LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb20 Okitobba lup. 8
  • Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okulangirira Obwakabaka bwa Katonda mu Noovemba

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okulangirira Obwakabaka bwa Katonda mu Noovemba
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Laba Ebirala
  • Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okulangirira Obwakabaka bwa Katonda mu Ssebutemba!
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Buulira Abantu Amawulire Amalungi nti Ensi Empya Enaatera Okujja!
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Bye Tuyinza Okwogerako
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Bye Tuyinza Okwogerako
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
mwb20 Okitobba lup. 8
Ow’oluganda ne mwannyinaffe boogera n’abantu nga babuulira ku kagaali. Ku kagaali akamu kuliko ‘Omunaala gw’Omukuumi’ Na. 2 2020.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okulangirira Obwakabaka bwa Katonda mu Noovemba

‘Omunaala gw’Omukuumi’ Na. 2 2020 ogulina omutwe, ‘Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?’

Yesu yabuulira “amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.” (Luk 4:43) Ate era yayigiriza abantu okusaba nti Obwakabaka obwo bujje. (Mat 6:9, 10) Mu Noovemba, tujja kwenyigira mu kaweefube ow’enjawulo ow’okulangirira Obwakabaka bwa Katonda. (Mat 24:14) Kola enteekateeka osobole okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube oyo. Abo abanaaweereza nga bapayoniya abawagizi mu mwezi ogwo, basobola okuwaayo essaawa 30 oba 50.

Somera abantu bangi nga bwe kisoboka waakiri ekyawandiikibwa kimu ekikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Bw’oba olonda ekyawandiikibwa eky’okusoma, lowooza ku nzikiriza z’abo b’obuulira. Omuntu bw’alaga okusiima ku mulundi ogusooka, muwe magazini y’Omunaala gw’Omukuumi Na. 2 2020. Fuba okumuddira amangu ddala nga bwe kisoboka, era ogezeeko okutandika okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. Wasigaddeyo ekiseera kitono nnyo Obwakabaka bwa Katonda buzikirize obufuzi bw’abantu bwonna. (Dan 2:44; 1Ko 15:24, 25) N’olwekyo, ka tukozese akakisa kano okulaga nti twagala Yakuwa era nti tuwagira Obwakabaka bwe!

Yesu atudde ku ntebe ye ey’Obwakabaka mu ggulu ng’afuga nga Kabaka mu nsi empya.

Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuula ensi olusuku lwa Katonda!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza