EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUVA 1-3
“Nja Kubeera Ekyo Kye Nnaasalawo Okubeera”
Musa yayiga ekintu eky’enjawulo ekiraga ekyo Yakuwa ky’ali. Nga tavudde ku mitindo gye egy’obutuukirivu, Yakuwa asobola okubeera ekyo kyonna ekyetaagisa mu mbeera yonna, okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. Okufaananako omuzadde, Yakuwa abeera kyonna ekyetaagisa okusobola okulabirira abaana be.
Yakuwa afuuse atya kyonna ekyetaagisa okusobola okunnyamba?