Jjuuni 22-28
OKUVA 1-3
Oluyimba 7 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Nja Kubeera Ekyo Kye Nnaasalawo Okubeera”: (Ddak. 10)
[Mulabe vidiyo, Ennyanjula y’Ekitabo ky’Okuva.]
Kuv 3:13—Musa yali ayagala okumanya ekyo kyennyini Yakuwa ky’ali (w13 3/15 lup. 24-25 ¶4)
Kuv 3:14—Yakuwa asobola okubeera ekyo kyonna ky’ayagala okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye (kr-E lup. 43, akasanduuko)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Kuv 2:10—Lwaki tuyinza okugamba nti muwala wa Falaawo yatwala Musa ng’omwana we? (g04-E 4/8 lup. 6 ¶5)
Kuv 3:1—Yesero yali kabona mu ngeri ki? (w04 4/1 lup. 8 ¶4)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Kuv 2:11-25 (th essomo 11)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 16)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe magazini ekwatagana n’ensonga omuntu gw’obuulira gy’ayagala okumanya. (th essomo 12)
Okwogera: (Ddak. 5 oba obutawera) w02-E 6/15 lup. 11 ¶1-4—Omutwe: Ekintu Ekisinga Obugagga bw’e Misiri. (th essomo 13)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Beera Mukwano gwa Yakuwa—Erinnya lya Yakuwa: (Ddak. 6) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo. Oluvannyuma, bwe kiba nga kisoboka, yita abaana be wategese obabuuze ebibuuzo bino: Erinnya lya Yakuwa litegeeza ki? Biki Yakuwa bye yatonda? Yakuwa ayinza kukuyamba atya?
Erinnya lya Yakuwa Ligulumizibwa mu Scandinavia: (Ddak. 9) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Lwaki erinnya lya Yakuwa lyali terimanyiddwa ng’ekyasa eky’ekkumi n’omukaaga tekinnatuuka? Erinnya lya Yakuwa lyatandika litya okukozesebwa mu Scandinavia? Lwaki oyagala nnyo Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 120
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 104 n’Okusaba