LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w25 Agusito lup. 26-30
  • Nnafuuka Omuminsani Wadde nga Nnalina Ensonyi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Nnafuuka Omuminsani Wadde nga Nnalina Ensonyi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • NNYINGIRA OBUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA
  • NTANDIKA OKWAGALA OKUWEEREZA NG’OMUMINSANI
  • TUWEEREREZA MU NSI ERIMU ENTALO
  • TUSINDIKIBWA MU NSI ENDALA
  • TUFUNA EBIZIBU
  • NSIIMA OBUYAMBI YAKUWA BW’AMPA
  • Kaweefube ow’Enjawulo mu Bulgaria Avaamu Ebirungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Yakuwa ‘Atereezezza Amakubo Gange’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Nnalina Ekiruubirirwa eky’Okuzannya Omuzannyo Ogw’okwebongera mu Bbanga
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Yakuwa Antendese Okuviira Ddala mu Buto
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2026
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Agusito lup. 26-30
Marianne Wertholz.

EBYAFAAYO

Nnafuuka Omuminsani Wadde nga Nnalina Ensonyi

BYAYOGERWA MARIANNE WERTHOLZ

BWE nnali omuto nnali wa nsonyi era nga ntya abantu. Naye Yakuwa yannyamba okwagala ennyo abantu era ne nfuuka omuminsani. Yannyamba atya? Okusookera ddala, yakozesa taata wange eyanjigiriza ebintu ebirungi bingi ebikwata ku Yakuwa. Oluvannyuma yakozesa omuwala omutiini eyanteerawo ekyokulabirako ekirungi. Ate era yakozesa omwami wange eyayogeranga nange mu ngeri ey’ekisa, era eyali omugumiikiriza gye ndi. Ka mbanyumize.

Nnazaalibwa mu 1951 mu kibuga Vienna ekya Austria, era bazadde bange baali Bakatuliki. Nnalina ensonyi, naye nnali nzikiririza mu Katonda era nnasabanga bulijjo. Bwe nnali wa myaka mwenda, taata yatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, era oluvannyuma maama yamwegattako.

Nga ndi ne muganda wange, Elisabeth (ku kkono)

Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, twatandika okukuŋŋaanira mu kibiina ky’e Döbling ekyali mu kibuga Vienna. Bingi bye twakoleranga awamu ng’amaka. Twasomeranga wamu Bayibuli, twagendanga ffenna mu nkuŋŋaana, era twakolanga nga bannakyewa ku nkuŋŋaana ennene. Mu myaka egyo, taata wange yannyamba okwagala ennyo Yakuwa. Mu butuufu, taata wange yasabanga Yakuwa nze ne muganda wange tubeere bapayoniya. Naye mu kiseera ekyo, ekyo si kye kyali ekiruubirirwa kyange.

NNYINGIRA OBUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA

Nnabatizibwa mu 1965 nga nnina emyaka 14. Kyokka bwe twabanga tubuulira, kyanzibuwaliranga okubuulira abantu be simanyi. Nnalowoozanga nti abavubuka abalala bansinga era nnayagalanga banfuule mukwano gwabwe. Bwe kityo bwe waali waakayita akaseera katono nga mmaze okubatizibwa, nnakola omukwano n’abantu abaali bataweereza Yakuwa. Wadde nga nnayagalanga nnyo okubeera nabo, omuntu wange ow’omunda yannumirizanga kubanga nnali nkimanyi nti kikyamu okumala ebiseera ebingi n’abantu abataweereza Yakuwa. Naye tekyali kyangu kulekera awo kukolagana nabo. Kiki ekyannyamba?

Marianne ne Dorothée.

Nnina bingi bye nnayigira ku Dorothée (ku kkono)

Mu kiseera ekyo, omuwala eyali ayitibwa Dorothée, eyalina emyaka 16, yajja mu kibiina kyaffe. Yali munyiikivu nnyo mu kubuulira nnyumba ku nnyumba era ekyo kyankwatako nnyo. Nnali mukulu okumusinga, kyokka nze saali munyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Muli nnagamba nti: ‘Nze bazadde bange Bajulirwa ba Yakuwa, naye Dorothée ye Mujulirwa wa Yakuwa yekka ewaabwe. Alabirira maama we omulwadde, kyokka tayosa kubuulira!’ Yanteerawo ekyokulabirako ekirungi, era nange nnasalawo okukola ekisingawo mu kuweereza Yakuwa. Mangu ddala nze ne Dorothée twatandika okuweereza nga bapayoniya. Twasooka kuweereza nga bapayoniya abawagizi, oluvannyuma ne tuweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Olw’okuba Dorothée yali anyumirwa okubuulira, nange nnatandika okukunyumirwa. Yannyamba okufuna omuyizi wa Bayibuli eyasooka. Oluvannyuma lw’ekiseera, nnali sikyatya kwogera na bantu nga tubuulira nnyumba ku nnyumba, ku nguudo, ne mu bifo ebirala.

Mu mwaka gwange ogwasooka nga mpeereza nga payoniya, ow’oluganda Heinz, enzaalwa y’omu Austria, yajja mu kibiina kyaffe. Yali yayiga amazima ng’akyalidde muganda we mu Canada eyali Omujulirwa wa Yakuwa. Heinz yasindikibwa mu kibiina kyaffe mu Vienna okuweereza nga payoniya ow’enjawulo. Bwe nnamulaba, nnamwagalirawo. Naye yali ayagala kubeera muminsani ate nga nze ekyo si kye kyali ekiruubirirwa kyange. N’olwekyo mu kusooka ssaakiraga nti mmwagala. Kyokka, oluvannyuma nze ne Heinz twatandika okwogerezeganya, twafumbiriganwa, era ne tutandika okuweerereza awamu nga bapayoniya mu Austria.

NTANDIKA OKWAGALA OKUWEEREZA NG’OMUMINSANI

Heinz yateranga okuŋŋamba nti yandyagadde okuweereza ng’omuminsani. Wadde nga teyampikirizanga, yandeeteranga okukirowoozaako ng’ambuuza ebibuuzo gamba nga, “Okuva bwe kiri nti tetulina baana, tusobola okugaziya ku buweereza bwaffe eri Yakuwa?” Olw’okuba nnali muntu wa nsonyi, nnali ntya okufuuka omuminsani. Kituufu nti nnali payoniya, naye eky’okufuuka omuminsani nnali ndaba nga sikisobola. Naye Heinz yannyamba okweyongera okukirowoozaako. Ate era yankubiriza okufaayo ku bantu mu kifo ky’okwerowoozaako ennyo. Amagezi ge yampa gannyamba nnyo.

Heinz ng’akubiriza Omunaala gw’Omukuumi mu lulimi oluyitibwa Serbo-Croatian mu kibiina ekyali mu Salzburg, Austria, 1974

Mpolampola nnatandika okwagala okuweereza ng’omuminsani era twasaba okugenda mu ssomero lya Gireyaadi. Naye ow’oluganda eyali atwala ettabi yaŋŋamba nti nsooke njige okwogera obulungi Olungereza. Oluvannyuma lw’emyaka esatu nga nfubye okuyiga Olungereza, kyatwewuunyisa bwe twasindikibwa okuweereza mu kibiina ekyogera olulimi oluyitibwa Serbo-Croatia ekiri mu Salzburg, Austria. Twaweerereza mu kitundu ekyo okumala emyaka musanvu, era ogumu twagumala tukyalira bibiina. Olulimi lw’omu kitundu ekyo lwali luzibu nnyo, naye twalina abayizi ba Bayibuli bangi.

Mu 1979, ab’oluganda abaali batwala ettabi baatusaba okugenda mu Bulgaria tumaleyo akaseera katono. Olw’okuba omulimu gw’okubuulira mu nsi eyo gwali gwawerebwa, baatugamba twefuule abagenze okuwummulako. Baatugamba nti tetubuulira, naye tukukuse ebitabo ebyali ebya sayizi entono tubitwalire bannyinaffe abataano abaali mu Sofia, ekibuga ekikulu ekya Bulgaria. Nnali ntidde nnyo, naye Yakuwa yatuyamba. Bwe nnalaba obuvumu n’essanyu bannyinaffe abo bye baalina wadde nga poliisi yali esobola okubakwata ekiseera kyonna n’ebasiba, nange kyampa obuvumu okukola ekyo kyonna ekibiina kya Yakuwa kye kiba kinsabye okukola.

Oluvannyuma, twaddamu okusaba okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi era ku luno twayitibwa. Twali tumanyi nti tugenda kugenda mu ssomero ly’Olungereza eribeera mu Amerika. Naye mu Noovemba 1981, Essomero lya Gireyaadi lyatandikibwawo mu Wiesbaden, Germany. N’olwekyo, twasobola okubeera mu ssomero eryali mu Lugirimaani, lwe nnali ntegeera obulungi. Twandisinsikiddwa wa oluvannyuma lw’essomero?

TUWEEREREZA MU NSI ERIMU ENTALO

Twasindikibwa kuweereza mu Kenya! Kyokka, ofiisi y’ettabi ly’e Kenya yatusaba obanga tusobola okugenda okuweerereza mu Uganda, ensi ey’oku muliraano. Emyaka egisukka mu kkumi emabega, gavumenti ya Uganda yali yawambibwa amagye agaali gaduumirwa Genero Idi Amin. Mu kiseera ekyo nga yafuga, abantu nkumi na nkumi battibwa, n’abalala bukadde na bukadde ne babonaabona. Ate era mu 1979 gavumenti ya Uganda yaddamu okuwambibwa. Ndowooza olaba ensonga lwaki nnali ntya okugenda mu nsi ng’eyo. Naye mu Gireyaadi twali tuyigiriziddwa okwesiga Yakuwa. N’olwekyo twakkiriza okugenda mu nsi eyo.

Waaliwo obutabanguko mu Uganda. Embeera eyo Heinz yagyogerako bw’ati mu katabo Yearbook aka 2010: “Gavumenti yali tesobola kuwa bantu mazzi, masannyalaze, n’ebintu ebirala ebyetaagisa. Waali tewakyaliwo mpuliziganya yonna. Okusingira ddala mu budde obw’ekiro, abantu baakubanga bannaabwe amasasi era ne bababbako ebintu byabwe. N’olwekyo obudde we bwazibanga abantu baabeeranga waka nga basabirira nti waleme kubaawo muntu yenna ajja okubabba oba okubatta.” Wadde ng’embeera yali nzibu bw’etyo, ab’oluganda baalina okukkiriza okw’amaanyi!

Nga tufumba ekijjulo mu maka g’ow’oluganda Waiswa

Mu 1982, nze ne Heinz twatuuka mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Mu myezi etaano egyasooka, twabeeranga n’ow’oluganda Sam Waiswa ne mukyala we Christina, abaana baabwe bataano, n’ab’eŋŋanda zaabwe bana. Ow’oluganda Waiswa n’ab’omu maka ge baalyanga kimu, era baabanga beetegefu okugabananga naffe kye baabanga balina. Ekiseera kye twamala nga tuli n’ab’omu maka g’ow’oluganda Waiswa, nze ne Heinz twayiga ebintu bingi ebyatuyamba nga tuweereza ng’abaminsani. Ng’ekyokulabirako, twayiga okukekkereza amazzi nga tunaabisa amazzi matono era ng’amazzi ge tuba twozezzaamu engoye tugakozesa mu kaabuyonjo ez’amazzi. Mu 1983, nze ne Heinz twafuna ennyumba mu Kampala, mu kifo ekyalimu obukuumi.

Twanyumirwanga nnyo okubuulira mu Kampala. Lumu twagaba magazini 4,000 mu mwezi gumu gwokka! Naye ekyasinga okutusanyusa, ye ngeri abantu gye baatwalangamu obubaka bwe twababuuliranga. Baali bassa ekitiibwa mu Katonda era nga baagala nnyo okwogera ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Nze ne Heinz buli omu yali alina abayizi ba Bayibuli abali wakati wa 10 ne 15. Waliwo bingi bye twayigira ku bayizi baffe. Ng’ekyokulabirako, wadde nga baalina okutambulanga buli wiiki okujja mu nkuŋŋaana, tebeemulugunyanga era baali basanyufu.

Mu 1985 ne 1986, waaliwo entalo endala bbiri mu Uganda. Twalabanga abaana nga balina emmundu ennene era baayazanga abantu ku nguudo. Mu kiseera ekyo twasabanga Yakuwa atuwe amagezi tusobole okwewala akabi, era tuleme kutya nga tubuulira. Yakuwa yaddangamu essaala zaffe. Bwe twafunanga omuntu ayagala okuwuliriza obubaka bwaffe, twalekeranga awo okutya.

Nze ne Heinz nga tuli ne Tatjana (ali wakati)

Ate era twanyumirwanga nnyo okubuulira abantu abaavanga mu nsi endala ne bajja mu Uganda. Ng’ekyokulabirako, twasomanga Bayibuli ne Murat ne Dilbar Ibatullin, abafumbo abaali bava mu Tatarstan (mu Masekkatti ga Russia). Murat yali musawo. Abafumbo abo baabatizibwa era bakyaweereza Yakuwa n’obwesigwa. Oluvannyuma, nnasisinkana Tatjana Vileyska, omukyala enzaalwa ya Ukraine, era nga mu kiseera ekyo yali ayagala kwetta. Bwe yamala okubatizibwa, yaddayo mu Ukraine era oluvannyuma yayambako okuvvuunula ebitabo byaffe mu Luyukuleyini.a

TUSINDIKIBWA MU NSI ENDALA

Mu 1991 nze ne Heinz bwe twali tugenze okuwummulako mu Austria, ofiisi y’ettabi ey’omu nsi eyo, yatutegeeza nti twali tusindikiddwa okuweereza mu Bulgaria. Okumala emyaka mingi, omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa gwali guwereddwa mu nsi ezimu eza Bulaaya. Kyokka ekyo kyali kikyuse era Abajulirwa ba Yakuwa baali bakkiriziddwa okuddamu okubuulira mu nsi ezo, era Bulgaria yali emu ku zo. Nga bwe nnabategeezezza, nze ne Heinz twali tukukusizzaako ebitabo nga tubitwala mu nsi eyo, mu kiseera omulimu gw’okubuulira bwe gwali nga guwereddwa. Naye kati twali tusindikiddwayo kubuulira.

Ab’oluganda baatugamba nti tugende butereevu e Bulgaria era nti tetusooka kudda Uganda. N’olwekyo tetwaddayo Uganda kunona bintu byaffe wadde okusiibula mikwano gyaffe. Mu kifo ky’ekyo, twagenda ku Beseri y’omu Bugirimaani, ne tulinnya emmotoka, ne tugenda e Bulgaria. Bwe twatuukayo, twasabibwa okuweereza mu kibinja ekyalimu ababuulizi nga 20, mu Sofia.

Waliwo ebintu ebirala ebyatusoomooza nga tutuuse mu Bulgaria. Okusookera ddala, twali tetumanyi lulimi lwa mu kitundu ekyo. Ekyokubiri, mu lulimi Olubulugeriya waaliyo ebitabo bibiri byokka, The Truth That Leads to Eternal Life ne Ekitabo Kyange eky’Engero za Bayibuli. Ate era kyatuzibuwalira okufuna abayizi ba Bayibuli. Wadde nga twafuna okusoomooza okwo, ab’oluganda mu kibinja kye twalimu baali babuulizi banyiikivu. Ab’eddiini y’Abasodokisi baakiraba, era baatandika okutuyigganya.

Mu 1994 gavumenti ya Bulgaria yalekera awo okutwala Abajulirwa ba Yakuwa ng’eddiini ekkirizibwa mu mateeka. N’ekyavaamu, abantu baatandika okututwala ng’akabinja k’eddiini ak’omutawaana, era ab’oluganda abamu baasibibwa. Bannamawulire baatwogerangako ebintu eby’obulimba nga bagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa batta abaana era nti bamatiza ne Bajulirwa bannaabwe okwetuga. Nze ne Heinz kyatuzibuwaliranga okubuulira. Bwe twabanga tubuulira twasanganga abantu abaatuvumanga, abaatuyitiranga poliisi, era abamu baatukasukiranga ebintu. Twalinga tetukyafuna bitabo byaffe okuva mu nsi endala, era kyabanga kizibu okupangisa ebifo aw’okukuŋŋaanira. Lumu poliisi yataataaganya era n’eyimiriza olukuŋŋaana olunene lwe twaliko. Nze ne Heinz twali tetubeerangako mu bantu abatulaga obukyayi bwe butyo. Waaliwo enjawulo ya maanyi wakati w’abantu b’eno n’abantu b’e Uganda abaali baagala ennyo okuyiga ebyo ebiri mu Bayibuli! Kiki ekyatusobozesa okugumira embeera eyo?

Okubeerangako awamu ne bakkiriza bannaffe kyatuyamba nnyo. Ab’oluganda abo baali basanyufu olw’okuba baali bazudde amazima era baasimanga nnyo byonna bye twakolanga okubayamba. Twali bumu era nga tuyambagana. Ekyo kyatuyigiriza nti tusobola okusigala nga tuli basanyufu yonna gye tuba tuweerereza kasita tusigala nga twagala abantu.

Marianne ne Heinz Wertholz.

Nga tuli ku ofiisi y’ettabi mu Bulgaria, 2007

Oluvannyuma lw’emyaka, embeera yatereera. Mu 1998, eddiini y’Abajulirwa ba Yakuwa yaddamu okuwandiisibwa mu mateeka, era ebitabo bingi byatandika okuvvuunulwa mu Lubulugeriya. Oluvannyuma mu 2004, ekizimbe kya Ofiisi y’ettabi ekipya kyaweebwayo. Leero mu Bulgaria waliyo ebibiina 57 era birimu ababuulizi 2,953. Mu mwaka gw’obuweereza ogwa 2024, abantu 6,475 be baaliwo ku Kijjukizo. Edda mu kibuga Sofia mwalimu bannyinaffe 5 bokka, naye kati mulimu ebibiina mwenda! Mazima ddala, twerabiddeko n’agaffe ‘ng’omutono afuuka lukumi.’—Is. 60:22.

TUFUNA EBIZIBU

Mu bulamu bwange, mbaddenga ndwalalwala. Okumala emyaka, mbaddenga n’ebizimba mu mubiri gwange era waliwo ne kye nnafuna mu mutwe. Nnaweebwa obujjanjabi obw’amaanyi mu Buyindi era omusawo yannongoosa okumala essaawa 12, ng’anziggyamu ekizimba ekyandi mu mutwe. Bwe nnamala okulongoosebwa, twabeerako ku Beseri y’e Buyindi. Bwe nnawona, twaddayo e Bulgaria.

Mu kiseera kye kimu, Heinz yalwala obulwadde obw’amaanyi obuyitibwa Huntington. Olw’obulwadde obwo, kyamuzibuwalira okwogera, okutambula, n’okukozesa ebinywa bye. Embeera ye yeeyongera okwonooneka era nnabanga nnina okumuyamba mu bintu bingi. Oluusi nnakoowanga nnyo era nneeraliikiriranga nti ekiseera kiyinza okutuuka ne mba nga sikyasobola kumulabirira. Naye waliwo ow’oluganda omuto ayitibwa Bobi eyatwalanga Heinz okubuulira. Embeera ya Heinz teyakwasanga Bobi nsonyi. Bwe nnabanga nkooye, Bobi bulijjo yannyambanga okulabirira Heinz. Wadde nga nze ne Heinz twasalawo obutazaala baana mu nteekateeka eno ey’ebintu tusobole okuweereza Yakuwa mu ngeri esingawo, twakiraba nti Yakuwa yatuwa Bobi ng’omwana!—Mak. 10:​29, 30.

Ate era Heinz yafuna kkookolo. Eky’ennaku, omwami wange gwe nnali njagala ennyo yafa mu 2015. Nsubwa nnyo omwami wange kubanga ye yannyambanga obuteeraliikirira nnyo. Kinzibuwalira nnyo okukimanyiira nti kati takyaliwo, naye mmulowoozaako nnyo era mmutwala ng’akyali omulamu! (Luk. 20:38) Buli lunaku ndowooza ku bigambo eby’ekisa bye yaŋŋambanga, n’amagezi amalungi ge yampanga. Ndi musanyufu okuba nti twaweerereza wamu Yakuwa okumala emyaka mingi.

NSIIMA OBUYAMBI YAKUWA BW’AMPA

Yakuwa annyambye nnyo mu bizibu ebitali bimu bye mpiseemu. Annyambye okulekera awo okuba omuntu ow’ensonyi, era ne nfuuka omuminsani ayagala ennyo abantu. (2 Tim. 1:7) Nneebaza Yakuwa nti nze ne muto wange ffenna tuli mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Mu kiseera kino, ye n’omwami we bakyalira ebibiina ebirimu ab’oluganda aboogera Olusaabiya mu Bulaaya. Yakuwa yaddamu essaala taata ze yasabanga nga tukyali bato!

Buli lwe nsoma Bayibuli, nfuna emirembe Yakuwa gy’agaba. Mu biseera ebizibu njize “okusaba ennyo,” nga Yesu bwe yakola. (Luk. 22:44) Emu ku ngeri Yakuwa gy’addamu essaala zange kwe kukozesa ab’oluganda mu kibiina Nadezhda, eky’omu Sofia kye ndimu, okundaga okwagala n’ekisa. Batera okumpita ne tusanyukirako wamu, bansiima, era ekyo kindeetera okufuna essanyu lingi.

Ntera okufumiitiriza ku ssuubi ery’okuzuukira. Nkuba akafaananyi nga ndaba bazadde bange nga bali mu maaso g’ennyumba yaffe, nga balabika bulungi nga bwe baali nga baakafumbiriganwa, era nga ndaba muto wange ng’afumba ekijjulo. Nkuba akafaananyi nga ndaba Heinz ayimiridde okumpi n’embalaasi ye. Bwe nkuba akafaananyi mu ngeri eyo, kindeetera obutamalira birowoozo byange ku bintu ebimalamu amaanyi, wabula kindeetera okusiima Yakuwa.

Bwe ndowooza ku bintu ebirungi byonna Yakuwa by’ampadde mu bulamu bwange n’ebyo by’agenda okutuwa mu biseera eby’omu maaso, nzikiriziganya ne Dawudi eyagamba mu Zabbuli 27:​13, 14 nti: “Nnandibadde wa singa saalina kukkiriza nti nja kulaba obulungi bwa Yakuwa nga nkyali mulamu? Essuubi lyo lisse mu Yakuwa; Ba muvumu era ba n’omutima omugumu. Essuubi lyo lisse mu Yakuwa.”

a Laba ebikwata ku mwannyinaffe Tatjana Vileyska mu Awake! ya Ddesemba 22, 2000, lup. 20-24.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza