EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 18-19
“Omulamuzi w’Ensi Yonna” Azikiriza Sodomu ne Ggomola
Kiki kye tuyigira ku ekyo Yakuwa kye yakola Sodomu ne Ggomola?
Yakuwa tajja kuleka bintu bibi kubeerawo mirembe gyonna
Abo abakola Katonda by’ayagala be bajja okuwonawo nga Yakuwa azikiriza ensi ya Sitaani.—Luk 17:28-30
WEEBUUZE: ‘Mpisibwa bubi olw’ebikolwa eby’obugwagwa abantu bye bakola?’ (2Pe 2:7) ‘Nkiraga nti okukola Yakuwa by’ayagala kye kisinga obukulu mu bulamu bwange?’