Febwali 17-23
OLUBEREBERYE 18-19
Oluyimba 1 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“‘Omulamuzi w’Ensi Yonna’ Azikiriza Sodomu ne Ggomola”: (Ddak. 10)
Lub 18:23-25—Ibulayimu yali mukakafu nti bulijjo Yakuwa asala emisango mu butuukirivu (w17.04 lup. 18 ¶1)
Lub 18:32—Yakuwa yakakasa Ibulayimu nti ekibuga Sodomu ne bwe kyandibaddemu abantu abatuukirivu kkumi bokka teyandikizikirizza (w18.08 lup. 30 ¶4)
Lub 19:24, 25—Yakuwa yazikiriza Sodomu ne Ggomola olw’okuba abantu abaali mu bibuga ebyo baali babi nnyo (w10 11/15 lup. 26 ¶12)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Lub 18:1, 22—Mu ngeri ki ‘Yakuwa gye yalabikira Ibulayimu’ era “n’asigala” naye? (w88-E 5/15 lup. 23 ¶4-5)
Lub 19:26—Lwaki mukazi wa Lutti yafuuka “empagi y’omunnyo”? (w19.06 lup. 20 ¶3)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Lub 18:1-19 (th essomo 12)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, era oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Omubuulizi ayanjudde atya obulungi ekyawandiikibwa? Annyonnyodde atya obulungi ekyawandiikibwa?
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. (th essomo 6)
Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 5 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma muwe akatabo Bye Tuyiga, era mukubaganye ebirowoozo ku bifaananyi ebiri ku lupapula 98. (th essomo 9)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Oganyulwa mu Katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku?”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Temwagalanga Nsi (1Yo 2:15).
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 104
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 2 n’Okusaba