EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUVA 37-38
Engeri Ebyoto Gye Byakozesebwangamu mu Kusinza okw’Amazima
Ebyoto ebyakozesebwanga ku weema entukuvu byakolebwa nga bagoberera obulagirizi bwa Yakuwa, era byali bikulu nnyo mu kusinza okw’amazima.
Okufaananako okwotereza obubaani obwali butabuddwa mu ngeri ey’ekikugu, Yakuwa awuliriza okusaba kw’abaweereza be okuteeketeeke obulungi
Yakuwa yakkirizanga ssaddaaka ezaaweebwangayo ku kyoto ky’ebiweebwayo ebyokebwa. Eky’okuba nti ekyoto ekyo kyali mu maaso ga weema entukuvu, kitujjukiza nti okusobola okusiimibwa Yakuwa, tulina okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu Kristo.—Yok 3:16-18; Beb 10:5-10
Tuyinza tutya okuteekateeka essaala zaffe ne ziba ng’obubaani obuteekeddwateekeddwa mu maaso ga Katonda?—Zb 141:2