AGUSITO 10-16, 2026
OLUYIMBA 122 Ba Munywevu, Tosagaasagana!
Ebinaakuyamba Okusigala ng’Oli Mwesigwa eri Yakuwa Wadde ng’Olina Ebizibu
“Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.”—YOK. 6:68.
EKIGENDERERWA
Tugenda kulaba ebinaatuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa ne bwe tuba nga tulina ebizibu.
1-2. Kiki ekyaliwo Yesu bwe yali ayigiriza mu Kaperunawumu?
“EBIGAMBO ebyo byesisiwaza; ani ayinza okubiwuliriza?” (Yok. 6:60) Bangi ku bayigirizwa ba Yesu baayogera bwe batyo oluvannyuma lw’okuwuliriza ebyo Yesu bye yayigiriza ng’ali mu Kaperunawumu. Yali agambye nti: “Okuggyako nga mulidde omubiri gw’Omwana w’omuntu era ne munywa n’omusaayi gwe, temulina bulamu.” Era yayongerako nti: “Oyo alya omubiri gwange era n’anywa omusaayi gwange alina obulamu obutaggwaawo, era ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero.”—Yok. 6:53, 54.
2 Bangi ku bayigirizwa ba Yesu baawulira bubi olw’ebigambo ebyo era ne balekera awo okumugoberera. Kati olwo tugambe nti baali tebakyamukkiririzaamu? Nedda. Yesu bwe yali tannayogera bigambo ebyo abantu abamu, nga mw’otwalidde n’abagoberezi be, baakwatibwako nnyo olw’ebyo Yesu bye yali ayigirizza era ne bagamba nti: “Ddala ono ye nnabbi eyali ow’okujja mu nsi.” (Yok. 6:14) Tewali kubuusabuusa nti abayigirizwa abo baali bakkiririza mu Yesu. Naye okukkiriza kwabwe bwe kwagezesebwa, baalemererwa okusigala nga beesigwa gyali.
3. Abatume ba Yesu baakola ki nga bawulidde ebigambo bye, era lwaki? (Laba n’ekifaananyi.)
3 Abatume bo tebeesittala olw’ebyo Yesu bye yali ayogedde. Yesu bwe yababuuza obanga nabo baali baagala okumwabulira, Peetero yaddamu nti: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo. Tukkirizza era tutegedde nti ggwe Mutukuvu wa Katonda.” (Yok. 6:68, 69) Weetegereze nti Peetero teyagamba nti ye n’abatume abalala baali bategeera bulungi ebyo Yesu bye yali ayogedde bwe yagamba nti baalina okulya omubiri gwe n’okunywa omusaayi gwe. Ka kibe ki kye baategeera mu kaseera ako, baasalawo okusigala nga beesigwa eri Yesu. Lwaki? Kubanga baali bakakafu nti Yesu ye “Kristo wa Katonda.”—Luk. 9:20, 35.
Wadde ng’abayigirizwa ba Yesu abalala baamwabulira, Peetero n’abatume abalala baamunywererako (Laba akatundu 3)
4. Bintu ki ebiyinza okutugezesa?
4 Obwesigwa bwaffe eri Yakuwa busobola okugezesebwa mu ngeri ez’enjawulo. Ng’ekyokulabirako, tweyisa tutya bwe wabaawo enkyukakyuka ezikoleddwa mu ngeri gye tutegeeramu olunyiriri olumu mu Bayibuli oba enkyukakyuka ezikwata ku ngeri omulimu gw’okubuulira gye gukolebwamu? Oba tweyisa tutya bwe tuzibuwalirwa okutegeera ensonga lwaki Yakuwa aleka ebizibu ebimu eby’amaanyi okututuukako? Ate era okukkiriza kwaffe kusobola okugezesebwa Mukristaayo munnaffe era mukwano gwaffe bw’akola ekintu ekitulumya oba singa wabaawo omuntu gwe tussaamu ennyo ekitiibwa atuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya.
5. Waayo ekyokulabirako ekiraga ensonga lwaki okukkiriza kwaffe kusaanidde okuba n’omusingi omunywevu. (Abakkolosaayi 1:23)
5 Okutegeera ensonga lwaki kikulu okuba n’omusingi omunywevu okukkiriza kwaffe kwe kwesigamiziddwa, lowooza ku kizimbe ekizimbibwa mu kifo ekitera okuyitamu musisi ow’amaanyi. Ekizimbe ng’ekyo okusobola okuwangaala, kyetaaga okubeera n’omusingi omunywevu. Mu ngeri y’emu, okukkiriza kwaffe kwetaaga okubeera n’omusingi omunywevu bwe tunaaba ab’okugumira ebintu ebiyinza okutugezesa, gamba ng’ebyo ebyogeddwako mu katundu akavuddeko. Bwe tuneeyongera okunyweza okukkiriza kwaffe, tujja kweyongera okuba abanywevu era tuweereze Yakuwa n’obwesigwa ne bwe tuba nga tulina ebizibu.—1 Kol. 15:58; soma Abakkolosaayi 1:23.
6. Kiki ekyayamba abatume okusigala nga beesigwa eri Yesu?
6 Kiki ekyayamba abatume okusigala nga beesigwa eri Yesu abalala bwe baamwabulira? Abatume baali bakakafu nti Yakuwa y’agwanidde okusinzibwa kubanga ye yakola ebintu byonna; nti Yesu ye Mwana wa Katonda alina “ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo”; era nti Yakuwa ayamba Yesu mu byonna by’akola. Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo ku bintu ebitali bimu ebisobola okugezesa okukkiriza kwaffe, essira ka tulisse ku bintu bino bisatu ebisobola okutuyamba okusigala nga tuli banywevu ne bwe tuba nga tufunye ebizibu. Ebintu ebyo bye bino: (1) Yakuwa ye Mutonzi w’ebintu byonna. (2) Yakuwa ye yawandiisa Bayibuli. (3) Yakuwa ayamba abantu be leero. Bwe tunaaba bakakafu ku bintu ebyo, tujja kusigala nga tuli beesigwa ne bwe tunaafuna ebizibu.
YAKUWA YE MUTONZI
7. Okubikkulirwa 4:11 watujjukiza ki, era ekyawandiikibwa ekyo kituyigiriza ki bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu?
7 Soma Okubikkulirwa 4:11. Ekyawandiikibwa ekyo kitujjukiza nti Yakuwa ye yatonda ebintu byonna. Ekyo kituleetera okukiraba nti Yakuwa y’agwanidde okusinzibwa. Era bwe tufumiitiriza ku maanyi ge amangi ennyo, tuba bakakafu nti asobola okutuyamba nga twolekagana n’ebizibu. Kyokka Sitaani alimbyelimbye abantu bangi leero, n’abaleetera okubuusabuusa obanga Katonda gy’ali. Bannassaayansi abamu batuuse n’okugamba nti obulamu bwajjawo bwokka. Bwe tuba tetuli bakakafu nti Yakuwa ye Mutonzi era nti atwagala nnyo, tuyinza okutandika okubuusabuusa obanga gy’ali era nti ajja kutuyamba bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu.—Beb. 11:6.
8-9. Kiki ky’osaanidde okukola bw’otandika okubuusabuusa obanga Yakuwa ye Mutonzi? (Laba n’ekifaananyi.)
8 Baako ky’okolawo mu bwangu bw’otandika okubuusabuusa obanga Yakuwa ye Mutonzi. Noonyereza mu bitabo byaffe ofune obukakafu obuwerako obulaga nti Yakuwa ye yatonda ebintu byonna. Osobola okusoma ebintu ebiwerako ebikwata ku nsonga eno mu katabo Was Life Created? ne The Origin of Life—Five Questions Worth Asking. Ate era osobola okufuna obukakafu obulala ku jw.org ng’osoma ebyo ebiri mu kitundu “Kyajjawo Kyokka?” Mwannyinaffe omuvubuka ayitibwa Jessica abeera mu Amerika agamba nti: “Bwe nnamala okusoma akatabo The Origin of Life, nneeyongera okuba omukakafu nti ebintu tebyajjawo byokka. Ekyo nnali nkimanyi, naye bwe nnasoma ebiri mu katabo ako nneeyongera okuba omukakafu nti eriyo Omutonzi.” Ate era, bangi baganyuddwa nnyo mu kusoma akatabo, Is There a Creator Who Cares About You? Oyinza okuba nga wamala dda okusoma obutabo obwo, naye oyinza okweteerawo ekiruubirirwa eky’okuddamu okubusoma.
9 Oyinza n’okukola enteekateeka okunoonyereza ku bintu ebirala ebikakasa nti Katonda gy’ali. Ebyo by’onoozuula tebijja kukoma ku kukuyamba kuba mukakafu nti Katonda gy’ali, naye era bijja kukuyamba okweyongera okumutegeera obulungi. (Bar. 1:20) Ate era by’onooyiga ojja kuba osobola okubikozesa okuyamba abo abayinza okuba nga babuusabuusa obanga Katonda gy’ali. Ensonga enkulu y’eno: Yakuwa atuwadde obukakafu bungi obulaga nti ye Mutonzi waffe.
Nebula: IAC/RGO/David Malin Images; fish and car: Mercedes-Benz USA; plane: Kristen Bartlett/University of Florida
Wadde ng’oyinza okuba wasoma akatabo Was Life Created? oyinza okusalawo okuddamu okukasoma. (Laba akatundu 8)
YAKUWA YE YAWANDIISA BAYIBULI
10. Lwaki Bayibuli tugitwala nga ya muwendo nnyo? (2 Timoseewo 3:16, 17)
10 Soma 2 Timoseewo 3:16, 17. Bayibuli erimu obubaka Yakuwa bw’ayagala abantu bategeere. Eddamu ebibuuzo ebikulu ebikwata ku bulamu, era etubuulira ekigendererwa kya Yakuwa n’ebyo by’ayagala tukole. Tukkiriza nti Yakuwa ye yawandiisa Bayibuli era ekyo kigifuula okuba ekitabo ekisingayo obukulu mu bulamu bwaffe. Tusaanidde okutegeera obulungi ebiri mu Kigambo kya Katonda era ne tufuba okubikolerako.
11. Kiki ekikukakasa nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda?
11 Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa ye yawandiisa Bayibuli? Lowooza ku nsonga zino. Ebyo Ekigambo kya Katonda bye kyogera ku byafaayo bituufu. (Luk. 3:1, 2) Ate era ebyo Bayibuli by’eyogera ku bintu ebyatondebwa bituufu. (Yob. 26:7) Lowooza ne ku kino: Wadde nga Sitaani agezezzaako nnyo okusaanyaawo Bayibuli, kye kitabo ekikyasinze okukubibwa mu nnimi nnyingi era kopi zaakyo nnyingi zigabiddwa. Bayibuli yawandiikibwa abasajja nga 40 mu bbanga lya myaka nga 1,600; wadde kiri kityo, bye baawandiika bikwatagana. Erimu amagezi agakola ekiseera kyonna agayambye abantu bukadde na bukadde mu bulamu bwabwe. (Nge. 13:20; 15:21; Mat. 7:12) Ate era ensonga endala lwaki tusobola okwesiga Bayibuli eri nti, obunnabbi bungi obugirimu butuukiridde. (Yos. 23:14) Mazima ddala, Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda!
12. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tutandika okubuusabuusa obanga Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda?
12 Kiki kye tusaanidde okukola bwe tutandika okubuusabuusa obanga Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda? Tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe era ne tukolera ku ssaala zaffe. Weetegereze ekyo omuvubuka ayitibwa Jordan, eyayiga amazima okuva ku bazadde be ky’agamba: “Ssimala gakkiriza buli kimu ekiba kiŋŋambiddwa. Nsooka ne ndowooza ku kintu nsobole okuba omukakafu nti kye nzikiriza kituufu. Amazima gali nti ebiseera ebimu mbuusabuusa ebintu ebimu. Naye ekyo bwe kibaawo, nnoonyereza mu bitabo byaffe, nsobole okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye mba nneebuuza kinnyambe okulekera awo okubuusabuusa.” Bwe tweyongera okuba abakakafu nti Yakuwa ye yaluŋŋamya Bayibuli, tujja kweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe.—1 Kol. 3:12, 13.
YAKUWA AYAMBA ABANTU BE LEERO
13. Kiki kye tusaanidde okukola singa tutandika okubuusabuusa baani abasinza Katonda mu ngeri entuufu?
13 Singa tutandika okubuusabuusa obanga Abajulirwa ba Yakuwa be bantu Katonda b’awagira leero, tusaanidde okubaako kye tukolawo mu bwangu. Tusobola okwebuuza ebibuuzo nga bino kituyambe okulekera awo okubuusabuusa: ‘Baani abafuba okutambuliza obulamu bwabwe ku mitindo gya Bayibuli? Baani abeesigamya ebintu byonna bye bakkiririzaamu ku ekyo Bayibuli ky’eyigiriza?’ (2 Tim. 4:3, 4) ‘Baani abakola Yakuwa by’ayagala leero?’—Mat. 7:20, 21.
14. Abajulirwa ba Yakuwa batuukiriza batya ebigambo ebiri mu Matayo 24:14?
14 Bwe kituuka ku kukola ebyo Katonda by’ayagala leero, tusaanidde okwebuuza, ‘Baani abakola omulimu gw’okubuulira Yesu gwe yalagira abagoberezi be okukola mu nnaku ez’enkomerero?’ (Mat. 24:14) Eky’okuddamu kyeyoleka lwatu. Tewali kubuusabuusa nti Katonda akozesa abantu be, Abajulirwa ba Yakuwa, okukola omulimu gw’okubuulira. Ffe ffekka ababuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda mu nsi ezisukka mu 240. Nga tukolera wansi w’Obwakabaka bwa Katonda, tumaze emyaka egisukka mu 100 nga tukola omulimu guno. Omulimu gw’okubuulira bulijjo abantu ba Katonda babadde bagutwala nti mukulu nnyo.—Mat. 28:19, 20.
15. Abajulirwa ba Yakuwa bamanyisizza batya erinnya lya Katonda? (Matayo 6:9; Isaaya 43:10)
15 Soma Matayo 6:9 ne Isaaya 43:10. Ng’Abajulirwa ba Yakuwa twenyumiririza mu kuyitibwa erinnya lya Katonda. Abantu bangi mu nsi leero tebamanyi nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa, naye tufubye okulizza mu bifo ebituufu we lirina okuba mu Bayibuli. Erinnya lya Katonda lisangibwa emirundi egisukka mu 7,000 mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu.
16. Lwaki tugamba nti Abajulirwa ba Yakuwa bakolera ku kiragiro ekiri mu Yokaana 13:34, 35? (Laba n’ekifaananyi.)
16 Soma Yokaana 13:34, 35. Leero abantu bangi beeyawuddeyawudde era bakambwe. Wadde kiri kityo, abantu ba Yakuwa balagaŋŋana okwagala era bali bumu. Tuva mu bitundu by’ensi eby’enjawulo era twakulira mu mbeera za njawulo. Wadde kiri kityo, tufuba okuleetawo emirembe n’okulagaŋŋana okwagala. Oboolyawo wali okyaliddeko ab’oluganda mu kibiina ekiri mu kitundu ekirala. Bwe kiba kityo, oteekwa okuba ng’olabye engeri bakkiriza banno gye balagaŋŋanamu okwagala ka babe nga babeera wa. Ekyo kiraga nti Yakuwa akozesa Abajulirwa be okutuukiriza ebyo by’ayagala leero. Bwe tulowooza ku kwagala abantu ba Katonda kwe booleka, kijja kutuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa ne bwe tuba nga tufunye ebizibu.
Abantu ba Yakuwa mu nsi yonna bali bumu era balagaŋŋana okwagala (Laba akatundu 16)a
TOVANGA KU YAKUWA
17-18. Mbeera ki eziyinza okutusoomooza, naye tuyinza tutya okukoppa Peetero?
17 Tuli mu nnaku ez’enkomerero era ffenna tulina ebizibu. (2 Tim. 3:1, 13) Kyokka wayinza okubaawo n’ebintu ebirala ebitusoomooza. Ekibiina kya Yakuwa kisobola okusalawo ku nsonga ezimu naye ne tutazitegeera bulungi. Mukkiriza munnaffe ayinza okukola ekintu ekitulumya, oba tuyinza okuwulira nti ow’oluganda oba mwannyinaffe mu kibiina tatutegedde bulungi. Tuyinza obutafunirawo ngeri ya kugonjoolamu bizibu byaffe, oba tuyinza obutategeererawo nsonga lwaki ebintu ebimu bikolebwa mu ngeri emu.
18 Ka tube nga tuwulira tutya olw’embeera enzibu ze tuba tuyitamu, tusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa bwe tuba abakakafu nti ye Mutonzi, nti Bayibuli Kigambo kye, era nti Abajulirwa ba Yakuwa bantu be. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kuba ng’omutume Peetero era naffe tujja kuba tusobola okugamba nti: “Tunaagenda eri ani? Ggwe olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo.”
OLUYIMBA 123 Okugoberera Enteekateeka Katonda gy’Ataddewo
a EBIFAANANYI: Mwannyinaffe ne kawala ke bali mu bbaasi era kibasanyusizza okulaba bakkiriza bannaabwe nga babuulira.