LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w25 Agusito lup. 31
  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Laba Ebirala
  • Kiki Kye Tumanyi ku Misango Yakuwa gy’Agenda Okusala mu Biseera eby’Omu Maaso?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Amagedoni Mawulire Malungi!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Sigala ng’Oli Mwesigwa mu “Kibonyoobonyo Ekinene”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • “Tubuulire, Ebintu Ebyo Biribaawo Ddi?”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Agusito lup. 31

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi gunaakoma ddi?

Yesu yagamba nti: ‘Amawulire amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.’ (Mat. 24:14) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “enkomerero” mu lunyiriri luno, ne mu lunyiriri 6 ne 13, kiri teʹlos. Ekigambo ekyo kitegeeza okuzikirizibwa kw’ensi ya Sitaani okujja okubaawo ku Amagedoni. (Kub. 16:​14, 16) N’olwekyo, tujja kweyongera okubuulira amawulire amalungi okutuusa ng’ebula akaseera katono olutalo Amagedoni lutandike. Kino kikyusaamu ku ekyo kye tubadde tumanyi.

Ekibonyoobonyo ekinene kijja kutandika n’okuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene. Emabegako tubadde tukkiriza nti ekyo bwe kinaabaawo nga tulekera awo okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Kub. 17:​3, 5, 15, 16) Twali tukkiriza nti ekibonyoobonyo ekinene bwe kyanditandise, Yakuwa teyandiwadde bantu kakisa kuwulira mawulire malungi. (Is. 61:2) Ate era twali tulowooza nti abo abanaawonawo mu kibonyoobonyo ekinene, beebo abandibadde baweerezza Yakuwa n’obwesigwa ng’ekibonyoobonyo ekyo tekinnatandika. Abantu abo twali tubageraageranya ku Bayudaaya abaawonawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa mu 607 E.E.T. Abantu abo baali baateekebwako akabonero ak’okuwonawo ng’ekibuga ekyo tekinnazikirizibwa kubanga baali basinza Yakuwa era nga bakyawa ebintu ebibi. (Ezk. 5:11; 9:4) Naye ekyo tekikwatagana n’ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 24:​14, ebiraga nti abantu bayinza okufuna akakisa okukkiriza amawulire amalungi ng’ebulayo akaseera katono olutalo Amagedoni lutandike.

Olw’okuba tweyongedde okutegeera ebigambo ebiri mu Matayo 24:​14, kino kitegeeza nti twetaaga n’okukyusa mu ngeri gye tutegeeramu ebigambo ebiri mu Okubikkulirwa 16:​21, awoogera ku muzira ogw’amaanyi. Bwe tweyongedde okwekenneenya ebyawandiikibwa ebyo, tukirabye nti bikwatagana. Ekituyamba okukitegeera nti bikwatagana ky’ekyo Bayibuli ky’eyogera ku ngeri abantu gye bandituttemu amawulire amalungi. Omutume Pawulo yagamba nti eri “abo abalokolebwa,” amawulire amalungi “kawoowo ak’obulamu.” Naye eri abalabe ba Katonda, mawulire mabi, kwe kugamba, “vvumbe ery’okufa.” (2 Kol. 2:​15, 16) Tebaagala mawulire malungi ag’Obwakabaka, kubanga galaga nti ensi gye baagala ennyo mbi, efugibwa Sitaani, era enaatera okuzikirizibwa.—Yok. 7:7; 1 Yok. 2:17; 5:19.

Omuzira ogwogerwako mu Okubikkulirwa 16:21 gujja kuba gwa “maanyi nnyo.” Kino kiyinza okutegeeza nti mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, obubaka bwe tunaaba tubuulira bujja kweyongerera ddala okuba obw’amaanyi n’okusinga bwe kiri kati, era ekyo kijja kuviirako erinnya lya Yakuwa okumanyibwa okusinga bwe kyali kibadde. (Ezk. 39:7) Mu kiseera ekyo nga Babulooni Ekinene kimaze okuzikirizibwa, waliwo abantu abanakkiriza amawulire amalungi? Kirabika bajja kubaawo. Oboolyawo abamu bayinza okukijjukira oba okukitegeera nti okumala emyaka mingi, Abajulirwa ba Yakuwa babaddenga balangirira nti amadiini ag’obulimba gajja kuzikirizibwa.

Kino kifaananako n’ekyo ekyaliwo mu Misiri ey’edda, Yakuwa bwe yaleeta Ebibonyoobonyo Ekkumi ku nsi eyo. Yakuwa bwe yamala “[okubonereza] bakatonda b’e Misiri bonna,” abantu be Abayisirayiri beegattibwako ‘ekibiina ekinene’ eky’abantu abataali Bayisirayiri. (Kuv. 12:​12, 37, 38) Abantu abo abataali Bayisirayiri bayinza okuba nga baasalawo okugenda n’abantu ba Yakuwa bwe baalaba nti ebyo byonna Musa bye yayogera ku bibonyoobonyo ekkumi byatuukirira.

Abantu bonna abanaasalawo okusinza Yakuwa oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene, bajja kuba n’enkizo ey’okuwagira baganda ba Kristo abanaaba bakyali ku nsi. (Mat. 25:​34-36, 40) Kya lwatu abantu okulamulwa ng’endiga kijja kukoma ng’ebula akaseera katono olutalo Amagedoni lutandike, abaafukibwako amafuta abanaaba bakyasigaddewo ku nsi bwe banaatwalibwa mu ggulu okufuna empeera yaabwe.

Okutegeera kuno okupya kwongera okutukakasa nti Yakuwa ayagala nnyo abantu era nti musaasizi. “Tayagala muntu yenna kuzikirizibwa wabula bonna beenenye.”—2 Peet. 3:9.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza