalidde n’abo abaalina engeri ezaawukana ku zize. Ng’ekyokulabirako omutume Yakobo ne Yokaana baayagala okukiraga nti ba waggulu ku balala bwe baasaba Yesu okubawa ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka. (Mak. 10:35-37) Okwawukana ku batume abo, Yesu yali ayolese obwetoowaze, n’ava mu kifo kye eky’ekitiibwa mu ggulu, n’aleka n’enkizo ze yalina n’ajja ku nsi. (Baf. 2:5-8) Kyeyoleka lwatu nti endowooza ya Yesu n’ey’abatume abo zaali zaawukanira ddala. Wadde kiri kityo, Yesu yali mugumiikiriza ng’akolagana ne Yakobo ne Yokaana, wamu n’abalala.
12. Kiki ekyayamba Yesu okuba omugumiikiriza eri mikwano gye?
12 Yesu yali akimanyi nti mikwano gye tebatuukiridde, era yali tasuubira nti mikwano gye bulijjo bajja kuba n’endowooza ennuŋŋamu. Yali akimanyi nti ekyo Yakobo ne Yokaana kye baali basabye kyali kyoleka omwoyo gw’okuvuganya bangi ku bayigirizwa be gwe baalina. (Mak. 9:34) Yesu yali akulidde mu mbeera ze zimu ze baali bakuliddemu. Mu kitundu gye baakulira, abantu baali bassa nnyo essira ku kuba omututumufu ne ku kufuna ebifo eby’ekitiibwa. N’olwekyo, Yesu yali ategeera bulungi engeri gye baali balowoozaamu ku nsonga eyo. Wadde kiri kityo, Yesu yeeyongera okubagumiikiriza era yali tasuubira nti bajja kwanguwa okweggyamu amalala n’okwagala ebitiibwa, engeri ze baali bakuze nga balina.—Mak. 10:42-45.
13. Okuba abagumiikiriza kinaatuyamba kitya okukuuma emikwano? (Abeefeso 4:2)
13 Ebinaabayamba okusigala nga muli ba mikwano. Weeyongere okuba omugumiikiriza, ng’okola kyonna ky’osobola okumanyiira engeri oba enneeyisa ezitakusanyusa bakkiriza banno ze balina. (Nge. 14:29) Buli omu ku ffe alina engeri ezize ku bubwe ez’enjawulo, era ng’engeri ezo ku bwazo si mbi, naye nga bwatyo bw’ali. N’olwekyo kitusanyusa nnyo abalala bwe batugumiikiriza olw’engeri gye tweyisaamu. (Soma Abeefeso 4:2.) Naffe tusaanidde okuba abagumiikiriza ne tukikkiriza nti abalala basobola okweyisa mu ngeri eyawukana ku yaffe. Ng’ekyokulabirako, kiba kirungi okulowooza ku kufuba omuntu omusirise era alina ensonyi kwe yeetaaga okusobola okunyumya n’abalala. Ate era twetaaga okuba abagumiikiriza n’eri abantu abanyumya ennyo, era nga buli kiseera baagala okunyumya n’abalala. Si buli muntu nti asobola okufuuka mukwano gwaffe ow’oku lusegere, naye tusaanidde okukijjukira nti buli Mukristaayo asobola okuba obumu ne bakkiriza banne, ne bwe kiba nti engeri ze zaawukana ku zaabwe.
14. Bwe tuba abagumiikiriza, ebirowoozo byaffe tujja kubissa ku ki?
14 Obugumiikiriza bujja kutuyamba okweyongera okussa essira ku ngeri ennungi baganda baffe ne bannyinaffe ze balina. Bwe tukola bwe tutyo, engeri ez’enjawulo ze tulina tezijja kutulemesa kubeera ba mukwano. Ddamu olowooze ku Yakobo ne Yokaana. Kyo kituufu nti beeyagaliza ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka; naye ekyo baakikola olw’okuba Obwakabaka baali babutwala nga bwa ddala gye bali. Ekyo Yesu yakiraba, era yabasiima olw’okuba n’okukkiriza. Bwe tunoonya ebirungi mu mikwano gyaffe tuba tukoppa Yesu ne Kitaawe, Yakuwa.
15. Ani asobola okutuyamba okusigala nga tukolagana bulungi ne mikwano gyaffe abalina engeri ezaawukana ku zaffe?
15 N’ekisingira ddala obukulu, tusobola okusaba Yakuwa atuyambe okusigala nga tukolagana bulungi ne mikwano gyaffe, ne bwe baba nga balina engeri ezaawukana ku zaffe. Lowooza ku mbeera eziyinza okubaawo ne zikuviirako okunyiigira mukwano gwo, era osabe Yakuwa nti singa zibaawo, akuyambe osigale ng’oli mukkakkamu. Kijjukire nti Yakuwa, Omutonzi waffe, akimanyi bulungi nti buli omu ku ffe wa njawulo. N’olwekyo, bw’osaba beera mukakafu nti Yakuwa ategeera bulungi kye weetaaga okweyongera okugumiikiriza. Ate bw’owulira nga kikukaluubirira okuba omugumiikiriza, saba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okwefuga.—Luk. 11:13; Bag. 5:22, 23.
BAKKKIRIZA BANNAFFE BWE BABA NGA BALINA EBIZIBU
16. Kusoomooza ki kwe tuyinza okufuna nga tukolagana ne bakkiriza bannaffe abalina ebizibu?
16 Ensonga lwaki ekyo kisoomooza. Baganda baffe ne bannyinaffe bwe baba nga balina obulumi mu mubiri oba nga bennyamivu, bayinza okutandika okweyisa mu ngeri ekifuula ekizibu okukolagana nabo. Ng’ekyokulabirako, bayinza okulekera awo okwogera naffe, ng’obuntu obutonotono bubanyiiza mangu, oba ne beeyisa mu ngeri endala ezeewuunyisa. Oboolyawo bayinza n’okutandika okwogera oba okukola ebintu ebitunyiiza. (Yob. 6:2, 3) Olw’okuba bakkiriza bannaffe bayinza okuba n’ebizibu naye nga ffe tetumanyi, bayinza okweyisa mu ngeri gye tubadde tutabasuubira kweyisaamu.
17. Kiki ky’oyigira ku ngeri Yesu gye yayisaamu Battimaayo?
17 Koppa obusaasizi bwa Yesu n’ekisa kye. Yesu yali wa kisa era yasaasiranga abantu ababonaabona nga mw’otwalidde n’abo be yabanga tamanyi. Ng’ekyokulabirako, weetegereze engeri gye yayisaamu abasajja babiri abazibe b’amaaso. Omu ku basajja abo yali ayitibwa Battimaayo. Bwe yakitegeera nti Yesu yali ayitawo, yatandika okuwogganira waggulu ng’ayagala Yesu amulabe. Abamu ku abo abaali mu kibiina ky’abantu baagamba Battimaayo asirike. Naye olw’okuba yali ayagala Yesu amuwonye, yeeyongera bweyongezi okuwoggana. Kirabika abamu ku abo abaali mu kibinja ky’abantu baanyiiga era tebaasanyuka olw’engeri Battimaayo gye yeeyisaamu. Wadde kyali kityo, Yesu ‘yamukwatirwa ekisa,’ era yali ayagala okumuyamba. (Mat. 20:34; Mak. 10:46-52) Yayogera ne Battimaayo mu ngeri ey’ekisa, n’amusiima olw’okukkiriza kwe, era n’amuzibula amaaso.
18. Osaanidde kuyisa otya mikwano gyo abalina ebizibu? (1 Abassessalonika 5:14)
18 Ebinaabayamba okusigala nga muli ba mikwano. Yoleka ekisa era beera musaasizi. Engeri ezo zijja kukuyamba “okubudaabuda” bakkiriza banno abalina obulumi mu mubiri oba mu birowoozo. (Soma 1 Abassessalonika 5:14.) Kijjukire nti ow’omukwano owa nnamaddala aba mwetegefu okuyamba abalala, naddala “mu biro eby’okulaba ennaku.” (Nge. 17:17) Takoma bukomi ku kulumirirwa balala, naye era abaako ky’akolawo okubabudaabuda n’okubazzaamu amaanyi, ka kibe mu bigambo oba mu bikolwa.
19. Tuyinza tutya okwoleka ekisa n’obusaasizi? (Laba n’ebifaananyi.)
19 Biki by’oyinza okukola okulaga abalala ekisa n’obusaasizi? Kya lwatu, tosobola kuggyawo bulumi mukkiriza munno bw’alina. Naye oyinza okugezaako okutegeera engeri gye yeewuliramu, n’embeera gy’alimu. (Mat. 7:12; 1 Peet. 3:8) Bw’aba akunnyonnyola embeera gy’ayitamu, muwulirize bulungi. Bwe kiba kituukirawo, baako by’oyogera ebisobola okumubudaabuda. (Nge. 12:25) Weegendereze oleme kukitwala nti omanyi byonna ebizingirwa mu mbeera ye kyokka nga tobimanyi. (Nge. 18:13) Fuba okumugumiikiriza era tomusuubira kuba mutuukirivu.—Bef. 4:32.
Ab’emikwano aba nnamaddala babudaabuda abalala nga booleka ekisa n’obusaasizi (Laba akatundu 19)
20. Wandyagadde kuba wa mukwano wa ngeri ki?
20 Tukitwala nga kya muwendo nnyo okuba n’emikwano mu kibiina. Naye tusaanidde okukijjukira nti olw’okuba tetutuukiridde, ebiseera ebimu tweyisa mu ngeri gye tutayagala. Eri bangi ku ffe, ekyo kiri bwe kityo olw’ebintu ebibi bye tuyiseemu mu bulamu. N’olwekyo, tusiima nnyo bakkiriza bannaffe abooleka engeri gamba ng’obwetowaaze, obugumiikiriza, ekisa, n’obusaasizi, ne kitusobozesa okusigala nga tuli ba mikwano. Bulijjo ka tufube okuba ab’emikwano ab’engeri eyo.
OLUYIMBA 124 Tubeerenga Beesigwa
a EKIFAANANYI: Ow’oluganda omukulu n’ow’oluganda omuto balina endowooza za njawulo ku kitundu ekibiina kyabwe kye kirina okubuuliramu. Oluvannyuma babuulirako wamu era basanyufu.