Maayi 18-24
OLUBEREBERYE 40-41
Oluyimba 8 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yakuwa Anunula Yusufu”: (Ddak. 10)
Lub 41:9-13—Falaawo yamanya ebikwata ku Yusufu (w15 2/1 lup. 14 ¶4-5)
Lub 41:16, 29-32—Yakuwa yasobozesa Yusufu okumanya amakulu g’ebirooto bya Falaawo (w15 2/1 lup. 14-15)
Lub 41:38-40—Yusufu yafuuka mufuzi mu Misiri, era nga y’addirira Falaawo mu buyinza (w15 2/1 lup. 15 ¶3)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Lub 41:14—Lwaki Yusufu yeemwa nga tannagenda eri Falaawo? (w15 11/1 lup. 9 ¶1-3)
Lub 41:33—Kiki kye tuyigira ku ngeri Yusufu gye yayogeramu ne Falaawo? (w09 11/15 lup. 28 ¶14)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lub 40:1-23 (th essomo 2)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Kiki ekiraze nti ow’oluganda ne mukyala we baategekedde wamu nga tebannagenda kuddiŋŋana? Ow’oluganda annyonnyodde atya obulungi ekyawandiikibwa?
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 4 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 11)
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 5 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. (th essomo 13)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Beera nga Yusufu—Gumiikiriza Wadde ng’Oyisibwa mu Ngeri Etali ya Bwenkanya: (Ddak. 6) Mulabe vidiyo, Beera Mukwano gwa Yakuwa—Okugumiikiriza Wadde ng’Oyisibwa mu Ngeri Etali ya Bwenkanya. Oluvannyuma yita abaana be wateeseteese bajje ku pulatifoomu obabuuze ebibuuzo bino: Kalebu ne Sofiya baayisibwa batya mu ngeri etali nnungi? Kiki kye baayigira ku Yusufu?
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 9)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 115
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 124 n’Okusaba