LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • mwb20 Febwali lup. 5
  • Engeri Abafumbo Gye Bayinza Okunyweza Obufumbo Bwabwe

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Engeri Abafumbo Gye Bayinza Okunyweza Obufumbo Bwabwe
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Laba Ebirala
  • Munyweze Obufumbo Bwammwe
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Oluvannyuma lw’Okugattibwa
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Obufumbo—Kirabo Okuva eri Katonda
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Obufumbo—Kirabo Okuva eri Katonda ow’Okwagala
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
Laba Ebirara
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
mwb20 Febwali lup. 5
Ibulaamu ne Salaayi bateekateeka okuva mu Uli. Ibulaamu akutte akakutiya k’ataddemu ebintu era azzaamu Salaayi amaanyi nga Salaayi apakira ebintu mu kisero.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Engeri Abafumbo Gye Bayinza Okunyweza Obufumbo Bwabwe

Ibulayimu ne Saala baateerawo abafumbo ekyokulabirako ekirungi. Baali baagalana nnyo era nga bawaŋŋana ekitiibwa. (Lub 12:11-13; 1Pe 3:6) Kyokka, nabo obufumbo bwabwe bwali tebutuukiridde era baayita mu bizibu ebitali bimu. Biki abafumbo bye bayinza okuyigira ku Ibulayimu ne Saala?

Mube n’empuliziganya ennungi. Munno mu bufumbo bw’ayogera ebigambo ebitali bya kisa, muddemu mu bukkakkamu. (Lub 16:5, 6) Mufune obudde okubeerako awamu. Okuyitira mu bigambo ne mu bikolwa, kakasa munno nti omwagala nnyo. N’ekisinga byonna, mufube okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa nga mwesomesa, nga musabira wamu, era nga musinziza wamu. (Mub 4:12) Obufumbo bwe buba obunywevu, buweesa oyo eyatandikawo enteekateeka y’obufumbo ekitiibwa.

MULABE VIDIYO, ENGERI GYE MUYINZA OKUNYWEZA OBUFUMBO BWAMMWE, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Mu vidiyo gye tulabye, biki ebiraze nti enkolagana ya Shaan ne Kiara yali egenda eddirira?

  • Lwaki okwogera mu bwesimbu kikulu nnyo mu bufumbo?

  • Ekyokulabirako kya Ibulayimu ne Saala kyayamba kitya Shaan ne Kiara?

  • Biki Shaan ne Kiara bye baakola okusobola okunyweza obufumbo bwabwe?

  • Lwaki omwami n’omukyala buli omu tasaanidde kusuubira nti obufumbo bwabwe tebujja kubaamu bizibu?

Ebifaananyi ebiri wansi: Ebifaananyi ebiggiddwa mu vidiyo ‘Engeri Gye Muyinza Okunyweza Obufumbo Bwammwe.’ Shaan ne Kiara babaako kye bakolawo okunyweza obufumbo bwabwe. 1. Batudde mu ntebe naye buli omu atunudde ku luuyi lulala. 2. Beekutte mu ngalo. 3. Babuulirira wamu nga basanyufu.

Musobola okunyweza obufumbo bwammwe!

Okusobola okumanya ebirala ebinaabayamba okunyweza obufumbo bwammwe, musome ebitundu bino ebifulumira mu magazini ya Zuukuka! ne ku jw.org/lg®, n’ebyafulumira mu Omunaala gw’Omukuumi:

  • “Abaana nga Bavudde Awaka”​—g17.4 lup. 10-11

  • “Mukolere Wamu ng’Abafumbo Okufuuka Abantu ab’Eby’omwoyo”​—w12 1/1 lup. 29-31

  • “Okuwa Munno mu Bufumbo Ekitiibwa”​—w11 10/1 lup. 10-12

  • “Okugonjoola Obutakkaanya”​—w08 4/1 lup. 22-24

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza