LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w26 Maaki lup. 14-19
  • Tokkiriza Kuwugulibwa

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Tokkiriza Kuwugulibwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • BIKI EBIYINZA OKUTUWUGULA?
  • YESU YEEWALA ATYA OKUTWALIRIZIBWA EBINTU EBIWUGULA?
  • TUYINZA TUTYA OKWEWALA OKUWUGULIBWA?
  • Okusalawo mu Ngeri Eraga nti Twesiga Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu Olubaako Omulabirizi Akyalira Ebibiina Olwa 2025-2026
  • Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu Olwa 2025-2026 Olubaako Akiikiridde Ettabi
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
w26 Maaki lup. 14-19

MAAYI 18-24, 2026

OLUYIMBA 35 “Mumanyenga Ebintu Ebisinga Obukulu”

Tokkiriza Kuwugulibwa

“Mutegeerenga Yakuwa ky’ayagala.”—BEF. 5:17.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba engeri gye tusobola okusigala nga twemalidde ku bintu eby’omwoyo wadde nga wayinza okubaawo ebituwugula.

1-2. Ekintu ekirabika ng’ekikulu kiyinza kitya okutuwugula?

WALI ofunyeeko ekintu ekikuwugula? Oboolyawo ekyo kyaliwo ng’olina ky’okola era nga kikwetaagisa okusalawo obutawugulibwa. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti oli mu kuvuga mmotoka, kyokka essimu yo n’evuga. Wadde ng’oyo akukubidde essimu ayinza okuba alina ekintu ekikulu ky’akugamba, okiraba nti okukwata essimu mu kiseera ekyo kiyinza okukuwugula. Mu kiseera ekyo, ekintu ekiba kisinga obukulu kwe kumalira ebirowoozo byo ku kuvuga.

2 Mu bulamu waliwo ebintu bingi bye tuba tulina okukola. Kyokka ng’Abakristaayo tukimanyi nti okwemalira ku bintu eby’omwoyoa kye kintu ekisinga obukulu. (Mat. 6:33) Okufaananako abavuzi b’ebidduka, abantu ba Yakuwa bafuba okumanya ebyo ebiyinza okubawugula ne bibalemesa okwemalira ku bintu ebisinga obukulu.—Nge. 4:25; Mat. 6:22.

3. Biki bye tugenda okuyiga mu kitundu kino?

3 Tewali n’omu ku ffe ayagala kuwugulibwa okuva ku bintu eby’omwoyo. Kyokka waliwo ebintu bingi ebisobola okutuwugula. (Luk. 21:​34-36) Okusobola okutuyamba okwemalira ku kuweereza Yakuwa tugenda kulaba ensonga zino ssatu: (1) Bintu ki ebiyinza okutuwugula? (2) Yesu yeewala atya okutwalirizibwa ebintu ebyali biyinza okumuwugula? ne (3) Tuyinza tutya obutatwalirizibwa bintu ebiyinza okutuwugula leero?

BIKI EBIYINZA OKUTUWUGULA?

4-6. Bintu ki ebiyinza okutuwugula?

4 Ffenna tulina ebintu ebikulu mu bulamu bye tulina okukolako. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuba nga tuli balwadde, oba nga waliwo ebintu ebyaffe ku bwaffe oba eby’ab’omu maka gaffe bye twetaaga okukolako. Kyo kituufu nti ebintu ebyo bikulu era tuba twetaaga okubikolako. Naye ebintu ebyo bisobola okutuwugula? Bisobola okutuwugula singa bye tuba tulowoozaako byokka, ne tubimalirako obudde bwaffe, ne kiba nti tulagajjalidde n’ebintu ebirala ebikulu.

5 Okugatta ku ekyo, bangi ku ffe tufuna ebizibu ebiva ku butabanguko bw’eby’obufuzi, okugootaana kw’eby’enfuna, endwadde, n’ebintu ebirala ebibi ebiri mu nteekateeka ya Sitaani eno. (2 Tim. 3:1) Bwe twolekagana n’ebizibu ng’ebyo tuyinza okutandika okweraliikirira ennyo, ne kiba nti buli kiseera bye tuba tulowoozaako.

6 Oboolyawo olina abantu b’omanyi aboolekagana n’ebizibu ng’ebyo, era ng’obulamu bwabwe bukyukidde ddala. Kitegeerekeka bwe bennyamira olw’ebizibu ng’ebyo. Abantu tebaatondebwa kubeera mu bulamu bwa kunyigirizibwa. Tekyewuunyisa nti abamu ku bantu aboolekagana n’ebizibu ng’ebyo eby’amaanyi bawulira nga beetamiddwa obulamu. N’ekivuddemu, abamu bagezaako okunoonya obuweerero nga beemalira ku by’okwesanyusaamu. Kiki kye tuyinza okukola bwe twesanga mu mbeera ng’eyo? Ka tulabe ekyo kye tuyigira ku Yesu ekisobola okutuyamba obutatwalirizibwa bintu ebiyinza okutuwugula.

YESU YEEWALA ATYA OKUTWALIRIZIBWA EBINTU EBIWUGULA?

7. Bintu ki ebyali biyinza okuwugula Yesu?

7 Waaliwo ebintu bingi ebyali bisobola okuwugula Yesu. Ng’ekyokulabirako, yalabanga abantu abaavu n’abalwadde bangi abaali beetaaga obuyambi. (Mat. 14:14; Mak. 14:7) Abaruumi n’Abayudaaya abamu baanyigirizanga nnyo abantu ba bulijjo. Abantu bwe baakiraba nti Yesu alina obusobozi okukola ebyamagero, baayagala okumufuula kabaka waabwe. (Yok. 6:​14, 15) Ate era, Sitaani yakema Yesu ng’amusuubiza okumuwa obwakabaka era oboolyawo Yesu yandiwuguliddwa ng’alowooza nti agenda kufuuka kabaka mu kiseera kitono. (Mat. 4:​8, 9) Yesu era yali asobola okutwalirizibwa ebigambo bya Peetero, eyali omu ku mikwano gye egy’oku lusegere. Peetero yagamba Yesu nti: “Weesaasire Mukama wange.”—Mat. 16:​21, 22.

8. Biki ebyayamba Yesu obutawugulibwa?

8 Waliwo ebintu nga bisatu ebyayamba Yesu obutakkiriza kuwugulibwa. Ekisooka, yafubanga okuba n’endowooza ya Yakuwa. (Yok. 8:28; 14:9) Ekyokubiri, yeemaliranga ku bintu eby’omwoyo. (Mat. 9:35) N’ekyokusatu, yamanyanga ebintu ebisinga obukulu. (Yok. 4:34) Yaziyizanga ebikemo bya Sitaani era teyatwalirizibwa bigambo bya Peetero ebyali birabika ng’ebirungi, naye nga bisobola okumulemesa okukola ebyo Yakuwa by’ayagala. (Mat. 4:10; 16:23) Yesu teyakkiriza ebyo abantu bye baabanga balowooza, bye baayogeranga, oba bye baakolanga okumulemesa okukola ebyo Katonda by’ayagala. Leero ebintu ebiyinza okutuwugula biyinza okwawukana ku ebyo ebyali biyinza okuwugula Yesu. Naye bwe tukoppa Yesu naffe tuba tusobola okwewala okuwugulibwa.

TUYINZA TUTYA OKWEWALA OKUWUGULIBWA?

9. Abeefeso 5:​17, watukubiriza kukola ki?

9 Fuba okumanya endowooza ya Yakuwa. Ekyo kijja kukuyamba ‘okutegeeranga Yakuwa ky’ayagala.’ (Soma Abeefeso 5:17.) Okwesomesa Bayibuli n’okugifumiitirizaako kisobola okutuyamba okutegeera ekyo Yakuwa ky’ayagala era ekimusanyusa. Ne bwe kiba nti Bayibuli teyogera butereevu ku mbeera yennyini gye tuba tulimu, tusobola okumanya ekyo Yakuwa ky’ayagala. Tukimanya tutya? Nga tufuba okutegeera endowooza Yakuwa gy’alina ku bintu ebitali bimu, era ne tuba beetegefu okukola enkyukakyuka ezeetaagisa.

10. Kiki ekisobola okutuyamba okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa?

10 Tusobola okumanya endowooza ya Yakuwa nga tusoma Ekigambo kye, ne tutegeera engeri gy’akolaganamu n’abantu. (Yer. 45:5) Bwe tuba tusoma Bayibuli, tusobola okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Bino bye nsomye binjigiriza ki ku Yakuwa? Nnyinza ntya okubikozesa okufuna endowooza ng’eya Yakuwa?’ Kya lwatu, endowooza ya Yakuwa esingira wala eyaffe. (Is. 55:9) N’olwekyo, tusaanidde okumusaba atuyigirize okukola ebyo by’ayagala. (Zab. 143:10) Ate era tusaanidde okumusaba, atuyambe bulijjo okufuba okuba n’endowooza ng’eyiye.—1 Yok. 5:14.

11. Kiki Yakuwa ky’ayagala tukole?

11 Gye tukoma okufuna endowooza ya Yakuwa, gye tukoma okukitegeera nti Yakuwa ayagala twewale okuwugulibwa, kituyambe okubeera obulindaala nga tulindirira enkomerero. (Mat. 24:44) Yakuwa tayagala tweraliikirire kisukkiridde. (Mat. 6:​31, 32) N’olwekyo bwe tutandika okweraliikirira olw’embeera yaffe ey’eby’obulamu, emirimu gyaffe, amaka gaffe, oba ebintu ebirala, Yakuwa atuwa amagezi agasobola okutuyamba. Yakuwa ayagala tumusabe amagezi n’amaanyi bye twetaaga okusobola okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo, era mwetegefu okutuyamba.—Zab. 55:22; Nge. 3:​5-7.

12. Kiki ekisobola okutuyamba obutaggweebwako ssanyu lyaffe wadde nga waliwo ebintu ebibi mu nsi? (Matayo 5:3)

12 Sigala ng’oli munyiikivu mu bintu eby’omwoyo. Ebintu ebibi ebiriwo mu nsi bituleetera okweraliikirira. Kyokka tewali kye tusobola kukola kubiggyawo. N’olwekyo okwewala okuwugulibwa ebintu ng’ebyo bye tutasobola kuggyawo, ebiseera byaffe tubimala nga twenyigira mu bujjuvu mu bintu eby’omwoyo. Tujja kuba basanyufu bwe tunaafuba okukolera ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo era ng’obwetaavu obwo Yakuwa yabututonderamu. (Soma Matayo 5:3.) Tusobola okukola ku bwetaavu obwo nga tumanya Yakuwa okuyitira mu kwesomesa Ekigambo kye Bayibuli era nga tufuba okumuweereza mu ngeri yonna gye tusobola. Bwe tukola bwe tutyo tujja kusanyusa Yakuwa kubanga tujja kuba tukozesa ebiseera byaffe mu ngeri ey’amagezi.—Nge. 23:15.

13. Tuyinza tutya ‘okukozesa obulungi ebiseera byaffe’?

13 Ng’Abakristaayo, bulijjo twagala ‘okukozesa obulungi ebiseera’ byaffe. (Bef. 5:​15, 16; laba study note ku “nga mukozesa bulungi ebiseera byammwe.”) Bayibuli bw’etukubiriza okukozesa obulungi ebiseera byaffe, ky’eba etegeeza kisingawo ku kukozesa obulungi obudde bwaffe mu bintu bye tukola buli lunaku. Era eba etukubiriza okwekenneenya n’obwegendereza engeri gye tukozesaamu obudde bwaffe nga Yakuwa tannaleeta nkomerero. Tuyinza tutya okukozesa obulungi ebiseera byaffe? Singa tumala ebiseera bingi nga tugezaako okumanya buli mawulire agakwata ku bintu ebibi ebiba biguddewo, tuyinza okuwugulwa, ne tuggwaamu amaanyi, era ne tulekera awo okuba abanyiikivu mu kuweereza Yakuwa. Kiba kirungi okweteerawo ekkomo ku budde bwe tumala nga tulaba oba nga tusoma amawulire. Bwe tukola bwe tutyo kijja kutuyamba okwongera ku biseera bye tumala nga twenyigira mu bintu eby’omwoyo, era kijja kutuyamba okwewala okweraliikirira ekisukkiridde. Ate era kikulu okulowooza ku ebyo bye tusobola okukola okugaziya ku buweereza bwaffe, gamba ng’okweyongera okuyamba abantu be tuba tubuulidde. Tukimanyi nti kikulu okukozesa buli kakisa ke tuba tufunye okuyamba abantu “okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.”—1 Tim. 2:4.

14. Okusigala nga tuli banyiikivu mu buweereza bwaffe eri Yakuwa kituganyula kitya? (Laba n’ekifaananyi.)

14 Bwe tusigala nga tuli banyiikivu mu buweereza bwaffe eri Yakuwa, kituyamba obuteerabira nsonga lwaki waliwo ebintu ebibi bingi mu nsi. Bwe tulaba obutabanguko bw’eby’obufuzi obweyongera, embeera y’eby’enfuna eyeeyongera okugootaana, n’endwadde ezibalukawo, tetweraliikirira kisukkiridde. Tumanyi nti ebintu ebyo biraga nti obunnabbi bwa Bayibuli butuukirira. Mu kifo ky’okukkiriza ebintu ebyo okutuwugula era ne tutandika okutya, obwesige bwaffe tubussa mu Yakuwa nga tuli bakakafu nti ajja kuggyawo ebintu ebyo era aleete ensi empya. Ekyo kituyamba okubeera abakkakkamu kubanga tweyongera okwesiga Yakuwa okutuyamba okugumiikiriza.—Zab. 16:8; 112:​1, 6-8.

Ow’oluganda ne mukyala we nga balina obugaali okuteekebwa ebitabo era tebakkiriza kuwugulibwa. Ebifaananyi: Ebintu ebibi ebiriwo ku nsi. 1. Abantu nga beekalakaasa. 2. Ebivudde mu kulonda bannabyabufuzi. 3. Abasirikale nga bali mu lutalo. 4. Eddagala. 5. Ekipande ekiraga emigabo gya kampuni nga gigwa.

Nyiikirira okwenyigira mu bintu eby’omwoyo, wadde nga waliwo ebintu ebibi bingi mu nsi (Laba akatundu 14)b


15. Okuba “n’endowooza ennuŋŋamu” kinaatusobozesa kukola ki? (1 Peetero 4:7)

15 Teweerabira bintu ebisinga obukulu. Abantu bangi leero mu nsi ebirowoozo byabwe babimalidde ku bya kwesanyusaamu so si ku nkomerero ya nteekateeka eno enaatera okutuuka. Wadde nga si kikyamu okwesanyusaamu, tusaanidde okuba “n’endowooza ennuŋŋamu” kituyambe okwewala okutwalirizibwa endowooza y’abantu ng’abo. (Soma 1 Peetero 4:7.) Kitegeeza ki okuba n’endowooza ennuŋŋamu? Ebigambo ebyo bisobola okutegeeza okukulaakulanya obusobozi bw’okusalawo obulungi, kitusobozese okuba n’endowooza etagudde lubege ku by’okwesanyusaamu. Bwe tusalawo mu ngeri eyo, kiraga nti tulina endowooza ng’eya Yakuwa era nti tusobola okwawulawo ebintu ebisinga obukulu ku ebyo ebitali bikulu.—2 Tim. 1:7.

16. Yesu bwe yali tannafa, ebirowoozo bye yabimalira ku ki?

16 Yesu yamaliranga ebirowoozo bye ku bintu ebyabanga bisinga obukulu. Yesu bwe yali anaatera okuttibwa, ebirowoozo bye yabimalira ku kusigala nga mwesigwa eri Yakuwa n’okutuukiriza ebyo by’ayagala. N’olw’ensonga eyo, yasaba nnyo Yakuwa. Kyokka abayigirizwa be bo tebaasigala nga bali bulindaala era beebaka. Baali “baweddemu amaanyi olw’ennaku.”—Luk. 22:​39-46; Yok. 19:30.

17. Abantu bangi bakozesa batya emikutu emigattabantu, era biki ebivuddemu? (Laba n’ekifaananyi.)

17 Okufaananako abayigirizwa ba Yesu, ebiseera ebimu tuyinza okuwulira nga tuli bennyamivu. Ebintu ebiriwo mu kiseera kino eky’ennaku ez’enkomerero biyinza okutuleetera okweraliikirira. Okusobola okwerabira ebizibu byabwe, abantu bangi bamala obudde bungi ku mikutu emigattabantu. Bakozesa emikutu egyo okunyumya ne mikwano gyabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe okwetooloola ensi, nga bababuulira ebibakwatako, nga babaweereza ebifaananyi, n’ebintu ebirala. Ate era bagikozesa okwesanyusaamu. Kyokka wadde kiri kityo, abantu abo obudde bwabwe obusinga babumalira ku mikutu egyo, nga baagala okumanya buli kimu ekyakagwawo. Okwewala okukozesa emikutu emigattabantu mu ngeri eyo tusaanidde okwebuuza ekibuuzo kino, ‘Engeri gye nkozesaamu emikutu emigattabantu ennyamba mu bulamu bwange, oba empugula ne ndekera awo okussa ebirowoozo ku bintu ebisinga obukulu?’

Mwannyinaffe asoma Bayibuli naye awugulibwa obubaka obujja ku ssimu ye nga buva ku apu eziraga ebintu ebiri ku mikutu egy’enjawulo.

Salawo mu ngeri ey’amagezi osobole okwewala okuwugulibwa emikutu emigattabantu, oba eby’okwesanyusaamu (Laba akatundu 17)


18. Lwaki twetaaga okukozesa amagezi nga tulonda eby’okwesanyusaamu?

18 Ate era twetaaga okukozesa amagezi bwe tuba nga tulaba firimu oba programu za ttivi eziragibwa ku Intaneeti, buvidiyo obulala obumpimpi obulagibwa ku mikutu emigattabantu, oba nga tuzannya emizannyo gy’oku kompyuta. Ebintu ebyo bisobola okuba nga bitunyumira era nga bituyamba okuwummuza ku birowoozo. Naye twetaaga okusalawo n’amagezi bwe kituuka ku bya kwesanyusaamu ki bye tulondawo na budde bwenkana wa bwe tumala nga twesanyusaamu. Abo abakola vidiyo z’oku Intaneeti buli kiseera bakola vidiyo endala, era bw’omala okulaba vidiyo emu bayinza okukusaba olabe vidiyo endala. Oyinza n’okwesanga ng’olabye vidiyo ezirimu ebikolwa eby’obukambwe oba eby’obugwenyufu. Ekyo kye kyatuuka ku w’oluganda omu abeera mu Asiya. Mu kusooka yali alaba ebikwata ku firimu eziba zigenda okufulumizibwa ku mukutu ogumu ogw’oku Intaneeti. Bwe yeeyongera okulaba buvidiyo obumpimpi obukwata ku firimu ezo, yeesanga ng’atandise okulaba ebintu ebitasaana. N’ekyavaamu, yatandika okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Ekirungi, abakadde ne mikwano gye oluvannyuma baamuyamba okuvvuunuka omuze ogwo era naye yabaako ky’akolawo okuguleka. Ng’ekyokulabirako, yaggya apu ezimu mu ssimu ye era n’ateeka ekkomo ku budde bwenkana wa bw’alina okukozesa essimu ye. Ekyokulabirako ekyo kiraga nti kikulu nnyo okukozesa amagezi nga tulonda eby’okwesanyusaamu.

19. Kiki ekiyinza okubaawo singa twemalira ku bya kwesanyusaamu?

19 Tusaanidde okukozesa amagezi bwe kituuka ku ebyo bye tukola nga twewummuzaamu oba nga tugenze mu kifo ekirala okuwummulako. Ffenna tusanyuka nnyo bwe tuwummulako, era kye kimu ku bintu ebituyamba okuba abalamu obulungi. Naye bwe twemalira ennyo ku by’okwesanyusaamu, tuyinza okugwa olubege ne tulekera awo okumalira ebirowoozo byaffe ku bintu ebisinga obukulu. (Baf. 1:10) Ffenna tusaanidde okwesalirawo ku ki kye twagala okukola, na biseera byenkana wa bye tunaamala nga tukikola. Bwe tuba tusalawo tusaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Ebiseera bye mmala nga nneesanyusaamu oba nga ŋŋenze okuwummulako, biraga nti nsalawo mu ngeri ey’amagezi? Nfuba okukulembeza ebintu ebisinga obukulu, era nkiraga nti nneeteekerateekera “enkomerero ya byonna”?’

20. Tuganyulwa tutya bwe tutakkiriza kuwugulibwa?

20 Tuganyulwa nnyo bwe tufuba okwewala ebintu ebiyinza okutuwugula ne bituggya ku bintu eby’omwoyo. (Is. 48:17) Yakuwa ajja kutuyamba okugumiikiriza ebizibu bye twolekagana nabyo mu bulamu. Tetujja kweraliikirira kisukkiridde olw’ebintu ebibi ebiriwo mu nsi. Ate era tujja kwewala okumalira ebiseera byaffe ebisinga obungi ku by’okwesanyusaamu. N’olwekyo, ka tube bamalirivu okweyongera okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa, okunyiikirira ebintu eby’omwoyo, n’obuteerabira ebyo ebisinga obukulu. Bwe tunaakola bwe tutyo, tetujja kukoma ku kwewala bintu ebiyinza okutuwugula kyokka, naye era tujja kusobola “okunyweza obulamu obwa nnamaddala.”—1 Tim. 6:19.

OKUSOBOLA OKWEWALA OKUWUGULIBWA, LWAKI KIKULU . . .

  • okufuna endowooza ng’eya Yakuwa?

  • okunyiikirira ebintu eby’omwoyo?

  • obuteerabira ebintu ebisinga obukulu?

OLUYIMBA 129 Tujja Kweyongera Okugumiikiriza

a EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ebintu eby’omwoyo bizingiramu ekyo kyonna kye tukola nga tusinza Yakuwa, gamba ng’okwesomesa Bayibuli, okubangawo mu nkuŋŋaana, okwenyigira mu kusinza kw’amaka, n’okubuulira. Ate era tuba tusinza Yakuwa bwe tulabirira era ne tuzimba ebifo mwe tukuŋŋaanira, bwe tudduukirira abo abakoseddwa obutyabaga, bwe tukola nga bannakyewa ku nkuŋŋaana ennene, oba ne tuweereza ku Beseri.

b EKIFAANANYI: Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo ku bintu ebibi ebiriwo mu nsi, ow’oluganda ne mukyala we banyiikiridde omulimu gw’okubuulira.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza